ESSALA YA MIKAYILI OMUTUKILIVU ESIBA SITAANI
Mu linnya lya Yezu Kristu, nkozesa obuyinza bwa Batismu yange (Mk16:17) ne nsiba amaanyi gonna agomubanga, ku lukalu, mu amazzi, mu bwengula, mu magombe, mu bitonde ne mu muliro.Yezu Ggwe Mukama wensi yonna era nkuwa ekitibwa nettendo olwobutonzi bwo. Mu linnya lya Yezu Kristu nsiba amaanyi ga sitaani agatulumba mu nju yaffe ne mu maka gaffe.
Era newongera Omusayi gwa Yezu ogwomuwendo ennyo ogwayiika olwokubeera ffe ku Musaalaba .Bikira Maria Nnyaffe, tusaba obukuumi bwo nobuwolereza bwo eri Omutima Omutukuvu Enyo ogwa Yezu. Tubugirize nekiremba kyo ekijjudde obwagazi okuyenjebula omulabe.
Mikayiri Ssaabamalayika ne Bamalayika abakuumi mwenna Mujje mututaase nabenju yaffe bonna mulutalo Lwe tulwanamu nemyoyo emibi egitabaala ensi eno. Mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu, nga tuyita Musaayi Gwe ogwomuwendo ennyo nsiba era ndagira ammanyi ga sitaan okutwamuka embagirawo, okutuviira mu maka gaffe nettaka lyaffe nebibtu byaffe byonna.
Tukwebaza Yezu Mukama waffe Kuba oli Katonda Omwesigwa era Owekisa.
AMIINA.
Comments
Post a Comment