NOVENA EWANJAGIRA OBUSAASIZI BWA KATONDA


 Jjukira nti buli ssaawa EY'OMWENDA y'essaawa ey'ENNEEMA Katonda watuweera enneema ez'enjawulo ennyo olw'okwagala Obusaasizi bw'Omwana we Mukama waffe Yezu Kristu essaawa mwe yafiira . Eggulu libikkuka era abeerawo nga alinze ensi eyayaanire obusaasizi bwe obutakoma , Abamukoowoola essaawa eyo n'okusabira aboonoonyi bonna beenenye ate naawe osabe ebibyo bye weetaaga

OLUNAKU OLUSOOKA

 Tusabe Katonda ayoleke Obusaasizi bwe eri Abatonde bonna , naddala aboonoonyl ...... Yezu Omusaasizi , ggwe atukwatirwa ekisa era atusonyiwa , totunuulira bibi byaffe , naye obwesige bwe tulina mu bulungi bwo obutakoma . Twanirize ffenna mu Mutima gwo ogw'obusaasizi era tokirizanga n'omu ku ffe kwawukananga ku Mutima gwo . Tukikusaba mu mukwano ogwo ogukugatta awamu ne Patri ne Mwoyo Mutuukirivu mukyamagero kya Trinita Omutuukirivu .

Kitaffe .....
Ekitlibwa .....
Mirembe Maria ......
Kitaffe ataggwaawo , tunuliza ekisa abatonde bonna , naddala abonoonyi anti bano essuubi lyabwe lisigadde mu Mutima gw'Omwana wo era Mukama waffe , Yezu . Kristu . Olw'okubeera okubonaabona kwe tubikkulire Obusaasizi bwo tulyoke tugulumize obuyinza bwo obutakoma . 
AMIINA .

OLUNAKU OLW'OKUBIRI

 Tusabire Abasaserdooti ne Bannaddiini bonna , Obusaasizi bwa Katonda mwe buyita okutuuka eri abatonde bonna ........ Yezu Omusaasizi , ggwe ensibuko ya buli kirungi kyonna , yongeza ebitone n'enneema zo mu myoyo gy'Abasaserdooti ne Banaddiini abasajja n'abakazi , basobole okukola mu nnímiro yo ey'emizabbibu nga basaanidde , babazeemu ebibala ebirungi ate olw'ebigambo n'ebikolwa byabwe ebirungi bakolereze omuliro ogw'okutendereza Obusaasizi bwa Katonda . 

 Kitaffe ....
Ekitiibwa ..... 
 Mirembe Maria ..... 

 Kitaffe ataggwaawo , tunuuliza ekisa abaweereza bo mu nnimiro yo , anti gy'emyoyo gy'Abasaserdooti , Bannaddiini abasajja n'abakazi abaganzi kayingo ab'Omwana wo era Mukama waffe Yezu Kristu . Banyweze n'emikisa gyo era bafunire okutangaazibwa mu ngeri ey'enjawulo basobole okukulembera abalala mu kkubo ly'obulokofu n'okubasikiriza okuddukira eri Obusaasizi bwo . 
AMIINA .

OLUNAKU OLWOKUSATU

 Tusabire ababatize bonna abanylikivu ............. Ayi Yezu ajudde Obusaasizi , ggwe abunduggula enneema zo mu batonde bonna nga ziva mu ggwanika ly'Obusaasizi bwo ; yaniriza abakkiriza bonna mu kiwummulo ky'Omutima gwo ogujjudde Obusaasizi . Toganyanga n'omu ku ffe okwawukananga na Mutima gwo . Tukusaba nga tuyita mu mukwano ogukugatta awamu ne Kitaffe ne Mwoyo Mutuukirivu mu ky'amagero kya Trinita Omutuukirivu .

 Kitaffe ........... 
Mirembe Maria .......
Ekitilbwa ..... 
Ayi Kitaffe ataggwaawo , tunuuliza ekisa emyoyo gy'abakkiriza anti nga ky'eky'obusika eky'omuwendo eky'Omwana WO . Olw'okubonaabona kwe okuyitirivu , giyiweeko emikisa gyo era ogibugirize n'obulabirizi bwo obutagooka , bwe gityo gireme okuddirira mu kwagala n'ekitone eky'okukkiriza . Bwe gityo nga gye gasse n'Eggye lya Bamalayika n'Abatuukirivu , gitendereze Obusaasizi bwo obutakoma , emirembe gyonna . AMIINA .

