NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI
OLUNAKU OLUSOOKA (1) Ayi Yezu Mulokozi wange emirundi miingi wanidde okukasukibwa mu muliro ogutazikira nga nandiboonyeboonye nnyo. Singa nnali nkasukiddwa, era kindeetera okulowooza nti nze kennyini nze neretedde okuzikirira. Nkwebaza olw'obugumikiriza bw'ondaze Katonda wange nkwagala okusinga ebintu ebirala byonna neenenyeza nga nzija kuntobo y'omutima gwange olw'okukusobya nga ate ggwe oli bulungi obutakoma. Kati wakiri nnalondawo okufa okusinga okuddamu okusobya. Mpa enneema y'okunyiikira. Nkwatirwa ekisa wamu n'emyoyo egiri mu purigatori. Maria Nnyina Katonda giyambe n'essaalazo ez'amaanyi. Amiina Soma: Kitaffe ali muggulu........(x1) Mirembe Maria.....(x1) Essaala ya mulokozi wange abonaabona kulw'emyoyo egiri ma purigatori........(x1) ESSAALA YA MULOKOZI WAFFE ABONAABONA KU LW'EMYOYO EGIRI MU PURIGATORI Ayi omuwomerevu Yezu, muntuuyozo ez'omusaayi, zewafuna nga oli mu nnimiro y'eGetesimaani. Saasira emyoyo emitukuvu...