SSAAPULE YA MWOYO MUTUKILIVU
Mulinnya lya Patri ne lya mwana ne lya mwoyo mutukilivu, amiina.
ESSAALA EYO KWENENNYA EBIBI BYO ERI MWOYO MUTUKILIVU
Ayi katonda wange, nsonnyiwa n'omutima gwange olw'okukunyiiza. Nkyawa ebibi byange byonna kubanga ntya okufiirwa Eggulu,Kuba mugeyeena eliyo obulumi bungyi , naye okusinga byonna kubanga bikunyiiza, Katonda wange, Gwebyonna ebirungi, era osanidde okwagala kwange kwonna. Nsalawo nnyo nga nnyabibwako ekisa kyo, obutaddamu Kwonoona era okwewala emikolo egy'okumpi egy'ekibi, Amiina
JANGU AYI MWOYO MUTUKILIVU
Jjangu, ayi mwoyo mutukilivu ojjuze omutima gwange ebirabo byo ebitukuvu. Obunafu bwange buyingire n'amaanyi go leelo lwennyini nsobole okutukiriza emirimu gyonna egy'embeera yange n'omuntu ow'omunda, nkole ekituffu era eky'obwekanya.
Okusaasira kwange kubeere nga tekunyiiza muntu yenna,nobutalumya muntu yenna:Omugambi ennyo nga nsonyiwa mu bwesimbu ekibi kyonna ekinkoleddwako. Nnyamba, ayi mwoyo mutukilivu, mu kugezesebwa kwange kwonna okw'obulamu, ontangaaze mu butamannya bwange, onbulilire mu kubuusabuusa kwange, onnyweze mu bunafu bwange, onnyambe mu byetaago byange byonna, okuume mu kukemebwa era ongumye mu kubonaabona kwange.
Mpulila n'ekisa, Ayi mwoyo mutukilivu, oyiwe ekitangaala kyo mu mutima gwange, mu emmeeme yange, ne mu birowoozo byange. Nnyamba mbeere n'obulamu obutukuvu nokukula obulungi n’ekisa, Amiina
Kitaffe Ali mu ggulu*1
Mirembe maria*1
EKYAMAGERO 1
Bikiira Maria afunna olubuto lwa yezu kubwa mwoyo mutukilivu,
OKWEFUMIITIRIZA
Mwoyo mutukilivu ajjakukujakko, n'amannyi g'oyo Ali Waggulu Ennyo gajja kukubikka ne kisiikirize kye. Era bwatyo omwana aliba mutukilivu n'ayitibwa omwana wa katonda (Luka 1:35)
OKWEBULILILA
Nyikila okwegayirira n'okusaba obuyambi bwa mwoyo mutukilivu, okwegayilila kwa Maria omutukilivu, okukoppa empisa ennungi eza yezu kristu, nga ekyokulabirako ky'empisa ennungi, mulyoke mu fuulibwe abakwatagana n'ekifaanannyi ky'omwana wa katonda. Amiina.
