AMATENDO G'OBUSAASIZI BWA KATONDA

Ayi Mukama tusaasire : Ayi Mukama tusaasire 
Ayi Kristu tusaasire : Ayi Kristu tusaasire 
Ayi Mukama tusaasire : Ayi Mukama tusaasire 
Ayi Kristu tuwuiire : Ayi Kristu tuwe
Katonda Patri Nnyini Ggulu : Tusaasire 
Katonda Mwana Omununuzi w'Ensi.... Tusaasire 
Katonda Mwoyo Mutuukirivu.... Tusaasire 
Trinita Omutuukirivu Katonda Omu : Tusaasire 
Obusaasizi bwa Katonda , Nnakongerwako esinga mu byonna bye tumanyi ku Katonda . ...Tukwesiga
 Obusaasizi bwa Katonda , okwagala okutaliiko kkomo okw'Omutukuza . ....Tukwesiga
 Obusaasizi bwa Katonda , ekyamagero ekitenkanika ekya Trinita Omutuukirivu //
 Obusaasizi bwa Katonda , amaanyi ga Katonda agasingira ddala amaanyi gonna //
 Obusaasizi bwa Katonda , mu kutonda Bannaggulu //
 Obusaasizi bwa Katonda , mu kutondebwa kwaffe nga tuva mu butabaawo ne tujja mu kubeerawo // 
Obusaasizi bwa Katonda , obumaamidde ebitonde , byonna byonna//
Obusaasizi bwa Katonda , Omutuviira obulamu obutaggwaawo //
Obusaasizi bwa Katonda obutusiikiriza nga butuwonya ekibonerezo ekitusaanidde ; //
Obusaasizi bwa Katonda , obutusitula nga butujja mu bunkuseere bwe kibi ; //
 Obusaasizi bwa Katonda , obutunnyulula nga buyita mu Kigambo Eyeefuula Omuntu //
 Obusaasizi bwa Katonda , obwakulukuta nga buva mu biwundu bya Kristu //
 Obusaasizi bwa Katonda , obufukumuka nga buva mu Mutima Omutukuvu ddala ogwa Yezu // 
Obusaasizi bwa Katonda , obutuwa Biikira Maria Omutuukirivu nga Maama ow'Obusaasizi // 
Obusaasizi bwa Katonda , mu kubikkula ebyamagero bya Katonda ; //
 Obusaasizi bwa Katonda , obwalabikira mu Ekelezia nga etandika //
Obusaasizi bwa Katonda , obuweebwa omuntu mu Masakramentu amatukuvu // 
 Obusaasizi bwa Katonda , bwe tufunira mu Masakramentu ga Batismu ne Penetensia//
 Obusaasizi bwa Katonda , bwetufunira mu Masakramentu ga Ukaristia ne Ordini //
Obusaasizi bwa Katonda , obulabikira mu kuyitibwa kwaffe eri okukkiriza okutukuvu // 
Obusaasizi bwa Katonda , obulabikira mu kukyuusa abonoonyi ; //
Obusaasizi bwa Katonda , obutuusa abeesigwa ku butuukirivu ; //
 Obusaasizi bwa Katonda , ensulo y'obuyambi eri abalwadde n'ababonaabona ; //
 Obusaasizi bwa Katonda , ekikubagizo ky'emitima eginyoleddwa ; - // 
Obusaasizi bwa Katonda , essuubi lyokka eri emyoyo egiterebuse ; // 
Obusaasizi bwa Katonda , obutuwerekera buli kadde mu bulamu bwaffe ; // 
Obusaasizi bwa Katonda , obutulengeza enneema zetwetaaga ; //
 Obusaasizi bwa Katonda , ekiwummulo ky'abali mu kaseera ak'okufa ; //
 Obusaasizi bwa Katonda , essanyu ly'omu Gġulu erya banunuddwa ; //
Obusaasizi bwa Katonda , akalembereza ekikubagizo ky'Emyoyo egiri mu Purigatori
 Obusaasizi bwa Katonda , Engule y'Abatuukirivu bonna ; //
 Obusaasizi bwa Katonda ensulo etakalira era ey'eby'ewuunyo; ||

Akaliga ka Katonda ggwe eyejjayo mu ngeri esingira ddala amaanyi ekifaananyi ky'obusaasizi ng'Onunula ensi era ng'ofiira ku musaalaba ........ Tuwulire Ayi Mukama

 Akaliga ka Katonda ggwe ey'ewaayo mu buli Kitambiro kya Missa olw'okubeera ffe ..... Tuwe Ayi Mukama :

 Akaliga ka Katonda ggwe ajjawo ebibi byaffe mu kusaasira okutakoma ....... Tusaasire
 Obusaasizi bwa Katonda buli ku bitonde bye • . byonna ;
 Obusaasizi bw ' Omukama ndi buyimba emirembe gyonna .

 TWEGAYIRIRE 
Ayi Katonda ataggwaawo , ggwe Obusaasizi obutakoma era enkuluze ey'okukubagiza okutaliiko kkomo , tutunuulize eriiso lyo ery'ekisa era oyongere obusaasizi bwo mu ffe , mu budde obuzibu tuleme okuggwaamu amaanyi oba okuterebuka , wabula n'obumalirivu obungi tusobole okwessanga bulijjo mu ekyo ggwe ky'oyagala ekitukuvu , anti kwe kwagala era bwe Busaasizi bwennyini . Tukikusaba nga tuyita mu Kristu Mukama waffe , Kabaka w'Obusaasizi , oyo nga ali naawe wamu ne Mwoyo Mutuukirivu atulaga obusaasizi kakano emirembe n'emirembe . Amiina

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU