EKKUBO LY'OMUSAALABA
EKKUBO LY'OMUSAALABA
OKWEGAYIRIRA OKUSOOKA
Yezu, mulokozi waffe! Laba ffe tuutuno tufukamudde mu maaso go, nga tukuwanjagira otugirire ekisa, aboonoonyi obawe okwenenya ate oyambe emyoyo egiri mu purgatori ! Ffenna nga bwe tuli wano tukaabira obulokofu bwe watufunira mu kubonaaboona kwo, era tukusaba n'amannyi ag'okwagala ekkubo lino ery'enakku erituusa mu ssanyu ery'omu ggulu.
Ggwe nno, mulokozi waffe, gonza emyoyo gyaffe ,ogisseemu okukyawa ebibi n'okubibonerera tulyoke tugumire byonna ebikaabya nebinakuwaza.
Naawe Maria omutuukirivu, eyassa ekimu n'omulokizi waffe okutulwanirira ennyo, tukwatirwe ekisa.
Ebirowoozo eby'okusaasira Yezu Kristu n'ebyokumwagala bye tunaawulira kaakano nga tukyasoma ,bisitule obyoleke katonda waffe, biryoke bimwelabize ekyejo kyaffe n'ekyabantu bonna abatamwagala.
Ebiwundu ebya Yezu
Ayi Maria obyolanga
Mu myoyo gy'abaana bo
Tukuvunamira Yezu nga tukuwa ekitiibwa kubanga wanunula ensi
Ngotufirira kumusalaaba.
I(1)
EKITUNDU EKISOOKA
PILATO ASALIRA YEZU OMUSANGO OGW'OKUMUTTA
Tulabe Yezu kristu nga bwali, omutwe gwe gubunye ebiwundu by'amaggwa emba zizimbye olw'empi, ekirevu kye bakikuunyudde! Nannyini kulamula nakiriza okulamulibwa pilato omuntu obuntu; ekibiina ky'abayudaaya ne kireekaana nti "Afe, akomererwe"
Ayi mulokozi, naffe twetaba ne pilato n'abayudaaya okukusombera
ensonyi n'okukutta nga tukujeemera. Naye ebibi byaffe tubikyayira ddala obutakyabiddamu.
Kitaffe.....
Mirembe Maria....
Ekitiibwa....
M.Ayi mukama tusaasire!
B.otusaasire
M.Emyoyo gy'abakkiriza katonda ajikwatirwe ekisa agiwe ekiwumulo ekyemirembe.
Amiina
Ebiwundu.......
II(2)
YESU BAMUTIKKA OMUSAALABA
Yezu Kristu emiggo gyali gimumazeeko olususu, era baamala gamutikka omusaalaba omunene ku mubiri omwereere nga tibassaako nkata. Yezu n'agenda ng'agusitudde nga tawalula muwalule, yagenderera okutuyigiriza obutamutenguwa mu ddiini, n'obutanyigira nnaku n'eddwadde, ebiba ag'omusaalaba gwaffe.
Ayi mulokozi! Ggwe atalina kabi, era n'okkiriza okutwala amaanyi omusaalaba ogukuzitoowerera gutyo!...
Ffe nno bannannyini musango tukyadduka tutya obulumi obutusaanidde?
Tukwegayiridde, tuwe amaanyi ag'okugumira ennaku zaffe eza bulijjo, tulyoke tumusasuliremu amabanja ag'ebibi byaffe.
Kitaffe.......
Mirembe Maria.......
Ekitiibwa.......
M. Ayi mukama tusaasire
B. Otusaasire
M. Emyoyo gy'Abakkiriza Katonda ajikwatire ekisa agiwe ekiwummulo eky'emirembe. Amiina
Ebiwundu...........
YEZU ASOOKA OKUGWA WANSI
Tulabe Yezu bw'genda abebbera mu nguudo z'eYeruzalimu nga bamusindiikiriza n'emiggo, eno nga bamusamba; n'agwa wansi olw'okuluyirirwa obuzito bw'omusaalaba.
Ayi Mulokozi waffe, ebibi byaffe bye byakumegga ekigwo! Leero tuyambe mu bulebevu bwaffe, tulambike mu kkubo erituusa mu ggulu mwe tuliwummulira.
Kitaffe.......
Mirembe Maria........
Ekitiibwa........
M. Ayi mukama tusaasire
B. Otusaasire
M. Emyoyo gy'Abakkiriza Katonda ajikwatire ekisa agiwe ekiwummulo eky'emirembe. Amiina
Ebiwundu..........
IV
YEZU ASISINKANA NNYINA
Maria omubeererevu bwe yawulira nga batwala omwana we okumutta n'adduka mangu n'amusisinkana mu kkubo eriraga ku Kalvario bwe yalaba omwana we n'alwala nnyo mu mwoyo ebitalwalika. Ekigambo Simeo kye yalanga ne kiryoka kituukirira ddala nti. "Empiima erikufumita omutima" N'ajjukira ng'abantu tibalirema kuzikirira, wabula ng'omwana we abafiiriridde okubalokola, awo n'akkiriza Yezu afe, abantu balokoke.
