NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI
OLUNAKU OLUSOOKA (1)
Ayi Yezu Mulokozi wange emirundi miingi wanidde okukasukibwa mu muliro ogutazikira nga nandiboonyeboonye nnyo. Singa nnali nkasukiddwa, era kindeetera okulowooza nti nze kennyini nze neretedde okuzikirira. Nkwebaza olw'obugumikiriza bw'ondaze Katonda wange nkwagala okusinga ebintu ebirala byonna neenenyeza nga nzija kuntobo y'omutima gwange olw'okukusobya nga ate ggwe oli bulungi obutakoma. Kati wakiri nnalondawo okufa okusinga
okuddamu okusobya. Mpa enneema y'okunyiikira. Nkwatirwa ekisa wamu n'emyoyo egiri mu purigatori. Maria Nnyina Katonda giyambe n'essaalazo ez'amaanyi. Amiina
Soma: Kitaffe ali muggulu........(x1)
Mirembe Maria.....(x1)
Essaala ya mulokozi wange abonaabona kulw'emyoyo egiri ma purigatori........(x1)
ESSAALA YA MULOKOZI WAFFE ABONAABONA KU LW'EMYOYO EGIRI MU PURIGATORI
Ayi omuwomerevu Yezu, muntuuyozo ez'omusaayi, zewafuna nga oli mu nnimiro y'eGetesimaani. Saasira emyoyo emitukuvu
Gisaasire.
B. Gisaasire Ayi Mukama.
Ayi omuwomerevu Yezu, mu bulumi bwe wafuna nga okubwa ennyo,gisaasire
B. Gisaasire Ayi Mukama
Ayi omuwomerevu Yezu mu bulumi bwe wafuna nga bakuttika omuge gw'maggwa, gisaasire.
B. Gisaasire Ayi Mukama
Ayi omuwomerevu Yezu mu bulumi bwe wafuna olw'okwetika omusaalaba omuzito okutuuka e Kalvalio, gisaasire
B. Gisaasire Ayi Mukama
Ayi omuwomerevu Yezu, mu bulumi bwe wafuna nga oko- mererwa ku musaalaba, gisaasire
B. Gisaasire Ayi Mukama
Ayi omuwomerevu Yezu,mu bulumi bwe wayitamu ng'olengejja ku musaalaba, gisaasire
B. Gisaasire Ayi Mukama
Ayi omuwomerevu Yezu, mu bulumi bwe wafuna nga owaayo omwoyo gw'omutukuvu, gisaasire
B. Gisaasire Ayi Mukama
(wekwaase emyoyo egiri mu purigatori otekewo ekyetaago kyo) Ayi emyoyo emitukuvu egiri mu purigatori mbasabidde, mbasaba mmwe abali okuumpi ne Katonda era abalina obukakafu nti temulimusubwa, munsabire nze omwonoonyi ali mu kabi k'okuzikirira, Katonda neme mu subwa emirembe gyonna. Amiina.
OLUNAKU OLW'OKUBIRI (2)
Zinsanze nze ekitonde ekitalina ssanyu emyaka miingi gye mmaze ku nsi naye sirina kyenfunyemu wabula geyenna, nkwebaza Ayi Mukama olw'okumpa obudde nkuddaabirize olw'ebibi byange Katonda wange omulugi. Neenenyeza olw'okukunyiiza. Mpeereza obuyambi bwo nsobole okukozesa obudde bw'enkyasigazaayo, nkwagala era nkuwereza. Nkwatirwa ekisa, era wamu ne myoyo emitukuvu egiri mu purigatori nga gibonaabona. Ayi Maria, Nnyina Katonda giyambe mu ssaala zo ez'amaanyi.
Soma: kitaffe ali mu ggulu.......x1
Mirembe Maria.. .........xl
n'essaala ya mulokozi waffe abonaabona......x1
OLUNAKU OLW'OKUSATU (3)
Ayi Katonda wange, kubanga gwe bulungi obutakoma, nkwagala okusinga ebintu ebirala byonna era neenenya n'omutima gwange gwonna olw'ensobi zange. Mpa enneema ey'okunyiikira mu butukuvu.Nkwatirwa ekisa ate n'emyoyo emitukuvu egibonaabonera mu purigatori. Era naawe Maria Nnyina Katonda giyambe n'essaala zo ez'amaanyi. Amiina
Soma: Kitaffe ali mu ggulu.........xl
Mirembe maria.............xl
Essaala ya mulokozi waffe........xl
OLUNAKU OLW'OKUNA (4)
Ayi Katonda wange gwe bulungi obutakoma. Nenenyeza okuva kuntobo y'omutima gwange olw'ensobi zange zonna. Nkusuubiza okufa okusinga okwonoona.Mpa okunyiikira okutukuvu onkwatirwe ekisa era osaasire n'emyoyo emitukuvu egyokebwa m muliro ogutukuza ate nga gikwagala n'emeeme zaagyo zonna. Ayi Maria Nnyina Katonda giyambe n'essaalazo ez'amaanyi. Amiina
Soma: Kitaffe ali muggulu.........(x1)
Mirembe Maria.............(x1)
Essaala ya mulokozi waffe........(x1)
OLUNAKU OLW'OKUTAANO (5)
Zzinsanze nze ekitonde ekitalina ssanyu. Singa Ayi Mukama wali wankasuka mu geyeena,kuba eyo mu kkomera ery'obulumi obutakoma teri kusumululwa. Nkwagala okusinga ebintu ebirala byonna. Ayi Katonda ataggwaawo era nneenenyeza mu mazima olw'okukusobya gwe omulundi omulala. Mpa enneema y'okunyiikira okutukuvu.Nsaasira ate era osaasire n'emyoyo emitukuvu egibonaabonera mu purigatori.
Ayi Maria Nnyina Katonda, giyambe n'essaala zo ez'amaanyi. Amiina.
Soma: kitaffe ali mu ggulu.........(X1)
Mirembe Maria... .........(X1)
Essaala ya mulokozi waffe.(x1)
OLUNAKU OLW'OMUKAAGA (6)
Ayi Katonda omununuzi wange, gwe wanfiirira ku musaalaba era emirundi miingi tubadde bumu mu komunyo entukuvu, ate nze nenkusasula mu butasiima bwokka. Wabula kati nkwagala okusinga ebintu ebirala byonna. Ayi Katonda asinga bonna era nnumwa nnyo olw'ebibi byange mu maaso go okusinga obubi obulala bwonna. Wakiri okufa okusinga okukunyiiza nate mpa enneema y'okunyiikira okutukuvu. Nkwatirwa ekisa ate osaasire n'emyoyo emitukuvu egibonaabona mu purigatori.
Ayi Maria Nnyina Katonda giyambe n'essaala zo ez'amaanyi. Amiina.
Soma: Kitaffe ali mu ggulu....
Mirembe Maria......
Essaala ya mulokozi waffe......
OLUNAKU OLW'OMUSAANVU (7)
Ayi Katonda Kitaawe w'obusaasizi, kkusa bonna abegoomba kino! Basindikire Bamalayika bo abatuukirivu balangirire gye bali nti ggwe oli Kitaabwe era watabagana nabo nga oyita mu kubonaabona n'okufa kwa Yezu era nti akaseera ak'okununulibwa kwaabwe katuuse.
Soma: Kitaffe ali mu ggulu... ....(x1)
Mirembe Maria...... ......(X1)
Essaala ya mulokozi waffe.......(x1)
OLUNAKU OLW'OMUNAANA (8)
Ayi Mukama wange! Nange ndi omu ku biramu ebitasiima. kuba nfunye enneema nyiingi nnyo naye nyooma okwagala kwo era nsaanira kukasukibwa mu geyena. Wabula obulungi bwo obutaliiko kkomo buntaasizza okutuusa kati n'olw'ekyo kati nkwagala okusiinga ebirala byonna era nsonyiwa olw'okukunyiiza. Wakiri okufa okusinga okuddamu okunyiiza. Mpa enneema y'okunyiikira okutukuvu nkwatirwa ekisa era mukiseera ky'ekimu n'emyoyo emitukuvu egibonaabonera mu purigatori.Maria Nnyina Katonda giyambeko n'essaala zo ez'amaanyi.
Soma : Kitaffe ali muggulu......
Mirembe Maria.......
Essaala ya mulokozi waffe.
OLUNAKU OLW'OMWENDA 9
Katonda wange! Kisoboka kitya emyaka emiingi giti ne mbonaabona olw'okwawukana naawe ate n'enneema yo! Ayi obulungi obutaliiko kkomo. Omaze bbanga ki nga obonaabonera okunneyoleka! Kale kati nzija ku kwagala okusinga ebintu ebirali byonna nsonyiwa olw'okukunyiiza. Nkusuubiza okulondawo okufa okusinga okwonoona.Mpa enneema y'okunyiikira okutukuvu era toŋŋanya kuddamu kugwa mu kibi. Saasira emyoyo egiri m purigatori. Nkwegayiridde kendeeza ku kubonaabona kwaabwe okendeeze ku kiseera ky'ennaku yaabwe,bayite mu bwangu baje mu ggulu, basobole okukulabako maaso ku maaso era bakwagala emirembe n'emirembe. Maria Nnyina Katonda giyambe nga oyita mu ssaala zo ez'amaanyi era naffe tusaabire kuba tukyali mukabi akokuzikirira okw'emirembe gyonna.
Soma: Kitaffe ali mu ggulu.....
Mirembe Maria.......
Essaala ya mulokozi waffe....
Comments
Post a Comment