OLUNAKU OLW'OKUNA

  Tusabire abakaafiiri n'abatakkiriza bonna abatannamanya Busaasizi bwa Katonda ...Ayi Yezu Omusaasizi ggwe kitangaala ky'ensi ,, yaniriza mu Mutima gwo Omusaasizi emyoyo gy'abakaafiiri , negy'abatakkiriza egitannakumanya . Ekitangaala ky'enneema zo kigimulise , bwe gityo gyetabe wamu naffe mu kugulumiza eky'amagero ky Obusaasizi bwo emirembe gyonna . AMIINA .

 Kitaffe ....
 Ekitiibwa .... 
Mirembe Maria .......... 

 Ayi Kitaffe ataggwaawo , tunuuliza ekisa emyoyo gy'abakaafiiri n'abatakkiriza abatanamanya Busaasizi obuyitiridde obw'Omutima gw'Omwaanawo era Mukama waffe Yezu Kristu . Bakomyeewo mu Kitangaala ky'Evanjiri yo basobole okumanya nga bwe kiri eky'essanyu okukwagala , n'okutendereza obusaasizibwo , emirembe gyonna . 
AMIINA .

OLUNAKU OLW'OKUTAANO

 Tusabire abo abawabye okuva mu bye tukkiriza ... Ayi Yezu Omusaasizi , ggwe ensibuko ya buli kalungi konna , era atamma kitangaala eri abo abakyetaaga , yaniriza mu Mutima gwo ogujjudde obusaasizi emyoyo gy'abo abawabye okuva mu kkubo ery amazima Bakomyewo n'ekitangaala kyo , beegatte ku Kelezia wo , bwe tutyo ffenna nga twegase wamu tugulumize obulungi bw'obusaasizi bwo obutakoma . 
Kitaffe .... 
Ekitiibwa ... 
Mirembe Maria ...........
 Ayi Kitaffe , ataggwaawo , tunuuliza ekisa emyoyo gy'abo abawabye okuva ku mazima ge watuyigiriza , ne balinnyirira ebitone by'obawa , bwe batyo ne bagugubira mu nsobi zaabwe . Totunuulira buseegu bwabwe , naye ku kwagala n'okubonaabona ennyo okw'Omwana wo , anti ku luli olwakulembera okufa kwe yawanjagira bonna babeere kimu . Basaasire obakomyewo mangu mu kwegatta okwo ! bwe tutyo ffenna tugulumirize wamu ekisa kyo emirembe gyonna . 
AMIINA .

OLUNAKU OLW'OMUKAAGA

 Tusabire Abaana Abato era n'abo ab'emyoyo egifaanana egy'abaana abato ......... Ayi Yezu Omusaasizi , ggwe ey'agamba nti muyigire ku nze kuba ndi muteefu ate mwetowaze , yaniriza mu Mutima gwo ogujjudde obusaasizi emyoyo 
gy'abaana abato n'abo okufaananako abaana abato , abalina emyoyo emiteefu era emyetowaaze , ekyo nga kibafuula ebimuli eby'akaloosa mu maaso ga Nnamulendo ya Katonda ali mu ggulu . Tukuwanjagira beyongere okunywerera mu bubudamu bw'Omutima gwo omutukuvu era n'okweyongera okugulumiza Obusaasizi bwa Katonda .
 Kitaffe ... 
Ekitiibwa ... 
Mirembe Maria ...
 Ayi Kitaffe attaggwaawo , tunuuliza ekisa emyoyo gy'abaana abato wamu n'emyoyo gy'abo bonna abafaanana omwana wo mu buteefu n'obwetowaze mu mwoyo abambuka awali Namulondo ye mu kawoowo ak'ebikolwa byabwe ebirungi . Ayi Kitaffe ow'Obusaasizi tukuwanjagira nga tuyita mu mukwano n'okusanyusibwa by'olina gye bali , tuyiweeko emikisa gyo wamu n'ensi yonna tusobole okwegatta ' nga tutendereza Obusaasizi bwo emirembe gyonna . AMIINA .

OLUNAKU OLW'OMUSANVU

 Tusabire abassa mu Katonda ekitiibwa olw'ekisa kye era nga basaasaanya obwesige bwabwe obwo , bwe batyo ne bafuuka eky'okulabirako eky'Omutima gwa Yezu ogujjudde Obusaasizi ........ Ayi Yezu Omusaasizi , alina Omutima ogw'okwagala , yaniriza mu Mutima gwo ogujjudde Obusaasizi emyoyo gy'abo abakugulumiza mu ngeri ey'enjawulo obusaasizi bwo era nga beebo abeesiga amaanyi okuviira ddala gy'oli ggwe Katonda era abeegomba okugabana naawe ku musaalaba gw'okubonaabona kwo ku lw'abalala bonna nga bagumira buli kigezo kyonna wamu n'okulumwa . Bawambaatire n'Obusaasizi bwo obutagooka obajjuze empisa ennungi ey'obuvumu n'obukkakkamu wamu n'obugumiikiriza . 
Kitaffe .... 
Ekitilbwa ....
 Mirembe Maria .....
 Ayi Kitaffe ataggwaawo , tunuuliza amaaso go ag'Obusaasizi eri emyoyo naddala emyoyo gy'abo abakugulumiza n'okukutendereza n'eggonjebwa Obusaasizi bwo obutagooka . Nga beebo mu bigambo ne mu bikolwa abakugulumiza nga balaga abalala obusaasizi nga balabira ku ggwe .
Tukuwanjagira oyongere okubannyikkiza Obusaasizi bwo ng'osinziira ku bwesige bwe balina gy'oli wamu n'ebisuubizo byo , obalwaninire kyenkana ng'ekitiibwa kyo ate naddala mu kaseera akavannyuma ak'obulamu bwabwe . AMIINA .


OLUNAKU OLW'OMUNANA

 Tusabire emyoyo egiri mu Purgatoori egikyasasula ekibonerezo mu bwenkanya bwa Katonda , ensulo z'Omusaayi gwa Yezu ezijjudde obusaasizi , ziweeweeze wamu n'okukendeeza ku kibonerezo kyabwe..... Ayi Yezu Omusaasizi , ggwe ey'agamba nti mubeere basaasizi nga Kitammwe bw'ali Omusaasizi , yaniriza , mu Mutima gwo ogujjudde obusaasizi , emyoyo egibonaabona mu Purgatori nga gisasula ebbanja ly'ebibi ebigibanjibwa Katonda mu bwenkanya bwe , ensulo y'Omusaayi n'Amazzi ebyawamatuka mu Mutima gwo Omutukuvu ; zizikize ennimi z'omuliro gw'omu Purgatori , bwe kityo obuyinza bw'Obusaasizi bwo nate bugulumizibwe nnyo .
 Kitaffe ..........
 Ekitilbwa .... .
 Mirembe Maria ......
Ayi Kitaffe ataggwaawo tunuuliza ekisa emyoyo mu Purgatoli , olw'okubeera egibonerezebwa okubonaabona ennyo okwa Mukama Waffe Yezu Kristu era n'obubalagaze ebya buutikira . Omutima gwe Omutukuvu , tukuwanjagira osaasire abo bonna abakyabonerezebwa mu bwenkanya bwo . Tukuwanjagira obalabire mu biwundu by Omwana wo omwagala ddala era Mukamna Waffe Yezu Kristu , alina Obusaasizi obubuutikira okulamula okw'obwenkanya . AMIINA .

OLUNAKU OLW'OMWENDA

  Tusabire abo abalina okwagala okunnyogovu era abaaleetera Mukama waffe okunyolwa okutagambika mu nnimiro y'e Getesimani.... Ayi Yezu Omusaasizi , obulungi bwonna busibuka mu ggwe ; yingiza mu Mutima gwo ogujjudde obusaasizi emyoyo gyonna egirina okwagala okw'ekisuususu anti abo nga bafanana nga ekivundu eky'olumbe , be bakujjuza ebirowoozo eby'okulumwa n'okwetamwa mu nnimiro y'e Getesimani . Bannyike mu kabiga k'okwagala kwo okwa nnamaddala , era wangula okusagaasagana kwabwe obakolerezeemu omuliro basobole okukwagalira ddala bulijjo , era beeyongerenga bulijjo okutendereza Obusaasizi bwo obutaliiko kkomo .
Kitaffe ...... 
Ekitiibwa .....
 Mirembe Maria ....
 Ayi Kitaffe ataggwaawo , tunuuliza ekisa emyoyo egirina okwagala okw'ekisuususu okubeera kw'Omwana wo okubonaabona okuyitirivu omwagalwa era Mukama Waffe Yezu Kristu , n'olw'obubalagaze bwe yawulira ng'ali ku Musaalaba okumalira ddala essaawa ssatu nambirira, emyoyo gya bannampawengwa gikumemu omuliro giddemu buto okukolerera ekitiibwa kyo , emitima gyabwe gijjuze okwagala okwa nnamaddala , bwe gityo nga gimaze okuddamu amaanyi gikole ebikolwa eby'ekisa ku nsi , oluvannyuma batendereze Obusaasizi bwo emirembe nyonna . AMIINA .

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU