CATENA
Ajja ekimpowooze ng'emmabya, omubalagavu ng'omwezi, Atemagana ng'enjuba, atiisa ng'eggye eritaze okulwana y'ani?
Omutima gwange gugulumiza Omukama.
N'omwoyo gwange gujaguliza mu katonda, Mulokozi wange.
Kubanga yalaba obwetowaze bw'omuzaana we:
Okuva leero amawanga gonna ganampitanga wa mukisa.
Kubanga Nnannyini Buyinza yankolera eby'amaanyi, erinya lye ligulumizibwe.
Ekisa kye kibunye abamutya: okuva ku zzadde erimu okutuusa ku ddala.
Yakola eby'amaanyi n'omukono gwe: n'asaasaanya abeekuza mu birowoozo bye baalowoozanga mu mitima gyabwe.
Abeekuluntaza yabaggya ku ntebe: n'agulumiza abeetowaza.
Abayala yabafukumulira ebirungi: abagagga n'abaggyako bukumbi.
Yalyowa Israeli omweereza we : n'gajjukira ekisa kye.
Nga bwe yalagaanya Bajjajjaffe: lbrayimu ne Bazzukulu be emirembe gyonna.
Ekiitibwa kibe ekya Patri n'ekya Mwana n'ekya Mwoyo Mutuukirivu.
Nga bwe kyaliwo olubereberye, na kaakano na bulijjo, emirembe n'emirembe. Amiina
Ajja ekimpowooze ng'emmabya, omubalagavu ng'omwezi, Atemagana ng'enjuba, atiisa ng'eggye eritaze okulwana y'ani?
V Maria, eyafunibwa mu nda nga talina kibi kisikire.
R Tusabire ffe abaddukira gy 'oli.
Twegayirire
Ayi Mukama waffe Yezu Kristu; atuwoolereza eri Patri, Ggwe, eyakkiriza n'essanyu okulonda Biikira Maria abeere Nnyoko era abeere Nnyaffe ng'ate eruuyi ye muwolereza waffe gy'oli, buli yeenna addukira gy'oli ng'ayagala okubeera mukwano gwo, mukkirize okubeera Nnyoko wo oyo. Amiina
Comments
Post a Comment