Ayi Maria Nnyaffe ow'ekisa, ffe abasi b'Omwana wo totwesammula. Tusonyiwe obulumi bwe tukuleetedde.
Kitaffe.....
Mirembe Maria.......
Ekitiibwa.......
M. Ayi mukama tusaasire
B. Otusaasire
M. Emyoyo gy'Abakkiriza Katonda ajikwatire ekisa agiwe ekiwummulo eky'emirembe. Amiina
Ebiwundu............
V(5)
SIMONI OW'ESIRENE YEETIKKIRAKO YEZU KRISTU OMUSAALABA
Abambowa bwe balaba Yezu ng'agwa lunye, ne bakwata omusajja Simoni ow'eSirene ne bamuwaliriza okwetikkirako Yezu omusaalaba.
Ayi Simoni leka kunyiiga na kuwalira! Naye weetikke omusaalaba gwe bakutiise, kuba gwe gujja okukuviiramu ettendo ennaku zonna nga bajjukira erinnya lyo ku lw'okukwatirako Yezu omusaalaba gwe.
Omulokozi yakkiriza bw'atyo okubeerwa; naye si lwa bukoowu na kubulwa maanyi, yagenderera okututegeeza nga bw'asanyukira ababonaabona naye nga bagatta obulumi bwabwe ku bubwe.
Kitaffe.......
Mirembe Maria.........
Ekitiibwa.....
M. Ayi mukama tusaasire
B. Otusaasire
M. Emyoyo gy'Abakkiriza katonda ajikwatire ekisa agiwe ekiwummulo eky'emirembe. Amiina
Ebiwundu............
Vi(6)
OMUKAZI ASIIMUULA YEZU MU MAASO N'EKIREMBA
Omukazi ow'ekisa erinnya lye Veronika, bwe yalaba ng'amaaso ga Mukama waffe goonoonese omusaayi, n'akwatiibwa ekisa, n'addira ekiremba kye, n'akimusanguza mu maaso Yezu okumwebaza n'amulekera ekirabo ky'ekifaananyi ky'emaaso ge nga gakwatidde mu kiwero ky'amusiimuzza.
Ayi Mulokozi omusiirikirivu atatendeka! Obulungi bwo bubulidde wa? Leero bufaafaganye! Ebibi byaffe bikwonoonye!
Tukusaba nga tukaaba otukyayise ebibi byaffe, kuba bye byafumya amaaso go.
Kitaffe........
Mirembe Maria........
Ekitiibwa......
M.Ayi mukama tusaasire
B. Otusaasire.
M. Emyoyo gy'Abakkiriza Katonda ajikwatire ekisa agiwe ekiwummulo eky'emirembe. Amiina
Ebiwundu........
Vii(7)
YEZU AGWA OMULUNDI OGW'OKUBIRI
Yezu bwe yalowooza obukakanyavu bw'abantu abaddamu okwonoona nga bamaze okusonyiyibwa, n'alwala nnyo mu mwoyo, n'agwa omulundi ogwokubiri. Abambowa bwe baalaba agudde nga takyasa na mukka, ne bamusikambula nga bamukuba agolokoke Mulokozi waffe yayagala okubonerezebwa bw'atyo okubeera ebibi byaffe bye tukola olutata n'abagenda gy'ali okubawa ekisonyiwo ekyebibi byabwe newaakubadde nga bingi.
Kitaffe......
Mirembe Maria.......
Ekitiibwa........
M. Ayi mukama tusaasire
B. Otusaasire.
M. Emyoyo gy'Abakkiriza Katonda ajikwatire ekisa agiwe ekiwummulo eky'emirembe. Amiina
Ebiwundu.........
Xii(12)
YEZU AFIIRA KU MUSAALABA.
Bwe baamala okumukomerera ne basitula omusaalaba ne bagusimba: Yezu n'alengejjera okwo, nga taliiko na we yeekubirira.
Awo Yezu n'asabira abamukomeredde, nti "Kitange basonyiwe kubanga tibamanyi kye bakola" - Enkalamata n'eryoka emukaabya, nti Ennyonta ennuma nnyo- Awo abaaliwo ne bamuweereza endulwe.
Omulokozi n'akuba ekiwoobe Kinene nti "Kitange nziza gy'oli omwoyo gwange n'afa!
Ayi mulokozi waffe omwagalwa ennyo! Omaze okufa okubeera ffe, naffe twagala okufa okubeera ggwe. Leero bwe tunaabuuzibwa ku bino byombi; okufa oba okwonoona: tunaalondawo okufa, ne tulekawo okwonoona.
Kitaffe.......
