ESSAALA EY'EKIROOTO KYA BIIKIRA MARIA
Biikira Maria bwe yali yeebase ku lusozi Laakeri, Yezu n'ajja gy'ali n'amubuuza nti, "Maama weebase?" Biikira Maria n'amuddamu nti, "yee mbadde nneebase naye ggwe mwana wange n'onzuukusa." Awo n'amugamba nti, "mu kirooto nkulabye ng'oli mu nnimiro, nga bakwambuddemu engoye zo nga bakujja ewa Pilato ne bakutwala ewa Erodde. Eyo nno gye nkulabidde ng'amaaso go amatuukuvu gajjudde amalusu n'ebikolondolwa bye bakufujjidde. Olwo nno ne bakuteekako engule y'amaggwa ku mutwe ne balyoka bakusiba n'enjegere ez'ebyuma, omubiri gwo gwonna ne gufaafaagana, ne bakukomerera ku musaalaba, ate ne bakufumita n'effumu mu lubiirizi lwo ekikuviiriddemu omusaayi gwo omutuukuvu n'amazzi okuyiika. Bakujje ku musaalaba ng'omaze okufa, ng'omubiri gwo omutukuvu tegukyalimu kantu ne baguteeka mu mikono gyange." Awo Yezu kwe kumuddamu n'ekisa nti, "Maama wange ow'obusaasizi, oyo yenna anaabeerang...