Posts

Showing posts from December, 2023

SSAPPULE YA MIKAYIRI OMUTUUKIRIVU SSABAMALAYIKA

Image
              Olunaku olumu, Mikayiri omutukirivu yalabikira Antonio owe Asitonaka, omuwereza wa Katonda omwesigwa namugamba nti yegomba nyo essaala eno eyokumulamusa emirundi mwenda etuukagana ne kwaaya omwenda ezaba Malayika. Erimu   Kitaffe ali muggulu ×1  Mirembe Maria ×3  nga zino za kugulumiza kwaya ya ba Malaika. EBISUUBIZO BYA MIKAYIRI OMUT. Buli anajjumbiranga essaala eno, nga tanafuna kumunio, ajja kuwerekerwangako ba Malaika 9 abalondeddwa okuva mu buli kwaya 9. N'ekirala, buli bonna abanagisomanga buli lunaku yabasuubiza obuyambibwe, nobwaba Malaika mu bulamu buno, ate nokubaggya mu Puligatooli oluvanyuma lwokufa era n'abaabwe. Somanga bulungi essaala.   Eyokubonerera..... Nzikiriza katonda patri....  Era n'essaala eno eyokusomeranga ku mudaali: Ayi Katonda jangu onnyambe, Ayi Mukama tolwaawo kunziruukirira Ekitiibwa...  1. Ayi Mikayiri omut. Ssabamalayika tuwolereze awamu ne choir ya Baserafiini ab...