OKWESINGIRA KWA BANNADDIINI N'ABAKRISTU ABEEREERE ERI OMUTIMA GWA MARIA OGUTALIIKO BBALA


Omubeererevu ow'e Fatima, Nnyina w'obusaasizi, Nnamasole w'eggulu n'ensi, Kiddukiro ky'aboonoonyi, ffe abali mu kisinde kyo Maria, twesingira Omutima gwo ogutaliiko bbala mu ngeri ey'enjawulo.

Mu kikolwa kino eky'oku- kwesingira twagala nga tuli wamu naawe era nga tuyita mu ggwe, okussa mu nkola bye twetema mu ndagaano za Batismu yaffe. Era tusuubiza okukyusa emitima gyaffe nga Evanjili bw'ekitusaba, tusobole okuwona okugondera emibiri gyaffe n'ensi, okufaanana nga ggwe, bulijjo tukole ekyo kyokka Katonda Kitaffe ky'ayagala.

Era nga twetema okukukwasa obulamu bwaffe n'okuyitibwa kwaffe nga Abakristu ggwe obira- mbike mu ntereeza zo ez'obu- lokofu mu kaseera kano aka nsa- leesale akalindiridde ensi, tukusuubiza ayi Nnyaffe omulungi era omusaasizi, okuyisa nga bw'o- yagala, naddala okwezza obuggya mutima ogw'okwegayirira n'okwebonereza, okwenyigira mu kukuza Ukaristia n'omutima gwo- nna, n'okwenyigira mu mirimo gy'obutume, okusomanga Sappule Entukuvu buli lunaku, n'okuyisa obulamu obw'obuzira obusi- mbidde ddala ku Vanjili, obulamu obunaawa abalala bonna ekyokulabirako ekirungi mu kukwata etteeka lya Katonda n'okwoleka empisa ennungi enkristu naddala ey'obutukuvu.

 Era tukusuubiza okussa ekimu ne Kitaffe Omutukuvu awamu n'Abepiskoopi n'Abasaaseredooti baffe tusobole bwe tutyo okuziyiza obujagalalo obwolekezeddwa enji- giriza y'Eklezia, ekiyinza okuvaamu okunafuya omusingi gw'Eklezia gwennyini.

 Nga ggwe otukuuma twagala era tube abatume b'okussa ekimu kuno okuyaayaanirwa ennyo mu ssaala ne mu kwagala Paapa gwe tukusaba okuume mu ngeri ey'eniawulo.

Nga tujjukira nno nti okweggya ku Katonda kye kireese akatyabaga mu kukkiriza kw'abangi, era nti ekyenyinyalwa kimaze okuyingira mu Kiggwa ky Omukama Ekitukuvu, era nti obubi n'ekibi byeyongera kubuna mu nsi, mu buvumu bwonna era nga tujjudde essuubi, amaaso tuga- situlidde gy'oli Nnyaffe ow'o- buyinza era omusaasizi, n'olwaleero nno obulokofu bw'abaana bo tubulinze kuva gy'oli gy'oli ggwe Omubeererevu Maria Omulungi, ow'ekisa era Omwagazi.

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU