EKKUBO LY'OMUSAALABA
EKKUBO LY'OMUSAALABA OKWEGAYIRIRA OKUSOOKA Yezu, mulokozi waffe! Laba ffe tuutuno tufukamudde mu maaso go, nga tukuwanjagira otugirire ekisa, aboonoonyi obawe okwenenya ate oyambe emyoyo egiri mu purgatori ! Ffenna nga bwe tuli wano tukaabira obulokofu bwe watufunira mu kubonaaboona kwo, era tukusaba n'amannyi ag'okwagala ekkubo lino ery'enakku erituusa mu ssanyu ery'omu ggulu. Ggwe nno, mulokozi waffe, gonza emyoyo gyaffe ,ogisseemu okukyawa ebibi n'okubibonerera tulyoke tugumire byonna ebikaabya nebinakuwaza. Naawe Maria omutuukirivu, eyassa ekimu n'omulokizi waffe okutulwanirira ennyo, tukwatirwe ekisa. Ebirowoozo eby'okusaasira Yezu Kristu n'ebyokumwagala bye tunaawulira kaakano nga tukyasoma ,bisitule obyoleke katonda waffe, biryoke bimwelabize ekyejo kyaffe n'ekyabantu bonna abatamwagala. Ebiwundu ebya Yezu Ayi Maria obyolanga Mu myoyo gy'abaana bo Tukuvunamira Yezu nga tukuwa ekitiibwa kubanga wanunula ensi Ngotufirira kumusalaaba...