AMATENDO GA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU . ( PAAPA PIO VII )
Ayi Mukama tusaasire ..........Ayi Mukama tusaasire
Ayi Kristu tusaasire.....Ayi Kristu tusaasire
Ayi Mukama tusaasire ..... Ayi Mukama tusaasire
Ayi Kristu Tuwulire... ..Ayi Kristu tuwe
Patri ow'omu ggulu Katonda.... Tusasire
Mwana Omununuzi w'ensi Katonda.....
Mwoyo Mutuukirivu Katonda ... ..
Trinita Omutuukirivu Katonda omu....
Maria Omutuukirivu .... Otusabire
Maria Omutuukirivu Nnyina Katonda..... Otusabire
Omubeererevu omugole w'ababeererevu.....
Nnyina w'eyakomererwa....
Omuzadde anyoleddwa....
Omuzadde akungubaga....
Omuzadde akaaba....
Omuzadde anakuwadde....
Omuzadde eyerabiddwa.....
Omuzadde asinga okuba omunakuwavu.....
Omuzadde eyetooloddwa ennyike....
Omuzadde eyabutikirwa ennyike.....
Omuzadde eyatungibwa empiima.....
Omuzadde eyakomereerwa omutima....
Omuzadde eyanakuwazibwa okufa kwa mutabani wo Ejjuba erisinda....
Nnyina w'abannyoleddwa...
Ensulo ey'amaziga....
Oguyanja gw'obulumi.....
Ekisaawe ky'ebiyiganyizo....
Ekkunnganiro ly'okubonaabona....
Ndabirwamu y'obugumikiriza....
Olwazi olutakyuuka....
Nnyina w'omununuzi.....
Nnyina w'abanunule.,..
Nnyina w'abalamu bonna.....
Nnyina w'abatume....
Omubeererevu omuwulize ernyo...
Omubeererevu ataggwa matenda.....
Omubeererevu omwesigwa....
Omubeererevu omutuufu.....
Omubeererevu ajjudde ekisa....
Omubeererevu omwegayirizi....
Omukyala ow'amaanyi.....
Omukyala omuvumu.....
Omukyala ajjudde okunyolwa.....
Ssanduuke ey'endagaano.....
Omukyala ajjude essuubi..... Omuzadde eyajjulula ekibi ky'omuyigirizwa wa Kristu Eva....
Kiddukiro ky'abanaku....
Buvumu bw'abayigganyizibwa....
Maanyi g'ababonaabona....
Suubi ly'abonoonyi....
Mukubagiza wa banaku.....
Omukubagiza wababundabunda....
Kiddukiro ky'abaavu....
Maanyi g'abanafu.....
Bulamu bw'abalwadde... Kabaka w'abajjulizi....
Kitiibwa ky'eklezia....
Omubeererevu ne mu kuzuukira....
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi ... Tusonyiwe Ayi Mukakama
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi . Tuwe Ayi Mukama
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi ......... Tusaasire
Ayi Nnyina wa Katonda omutuukirivu ...... Tusabire Tulyoke tusaanire okufuna Yezu Kristu byeyatusubiza
Twegayirire :
Ayi Mukama Katonda , Omwana wo Yezu Kristu bwe yakomerererwa ku musaalaba wayagala Nnyina anyoleddwa abeerewo wayagala nga Nnyaffe , okugabana ku kubonaabona kwa Kristu ku kitiibwa ky'okuzuukira kwe . Ggwe awangala n'olamula emirembe n'emirembe . Amiina .
Comments
Post a Comment