SSAPPULE YA MIKAYIRI OMUTUUKIRIVU SSABAMALAYIKA

       

      Olunaku olumu, Mikayiri omutukirivu yalabikira Antonio owe Asitonaka, omuwereza wa Katonda omwesigwa namugamba nti yegomba nyo essaala eno eyokumulamusa emirundi mwenda etuukagana ne kwaaya omwenda ezaba Malayika. Erimu

 Kitaffe ali muggulu ×1
 Mirembe Maria ×3
 nga zino za kugulumiza kwaya ya ba Malaika.

EBISUUBIZO BYA MIKAYIRI OMUT.

Buli anajjumbiranga essaala eno, nga tanafuna kumunio, ajja kuwerekerwangako ba Malaika 9 abalondeddwa okuva mu buli kwaya 9. N'ekirala, buli bonna abanagisomanga buli lunaku yabasuubiza obuyambibwe, nobwaba Malaika mu bulamu buno, ate nokubaggya mu Puligatooli oluvanyuma lwokufa era n'abaabwe.
Somanga bulungi essaala.

 Eyokubonerera.....
Nzikiriza katonda patri....

 Era n'essaala eno eyokusomeranga ku mudaali:

Ayi Katonda jangu onnyambe,
Ayi Mukama tolwaawo kunziruukirira
Ekitiibwa... 

1. Ayi Mikayiri omut. Ssabamalayika tuwolereze awamu ne choir ya Baserafiini abomu Ggulu, Omukama atuyambe tusobole okwakayakana nomuliro gwokwagala okutuufu. 
Amiina.

Kitaffe ali muggulu
Mirembe maria. ×3
Ekitibwa kibe kya patri

2. Ayi Mikayiri omut. Ssabamalayika, tuwolereze awamu neggye lya ba Malayika abo mu ggulu, Omukama atuyambe atuwe enneema eyokuleka amayisa amabi, tudde mu Kubo ettuufu eryobukristu,  
Amiina.

Kitaffe ali muggulu
Mirembe maria. ×3
Ekitibwa kibe kya patri

3. Ayi Mikayiri omut.
 tuwolereze awamu ne choir ya Namulondo yo mu gulu, omukama ayingize mu mitima gyaffe omwoyo gw'obwetowaze omutuufu.
Amiina.

Kitaffe ali muggulu
Mirembe maria. ×3
Ekitibwa kibe kya patri

4. Ayi Mikayiri omut. tuwolereze awamu ne bannanyini buyinza abo mu ggulu Omukama atuwe enneema eyokufuga obulungi senses zaffe nokuvvuunuka amaddu gaffe amabi. 
Amiina.

Kitaffe ali muggulu
Mirembe maria. ×3
Ekitibwa kibe kya patri

5. Ayi Mikayiri omut. tuwolereze awamu n'abamaanyi abo mu ggulu Omukama akkirize okukuuma emyoyo gyaffe ngagitaasa okusendebwasendebwa ebikemo bya sitaani.  
Amiina.

Kitaffe ali muggulu
Mirembe maria. ×3
Ekitibwa kibe kya patri

6. Ayi Mikayiri omutukirivu tuwolereze awamu ne choir zabatuufu, omukama atutaase ekibi nobutagwa mu bikemo. Amiina.

Kitaffe ali muggulu
Mirembe maria. ×3
Ekitibwa kibe kya patri

7. Ayi Mikayiri omutukirivu, tuwolereze awamu ne choir yabannaggye omukama ajjuze emyoyo gyaffe nomwoyo gwobuwulize omutuufu. Amiina.

Kitaffe ali muggulu
Mirembe maria. ×3
Ekitibwa kibe kya patri

8. Ayi Mikayiri omutukirivu tuwolereze awamu ne choir yaba Ssabamalayika omukama atuwe okunywerera mu kukkiriza ne mu bikolwa ebirungi tusobole okutuuka mu kitiibwa ekyomu gulu. Amiina.

Kitaffe ali muggulu
Mirembe maria. ×3
Ekitibwa kibe kya patri
 
9. Ayi Mikayiri omutukirivu, tuwolereze awamu ne choir ya ba Malaika eyo mu ggulu Omukama atuwe batutaase mu bulamu buno nokutulambika okutuuka mu bulamu obutaggwawo.  
Amiina.

Kitaffe ali muggulu
Mirembe maria. ×3
Ekitibwa kibe kya patri

Ku mpeke ezisigaddeyo, Soma: 
 Kitaffe ali muggulu ×4

ngogulumiza Mikayiri, Raphael ne Gabriel abatuukirivu ko ne Malayika wo omukuumi.

ESSAAALA EFUNDIKIRA

Ayi Mikayiri omut. Omulangira wekitiibwa omukulu, era omuduumizi weggye eryomu ggulu, omukuumi w'emyoyo, omuwanguzi wemyoyo emijeemu, omuweereza mu nyumba ya kabaka owo mu ggulu era omulambisi waffe eyegombebwa, gwayakaayakana nempisa ennungi ezisukkiridde obwomuntu, kiriza okuggya mu bubi bwona abo abakwesiga era tusobozese nobukuumi bwo tuweereze Katonda waffe nobwesigwa bungi buli lunaku.

Essaala: 

Ayi Mikayiri omutukirivu, omulangira w'Eklezia ya Yezu Kristu, tusabire.

Ekidd.:
Tulyoke tusaanire okufuna Yezu Kristu bye yatusuubiza.

Ayi Katonda owobuyinza era ataggwaawo gwe ajjudde obulungi era nokwegomba okulokolebwa kwa bonna, gwe eyalonda Mikayiri Ssabamalayika omulangira w'Eklezia yo, tukuwanjagira tusaanyize okusobola okutaasibwa nobukuumi bwe obwamaanyi abalabe baffe bonna, emyoyo emibi gireme okutujeeza mu kaseera akokufa, wabula ye atukulembere ngatulambika okutuuka eyo gwe
gy'owanngamye mu kitiibwa kyo.
Tukikusaba nga tuyita mu Yezu Kristu Mukama waffe. 
Amiina.

Paapa Pius ix omwesiimi yateeka indulgensia ku ssaala eno.

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU