SSAAPULE YA MWOYO MUTUKILIVU
Mulinnya lya Patri ne lya mwana ne lya mwoyo mutukilivu, amiina. ESSAALA EYO KWENENNYA EBIBI BYO ERI MWOYO MUTUKILIVU Ayi katonda wange, nsonnyiwa n'omutima gwange olw'okukunyiiza. Nkyawa ebibi byange byonna kubanga ntya okufiirwa Eggulu,Kuba mugeyeena eliyo obulumi bungyi , naye okusinga byonna kubanga bikunyiiza, Katonda wange, Gwebyonna ebirungi, era osanidde okwagala kwange kwonna. Nsalawo nnyo nga nnyabibwako ekisa kyo, obutaddamu Kwonoona era okwewala emikolo egy'okumpi egy'ekibi, Amiina JANGU AYI MWOYO MUTUKILIVU Jjangu, ayi mwoyo mutukilivu ojjuze omutima gwange ebirabo byo ebitukuvu. Obunafu bwange buyingire n'amaanyi go leelo lwennyini nsobole okutukiriza emirimu gyonna egy'embeera yange n'omuntu ow'omunda, nkole ekituffu era eky'obwekanya. Okusaasira kwange kubeere nga tekunyiiza muntu yenna,nobutalumya muntu yenna:Omugambi ennyo nga nsonyiwa mu bwesimbu ekibi kyonna ekinkoleddwako. Nnyamba, ayi mwoyo mutukilivu, mu...