AMATENDO G'OBUSAASIZI BWA KATONDA
Ayi Mukama tusaasire : Ayi Mukama tusaasire Ayi Kristu tusaasire : Ayi Kristu tusaasire Ayi Mukama tusaasire : Ayi Mukama tusaasire Ayi Kristu tuwuiire : Ayi Kristu tuwe Katonda Patri Nnyini Ggulu : Tusaasire Katonda Mwana Omununuzi w'Ensi.... Tusaasire Katonda Mwoyo Mutuukirivu.... Tusaasire Trinita Omutuukirivu Katonda Omu : Tusaasire Obusaasizi bwa Katonda , Nnakongerwako esinga mu byonna bye tumanyi ku Katonda . ...Tukwesiga Obusaasizi bwa Katonda , okwagala okutaliiko kkomo okw'Omutukuza . ....Tukwesiga Obusaasizi bwa Katonda , ekyamagero ekitenkanika ekya Trinita Omutuukirivu // Obusaasizi bwa Katonda , amaanyi ga Katonda agasingira ddala amaanyi gonna // Obusaasizi bwa Katonda , mu kutonda Bannaggulu // Obusaasizi bwa Katonda , mu kutondebwa kwaffe nga tuva mu butabaawo ne tujja mu kubeerawo // Obusaasizi bwa Katonda , obumaamidde ebitonde , byonna byonna// Obusaasizi bwa Kat...