NOVENA YA YOZEFU OMUTUUKIRIVU (OKUVA NGA MARCH 10-19)
Ayi Kitaffe Yozefu omutuukirivu ow’ekitiibwa ennyo, ggwe omugoberezi wa Yezu omwesigwa, tuddukira gy’oli nga tukuwanjagira, olw’obuwolereza bwo obw’amaanyi, tukusaba otufunire eri Omutima gw’omwanawo Yezu omusaasizi, ebyetaago byaffe byonna eby’omwoyo n’eby’omubiri, naddala enneema ey’okufa obulungi. Mu ngeri ey’enjawulo, tukusaba otufunireyo ebyetaago byaffe bino bye tukwanjulira. (Wano siriikiriramu oyanjuleyo ebyetaagobyo).
Ayi Omukuumi wa Kigambo eyefuula Omuntu, tumanyi bulungi nti essaala zo tezigwa butaka, era tukakasa nti nga ozitwanjulidde eri Katonda Kitaffe, tetuleme kufuna byonna bye tukusabye, ku lw’ekitiibwa kya Katonda, ne ku lw’obulungi bwaffe.
AKULEMBERA : Ayi Yozefu Omutuukirivu ow’ekitiibwa, olw’okwagala kwe wayagalamu Yezu Kristu n’olw’ekitiibwa ky’erinnya lye;
FFENNA : Wuliriza essaala zaffe, otufunire eri Katonda ebyetaago byaffe.
YEZU, MARIA YOZEFU, MBAAGALA MULOKOLE EMYOYO.
( Oyinza okukiddamu emirundi 7, okujjukira ebikolwa bya Yozefu eby’essanyu n’ennaku omusanvu)
AMATENDO GA YOZEFU OMUTUUKIRIVU
Ayi Mukama, tusaasire X2
Ayi Kristu, tusaasire X2
Ayi Mukama, tusaasire X2
Ayi Kristu, tuwulire
Ayi Kristu, tuwe.
Patri ow’omu ggulu Katonda , tusaasire
Mwana Omun unuzi w’ensi Katonda, tusaasire
Mwoyo Mutuukirivu Katonda, tusaasire
Trinita Omutuukirivu Katonda omu, tusaasire
Maria Omutuukirivu, tusabire
Yozefu Omutuukirivu, tusabire
Muzzukulu omukulu ennyo owa Daudi, tusabire
Mukulu wa Bajjajja, tusabire
Bba Nnyina Katonda, tusabire
Mukuumi omutukuvu owa Bikira, tusabire
M ukuza w’Omwana wa Katonda, tusabire
Mukuumi omwesigwa owa Yezu Kristu, tusabire
Mukulu w ’ekika ekitukuvu, tusabire
Yozefu Omutuukirivu ddala, tusabire
Yozefu Omutukuvu ddala, tusabire
Yozefu omwegendereza ddala, tusabire
Yozefu omuvumu ddala, tusabire
Yozefu omuwulize mu byonna, tusabire
Yozefu ow ’obwesige obungi ddala, tusabire
Ndabirwamu y ’obugumiikiriza, tusabire
Mwagazi w ’obwavu, tusabire
Ggwe alabirwako abakozi b ’emirimu, tusabire
Ttendo ly ’omu maka, tusabire
Mukuumi w ’ababeererevu, tusabire
Luwaga w ’ebika byonna, tusabire
Kikubagizo ky ’abanaku, tusabire
Ssuubi ly ’abalwadde, tusabire
Muwolereza w ’abazirika, tusabire
Ntiisa y ’amasitaani, tusabire
Mukubiriza w ’Eklezia Omutukuvu, tusabire
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by’ensi,
-Tusonyiwe, ayi Mukama
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by’ensi,
-Tuwe ayi Mukama
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by’ensi,
-Tusaasire.
AKULEMBERA : Omukama yamufuula omukulu w’ennyumba ye,
FFENNA : n’amuwa n’okulabirira ebintu bye byonna.
TWEGAYIRIRE
Ayi Katonda, Ggwe eyateesa mu magezi go agatatendeka, okulonda Yozefu Omutuu-kirivu abeere bba Nnamasole wo omutuukirivu ddala, era omukuza w’Omwana wo, tukwegayiridde, tuwe oyo gwe tussaamu ekitiibwa nga mukubiriza waffe mu nsi, abeere muwolereza waffe mu ggulu. Ggwe awangaala ng’olamula emirembe egitaggwaawo. Amiina.
ESSAALA Y ’OMWAKA GWA YOZEFU OMUTUUKIRIVU (Paapa Leo XIII)
Ayi Yozefu Omutuukirivu tuddukira gy ’oli mu nnaku zaffe; ate nga tumaze okwegayirira Omugole wo Omutuukirivu ddala atujune, tukuwanjagira naawe, nga tukwesiga nnyo, otuwolereze. Okubeera okwagala kwe wayagalamu Bikira Maria ataliiko bbala, Nnyina Katonda, n’okubeera omutima ogw’obuzadde gwe walina ku Mwana Yezu, tukwegayiridde nnyo, tunuuliza ekisa ezzadde Yezu Kristu lye yanunuza omusaayi gwe; era tujune mu byetaago byaffe, n’obuyinza bwo n’obuyambi bwo.
Ayi Mukuumi w’ekika kya Katonda omwegendereza ddala, kuuma ezzadde lya Yezu eryalondebwamu. Ayi Kitaffe, atwagalira ddala, tugobeeko akabi konna akatuwabya n’akatwonoona. Tugirire ekisa, ayi Mukubirizi waffe ow’obuyinza; Ng’oyima mu ggulu tuzibire mu lutalo lwe tulwana n’amasitaani. Era nga bwewaggya edda Omwana Yezu mu kabi ak’okufa, na kaakano Eklezia wa Katonda Omutukuvu, mutaase mu mikono gy’omulabe ne mu kabi konna.
Tubikkeko akasubi ffenna bulijjo, tulabirenga ku bikolwa byo ebirungi naawe nga bw’otujuna, tuyise bulungi mu bulamu bwaffe, tufe bulungi, tuweebwe okwesiima okw’emirembe n’emirembe mu ggulu. Amiina.
Ayi Yozefu Omutuukirivu omukuumi w’Eklezia Omutukuvu –Tusabire.
Comments
Post a Comment