Mirembe Maria...........
Ekitiibwa.........
M. Ayi Mukama tusaasire.
B. Otusaasire
M. Emyoyo gy'Abakkiriza Katonda ajikwatire ekisa agiwe ekiwummulo eky'emirembe. Amiina
Ebiwundu.............
Xiii(13)
YEZU BAMUWANULA KU MUSAALABA.
Yezu bwe yamala okufa, Pilato n'akkiriza Nnyina w'omufu atwale omulambo gw'omwanawe, Maria Omubeererevu n'amukwata mu mikono gye, n'amuleza ekisa nga yenyamidde. Bwe yalaba omubiri ogwo gwonna bwe guzimbye ebiwundu, n'amaaso nga gazimbiridde, n'emikono nga giragaya, omulambo nga gunnyogoze, n'akwatibwa ennaku nnyingi n'alira nnyo.
Ayi Maria Nnyaffe ajjudde okunyolwa! Tukusaasidde, Naye ggwe Nnyaffe ow'ekisa jjukira nga tuli baana bo bw'otyo otufunire mu ggulu ekisonyiwo.
Ng'obadde otusonyiyisizza, tukusuubiza okukkwagala ennaku zonna n'okunyumizaako abalala, bonna bawulira ku kisa kyo.
Kitaffe........
Mirembe Maria...........
Ekitiibwa..........
M. Ayi Mukama tusaasire
B. Otusaasire
M. Emyoyo gy'Abakkiriza Katonda ajikwatire ekisa agiwe ekiwummulo eky'emirembe. Amiina
Ebiwundu..............
Xiv(14)
YEZU KRISTU AZIIKWA.
Omulambo gwa Yezu baaguziraga, ne baguziika mu ntaana eyali esimiddwa mu lwazi, etaziikibwangamu muntu - Yezu yayagala okuteekebwa mu ntaana empya, ate enggumu ey'ejjinja, okututegeeza nga bw'atuula n'essanyu mu myoyo emikakafu mu ddiini, egitaliimu bibi.
Ayi Mulokozi, omwagazi w'abantu abatukuvu! Emyoyo gyaffe ogimanyi nga bwe giri emirebevu, era nga si mirongoofu; mulimu gwo okutuwa enneema ey'okugiddaabiriza. Ng'omaze okugyozaamu ekko ery'ebibi ginyirize ng'ogikakasa mu ddiini; gibeeremu omu wekka, okutuusa ku lunaku lwe tulizuukira, okugabana naawe mu ggulu esanyu eritaggwaawo.
Kitaffe.........
Mirembe Maria.........
Ekitiibwa........
M. Ayi Mukama tusaasire
B. Otusaasire
M. Emyoyo gy'Abakkiriza Katonda ajikwatire ekisa agiwe ekiwummulo eky'emirembe. Amiina
Ebiwundu...........
Xv(15)
YEZU KRISTU AZUUKIRA
Ku lunaku oluddirira Ssabaato, mu matulutulu ddala, Yezu yava mu ntaana n'ekitiibwa nga walumbe amuwangudde, tukyaddayo kufa!
Ayi Yezu wabonaabona n'ofa okubeera ebibi byaffe, olyoke ozuukire okutuwa obulamu obuggya, obututuusa naffe ku kuzuukira n'emibiri gyaffe.
Tukwegayiridde, tuwe okukkiriza ebizibu bye tusanga mu bulamu bwaffe; bwe tutyo naffe tusobole okugabana ku kitiibwa kyo mu ggulu.
Kitaffe.......
Mirembe Maria........
Ekitiibwa........
M. Ayi mukama tusaasire.
B. Otusaasire.
M. EMyoyo gy'Abakkiriza Katonda ajikwatire ekisa agiwe ekiwummulo eky'emirembe. Amiina
Ebiwundu..........
OKWEGAYIRIRA OKUMALIRIZA.
V/ Tukuvuunamira Yezu ne tukuwa ekitiibwa,
R/ Kuba wanunula ensi ng'otufiirira ku musaalaba.
V/ Tusabire ayi Maria Omubeererevu anyoleddwa.
R/ Tulyoke tusaanire Yezu Kristu bye yatusuubiza.
*TWEGAYIRIRE;
Ayi Mukama, ssa amaaso ku baana bo bano, kuba Mukama waffe Yezu Kristu siyassaamu kantu ne yeewaayo mu mikono gy'abamukyaye, okubeera bo, n'abafiirira mu bulumi obw'omusaalaba.
R/ Saasira, ayi Mukama, saasira ekibiina kyo.
V/ Totusunguwaliranga mirembe na mirembe.
R/ Yezu nannyinikisa, bawe emirembe.
V/ Emirembe n'emirembe.
Tusabire Paapa Mukulu waffe.
-Kitaffe.......
- Mirembe Maria.........
- Ekitiibwa..........
Amiina
Comments
Post a Comment