Kitaffe Ali mu ggulu *1
Mirembe maria *1
Ekitiibwa kibe eky'apatri*7
EKYAMAGERO 2
Omwoyo wa mukama yawummulira ku yezu bwe yabatizibwa
OKWEFUMIITIRIZA
Yezu bweyamala okubatizibwa n'ava mu mazzi, amangu ago eggulu ne ligguka n'alaba Omwoyo wa katonda ng'akka ng'ejjiba, nga akka ku ye(matayo 3:16)
OKWEBULILILA
Mu kitibwa eky,'okuntikko, ekirabo ekyo muweddo ennyo eky' ekisa ekitutukuza, ekiyingizibwa mu emmeeme ya mwoyo mutukilivu mu kubatiza. Kuuma ebisuubizo bye weeyama kworwo. Yongera nga weemanyiiza buli kiseera, okukkiriza, Essubi, n'okuyamba. Bulijjo mubeere era mufuuke abaana ba katonda era ba mmemba ba ekelezia ya katonda ey'amazima, basobole okufuna, oluvannyuma, obusika Obw'omu ggulu, Amiina
Kitaffe Ali mu ggulu *1
Mirembe maria *1
Ekitiibwa kibe ekya patri*7
EKYAMAGERO 3
Olwa mwoyo mutukilivu, yezu atwalibwa mu ddugu okukemebwa Sitaani
OKWEFUMITTIRIZA
Nga ajjudde mwoyo mutukilivu, yezu yava ku mugga yoludaani n'akulemberwa mwoyo n'agedda mu ddugu okumala ennaku amakumi ana ng'agezesebwa sitaani(Luka 4:1-2)
OKWEBULILILA
Siima bulijjo ebirabo bya mwoyo mutukilivu ebye emirundi omusavu ebyakuwebwa ku lunaku lwa kofilimasio, Olwa mwoyo wa magezi, okutegeera, okubuulirira n'obugumu, ow'okumannya n'okutya omukama katonda, Weewayo n'obwesigwa eri obulagirizi bwe obw'obwakatonda, osobole okuyita mu kugezesebwa kwonna no kukemebwa kwonna okw'obulamu bwo, osobole okweyisa mu ngeri ey'ekintu ekikulu n'okufuuka omukristu attukiridde era omujaasi omuzira owa yezu kristu, Amiina
Kitaffe Ali mu ggulu *1
Mirembe maria *1
Ekitiibwa kibe ekya patri*7
EKYAMAGERO 4
Mwoyo mutukilivu mu ekelezia
OKWEFUMIITIRIZA
Amangu ago newava mu ggulu eddobbozi, ery'empewo eya maanyi eyajjula ennyumba yonna mwebaali batudde.... Bonna baali bajjudde mwoyo mutukilivu ne batandiika okwogera ennimi ezenjawulo, nga mwoyo bw'abawa amaanyi okwogera booka na booka (ebikolwa 2:2,4)
OKWEBULILILA
Twebaza katonda eyakufuula omwana w'ekelezia ye bulijjo omuli obulamu era efugibwa mwoyo mutukilivu, eyasindiikibwa mu nsi eno olwekigendererwa ekyolunaku lwa pentekoti. Wulila era ogondere ekitukuvu kyolaba, omumwa gwa mwoyo mutukilivu ogutasobya, n'ekelezia, empagi, n'ettaka elya mazima. Mukuume enjigiriza ze, munoonye ebirungi bye, mulwanirire eddembe lye"Amiina.
Kitaffe ali mu ggulu *1
Mirembe maria *1
Ekitibwa kibe ekya patri*7
EKYAMAGERO 5
Mwoyo mutukilivu, mu mwoyo gwo mukazi n'omusajja abatukilivu
OKWEFUMIITIRIZA
Temumannyi ng'omubiri ye yeekalu y'amwoyo mutukilivu! Ali mu ggwe era gwewafuna okuva eri Katonda? (1 abakkolinso 6:19) Temuziyiza mwoyo mutukilivu (1 abasessaloniika 5:19)era "temunakuwaza mwoyo mutukilivu wa katonda kubanga mwoyo ke kabonero kwe mulimannyirwa ku lunaku olw'okununulibwa(abefeso 4:30)
OKWEBULILILA
Bulijjo ebirowoozo byo bitekke ku mwoyo mutukilivu ali munda mugwe, era nobwegendereza kuuma obulongoofu bw'omwoyo ng'omubiri gwo. Gondera n'obwesigwa okubudaabudibwa kwe okwo Obwakatonda, osobole okuvaamu ebibala ebyo mwoyo, okwagala, essanyu, emirembe, obugumikiriza, obukkakkamu, okukkiriza, obwetoowaze, okwefuga, obulongoofu, Amiina
Kitaffe Ali mu ggulu *1
Mirembe maria *1
Ekitiibwa kibe ekya patri*7
ESSALA EKOMEKKEREZA
Nzikiriza katonda,
For the intentions of the sovereign pontiff
Kitaffe Ali mu ggulu *1
Mirembe maria *1
Ekitiibwa kibe ekya patri*1
Comments
Post a Comment