SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .
TUGISOME LUNYE TUYIGIRIZE N'ABALALA BANGI .
Mu linnya lya Patri n'erya Mwana n'erya Mwoyo Mutuukirivu .
Ayi Katonda , jangu Onnyambe ! Ayi Mukama , yanguwa Okunnyamba !
Yogera ebyetaago byo ....
Ekitiibwa kibe ekya Patri ........
Nzikiriza Katonda .......
Essaala Eyanjula :
Katonda wange , nkutonera Ssappule eno Ey'ebibonyobonyo Omusanvu ku Iw'okugaziya ekitiibwa kyo , n'olw'okussaamu Maama wo Omutukuvu ennyo ekitiibwa . Nja kwebuulirira ku kubonaabona kwe era nkugabaneko . Nkusaba nga oyima ku maziga ago ge yayiwanga mu budde obwo obuzibu , ompe wamu n'aboonoonyi bonna enneema ez'okubonerera ebibi byaffe .
Mpa wamu n'aboonoonyi bonna okubonerera okujjuvu okw'ebibi byaffe ' x3
Okwenoonya ( Examine your conscience )
( Mussaala ez'enjawulo zetwesomera kinnoomu nga muno mw'otwalidde n'okwebuulirira , kiba kirungi nga enkola , okwemanyiiza okudda eri ssenga w'omutima , kuba okwenoonya kuno kuyamba nnyo mu kutukuza emitima gyaffe awatali kuddirira . Mu kwenoonya tutunuulira ebikolwa byaffe n'endowooza zaffe , ebirungi n'ebibi , wano twekebera munda muli nga tuddamu okwenenya mu mazima ebyo ebigenze obubi , ate nga tuddamu okuwera nga bwe tugenda okwewala ebifo , obudde , n'abantu abatusuula mu bubi , ko n'okwewala ebikemo okutwalira awamu ) ne
Essaala Ey'okubonerera :
Katonda wange mboneredde nnyo ebibi bye nakola , kuba ggwe oli mulungi nnyo omwagalirwa dala ate kuba okyawa ekibi , nga mpereddwa enneema yo , nkomye kuno sigenda kukujeemera . Amiina .
Kitaffe ali mu ggulu ..
Mirembe Maria x 3
" Nnyaffe ajjudde obusaasizi , jjukizanga emitima gyaffe okubonaabona kwa Yezu mu bulumi bw'Omusaalaba . " ( Buli lwomala ekikolwa ddamu essaala eno esomerwa mu kifo kye kitiibwa . )
1.Okubonaabona Okusooka ( oba ekitala ekisooka Okulanga kwa Simeo ( Lk 2:22 -35 )
Bikira Maria asingira Katonda Omwana we yekka mu Kiggwa , Omukadde Omutukuvu Simeo n'amugamba nti , " Laba ono ateekeddwawo kuIw'okuzikirira ne ku Iw'okuzuukira kw'abangi mu Israeli ; era aliba akabonero ke banaawakanyanga naawe omutima gwo ekitala kirigufumita Mu bigambo bino mwe yayita okulanga okubonaabona okuyitirivu era n'okufa kw'Omwana we .
Ebiwundu ebya Yezu , ayi Maria , obyolanga mu myoyo gy'abaana bo .
Kitaffe ali mu Ggulu ...
Mirembe Maria X7
" Nnyaffe ajjudde obusaasizi ............
2. Okubonaabona Okwokubiri Okubungira e Misiri ( Mt 2 : 13-15 )
Bikira Maria yeesanga nga alina okubungira e Misiri okusobola okutaasa Yezu ekiyigganyizo bya Kabaka Erode eyali ayagala okumutta .
Ebiwundu ebya Yezu ....
Kitaffe ali mu Ggulu ........
Mirembe Maria X 7
" Nnyaffe ajjudde obusaasizi ..............
3. Okubonaabona Okwokusatu Okubula kw'Omwana Yezu ( Lk 2:41 -52 )
Bikira Maria nga agenze ku mbaga ya Paska mu Kiggwa yabulwa amayitire g'Omwana Yezu , era okumalira ddala ennaku ssatu nnamba , nga ajjudde okunyolwa , yamumagamaga buli awasoboka nga bali wamu ne Yozefu .
Ebiwundu ebya Yezu ...
Kitaffe ali mu Ggulu ............
Mirembe Maria X 7
" Nnyaffe ajjudde obusaasizi ......
Okubonaabona okw'okuna
Biikira Maria asisinkana Omwana we nga afaabiina n'Omusaalaba ( Lk 23 : 26-27 )
Biikira Maria asisinkana Yezu nga ayolekedde Kalivario yeetisse Omusaalaba omuzito ennyo , kwe yali ali okumpi okukomererwa olw'okutununula .
Ebiwundu ebya Yezu ...
Kitaffe ali mu Ggulu ...
Mirembe Maria X7
" Nnyaffe ajjudde obusaasizi .............
5. Okubonabona Okwokutaano Bikira Maria yaliwo mu Makomerera ga Yezu ( Yo . 19 : 25-27 )
Bikira Maria yali kumpi n'Omusaalaba gwa Yezu n'olwekyo obuswandi bw'obulumi bw'Omwana we afa bwamusenserera ddala mu busomyo .
Ebiwundu ebya Yezu ...
Kitaffe ali mu gulu ..............
Mirembe Maria....(X7)
" Nnyaffe ajjudde obusaasizi ..........
Okubonaabona okw'Omukaaga 6.
Bikira Maria alera omubiri gw'Omwana we oguweddemu obulamu ( Yo . 19 : 38-40 )
Bikira Maria yaliwo nnyo mu kadde akazibu nga basogga effumu mu mutima gw'Omwana we , ate oluvannyuma n'akkiriza okulera omubiri gwe ogutakyalimu kagamba .
Ebiwundu ebya Yezu ...
Kitaffe ali mu Ggulu ...........
Mirembe Maria X7
" Nnyaffe ajjudde obusaasizi .........
7. Okubonaabona okw'Omusanvu Bikira Maria yaliwo mu maziika ga Yezu ( Yo . 19 : 40-42 , Lk . 23 : 53-56 )
Bikira Maria yasenvula n'agoberera Omulambo gw'Omwana we nga gutwalibwa ku ntaana , era ; yaliwo nnyo nga ejjinja eddene likulungulwa okuziba omulyango gw'entaana .
Ebiwundu ebya Yezu ...
Kitaffe ali mu Ggulu ......
Mirembe Maria X7
" Nnyaffe ajjudde obusaasizi
Okumaliriza:
Mirembe Maria x3
Kitaffe ali mu Ggulu x3
Nnyaffe ajjudde obusaasizi , Okubonaabona
kwo kukuume nga ' kulamu mu mitima gyaffe ' x 3
Twegayirire :
Mirembe Maria , ajjudde ennaku Yezu Omukomerere ali naawe , Ye ggwe asaanidde okukwatirwa ekisaasaazi mu bakazi bonna , ne Yezu Omwana w'enda yo asaanidde okukwatirwa ekisaasaazi . Maria Omutuukirivu Nnyina Yezu Omukomerere , tufunyise ffe abaakomereza Omwana wo , amaziga ag'okubonerera okutaliimu bukuusa , kaakano ne mu kaseera ak'okufa kwaffe . Amiina .
Mu linnya lya Patri n'erya Mwana n'erya Mwoyo Mutuukirivu . Amiina
Comments
Post a Comment