OKWESINGIRA KWA BANNADDIINI N'ABAKRISTU ABEEREERE ERI OMUTIMA GWA MARIA OGUTALIIKO BBALA
Omubeererevu ow'e Fatima, Nnyina w'obusaasizi, Nnamasole w'eggulu n'ensi, Kiddukiro ky'aboonoonyi, ffe abali mu kisinde kyo Maria, twesingira Omutima gwo ogutaliiko bbala mu ngeri ey'enjawulo. Mu kikolwa kino eky'oku- kwesingira twagala nga tuli wamu naawe era nga tuyita mu ggwe, okussa mu nkola bye twetema mu ndagaano za Batismu yaffe. Era tusuubiza okukyusa emitima gyaffe nga Evanjili bw'ekitusaba, tusobole okuwona okugondera emibiri gyaffe n'ensi, okufaanana nga ggwe, bulijjo tukole ekyo kyokka Katonda Kitaffe ky'ayagala. Era nga twetema okukukwasa obulamu bwaffe n'okuyitibwa kwaffe nga Abakristu ggwe obira- mbike mu ntereeza zo ez'obu- lokofu mu kaseera kano aka nsa- leesale akalindiridde ensi, tukusuubiza ayi Nnyaffe omulungi era omusaasizi, okuyisa nga bw'o- yagala, naddala okwezza obuggya mutima ogw'okwegayirira n'okwebonereza, okwenyigira mu kukuza Ukaristia n'omutima gwo- nna, n'okwenyigira mu miri...