AMATENDO G'OMUTIMA GWA NNYAFFE BIIKIRA MARIA



Ayi Mukama tusaasire : Ayi Mukama tusaasire 
Ayi Kristu tusaasire : Ayi Kristu tusaasire 
Ayi Mukama tusaasire : Ayi Mukama tusaasire 
Ayi Kristu tuwuiire : Ayi Kristu tuwe

Mwana Omununuzi w'ensi Katonda.....
 Mwoyo Mutuukirivu Katonda ... ..
Trinita Omutuukirivu Katonda omu....
1. Omutima gwa B. Maria ssanyu lya Trinita Omut..... Tusabire

 2. Omutima gwa B. Maria mugole wa Mwoyo Mut......Tusabire

 3. Omutima gwa B. Maria ogwatondebwa nga teguliimu bbala lya kibi...Tusabire

 4. Omutima gwa B. Maria ogwajjuzibwa enneema akafukunya.......Tusabire

 5. Omutima gwa B. Maria ogufananira ddala ogwa Yezu Katonda...

 6. Omutima gwa B. Maria omusaayi gwa Yezu ogwatununula mwe gwakolerwa.  

7. Omutima gwa B. Maria Kristu mwayima okulamula ensi n'eggulu...

 8. Omutima gwa B. Maria oggwakkiriza omwana wagwo afe okubeera ffe......... 

9. Omutima gwa B. Maria omulabirwa obutukirivu bwa Katonda..

 10. Omutima gwa B. Maria ogujjudde okwagala Katonda n'abantu...

 11.Omutima gwa B. Maria nyanga ey obwetowaze....

 12. Omutima gwa B. Maria Roza eyakawoowo kubuli mutonde yenna..

 13. Omutima gwa B. Maria ogwayimba embeerera n'obuzadde....

 14. Omutima gwa B. Maria kitangaala ky'abazibye amaaso ag'omwoyo...

 15. Omutima gwa B. Maria mmunyeenye y'abalamazi abo ku nsi..

 16. Omutina gwa B. Maria ogutayabulira boonoonyi abagukowoola..

 17. Omutima gwa B. Maria ogutayabulira bagweyunye....

 18. Omutima gwa B. Maria ogusanyukira abonoonyi abaguteeteza.. 

19. Omutima gwa B. Maria oguteeganya baana bagwo abagujjejjeza.

 20. Omutima gwa B. Maria kitiibwa kya batonde bonna......

 21. Omutima gwa B. Maria ssanyu lya bagwagala.. 

22. Omutima gwa B. Maria ssuubi lya bagwesiga..

 23. Omutima gwa B. Maria omugunjuzi atenkanika..

 24. Omutima gwa B. Maria omuzadde wa banaku... 25. Omutima gwȧ B. Maria omununuzi wabonoonyi..

 26. Omutima gwa B. Maria ogwayisibwaamu empiima enjogi....

 27.Omutima gwa B. Maria ogwabonabonera awamu n'ogwa Yezu 

28. Omutima gwa B. Maria ogwabikkibwa ekyobeera Yezu ng'afudde.

 29. Omutima gwa B. Maria ogulamula ne Yezu omwana waagwo..

 30. Omutima gwa B. Maria kkubo erituusa ku butukirivu bwennyini..... 

31. Omutima gwa B. Maria kijaguzo kya Bamalayika n'abatukirivu mu ggulu.

 32. Omutima gwa B. Maria Namasole w'eggulu......

Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi, R. tusonyiwe ayi Mukama.

Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi, R. tuwe ayi Mukama

Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi, R. tusaasire.

Ayi Omutima gw'omubeererevu nnyina Katonda tusabire Tulyooke tusaanire okufuna Yezu kristu byeyatusuubiza

 Twegayirire

 Ayi Mukama Katonda tukwegayiyira ffe abaweereza bo, buli anakusabanga nga yekutte omutima gw'omuzadde w'omwanawo Yezu Kristu omwagalwa, asanyuke ng'alaba afunye kyasabye, ku bwa Kristu oyo yennyini Mukama waffe AMIINA

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU