ESSAALA EY'OKUTABAGANA NE KATONDA NGA TUYITA MU MUGE GWA'MAGGWA OMUTUKUVU.


OLUYIMBA

EKIDD: Ndi bw'omu nzenti njabuliddwa nze nze nno, ndekeddwa ttayo n'omuge ogwa maggwa ogwo ogwa nfumita omutima, ogwa nfumita omutwe.

Abantu Bange Bonna Banjabulidde.

1. Abaagalwa Bange, abaagalwa Bange muli ludda wa, muli ludda wa?
Omuge gwa maggwa guno gunsoggodde mu mwoyo munzigyeko amaggwa munsaasire.

2. Olw'okubaagala, olw'okubaagala, nafa ku musaalaba, n'omuge ogwa maggwa.
Nate nkyagalina, amaggwa ndi nago.
Nze Yezu Kristu Afa Obulumi.

ESSAALA 
  Omwagalwa wange ennyo afa Obulumi Yezu Kristu omwana w'oyo ali waggulu ddala, nneyala wansi ku bigere byo n'obutalina bwendi bwange bwonna.
Nzijukira emisango gyange gyonna eminene gy'ennakuzzaako, nkwegayiridde Ayi Mukama nsaasira ebibi byange byakukuumira mu kufa Obulumi okumala enkumi n'enkumi z'emyaka ginno gyonna bwe nkutunuulira nga oli mulamu oleebeeta ku musaalaba nga otikidde omuge omukambwe ogwa amaggwa nga omusaayi gwe oguli mu kwoza amaaso go, era nga obusongezo bw'amaggwa buli mu kuza amaaso go amatukuvu; nnetona olw'ekirabo kyange ekyo eky'entasiima eky'amaggwa, kyendi mu kukutonera. Negomba okukutikkulako omuge gw'amaggwa ogwo. Nkutonera mu kifo ky'agwo engule y'okwagala eya zzaabu.

( Nga Eno bw'anywegera omuge gw'amaggwa era nga bwagunyigiriza ku mutima gwe,wano Cecilia omutukirivu kwe kwegayirira bwati)

Yezu wange, Ggwe nnyini mutwe gwe nnayuzaayuza n'omuge gw'amaggwa nsaasira era sonyiwa ensi yo. Yezu wange gwe ali mu kubonaabona, mu ngeri y'ekyamagero, Obulumi n'okukabirirwa okw'omuge gwange ogw'amaggwa mu mutima gwo omutukuvu; nsaasira era sonyiwa ensi yo.
Yezu wange, gwe awaniridde obukyafu bwa kazambi ali mu ngule yange ey'amaggwa -nsaasira era sonyiwa ensi yo."

(Nga Eno Bwatikkira omuge gwa maggwa ku mutwe gwe Cecilia omutukirivu Yanywegera ebigere By'afa-obulumi Yezu Ali ku musaalaba awo kwe kwegayirira bwati.....)
 Yezu wange Afa -Obulumi, nzijukira nga bwe nnakuba omutwe gwo omutukuvu n'omutayimbwa gw'ekyuma obusongezo bw'amaggwa agali ku muge ogwo ne buyingirira ddala mu bwongo bwo obusaanye okukwatibwa nga ekyatika mpulira muli okuvuga kwe'kyuma ekyo n'obulumi, nga eringa laddu eri mu kwonoona obubeererevu bw'okubeerawo kwo. Ha! Nga obubi bwange bukulumizza nnyo gwe omununuzi omuteefu.
Bwe ndowooza ku lugendo lwo oluzito ennyo olulaga ku kalvaario, nkaaba nnyo mu mutima okw'omuge omubi ogwa maggwa gwenzisa ku mutwe gwo omutukuvu; ekitebe kya magezi ga Katonda mpulira muli okugwa kwo n'omusaalaba, nga obuzito bw'omusaalaba buyambako obusongezo bw'amaggwa agali ku muge okwongera okuyingiria ddala Munda mu mutwe, mu bwongo bwo obwo obusaanye okukwatibwa nga ekyatika, nneeraba nga nkusikambula nga nkukuba n'effumu ku mutwe gwo omutukuvu ssinga Ono nno sinze akola bino byonna ku mununuzi wange omwagazi w'abantu.

- Yezu wange nkuyisizza bubi mu bukambwe obw'amaanyi, nsonyiwa sonyiwa ensi yo, nja kukola kyonna ekisoboka okukuulamu amaggwa ago mu mutwe gwo, nga nkyusa ku nneeyisa yange okuva leero.
 Obubi bwange bwe buleetera omuge gw'amaggwa ogwo okubeera ku mutwe gwo omutukuvu okutuuka ku kufa kwo; okulaba nti tolina kalembereza konna koofunawo.
Mukama Tusaasira Kristu saasira obubi bwange mpulira muli nga omutwe gwo omutukuvu guli awo nga mufu guwummuziddwa ku mubiri gwa maama wo mulaba nnaku awo ndaba emikono egikolaganira awamu egya Yoanna omwagalwa, Maria Magdalena, wamu ne Maama wo mulabannaku nga giggya amaziga mu maaso singa. Singa nno n'ange mbeera omu kubo nemba nga nkutikkulako omuge gw'amaggwa, nga nkutonera mu kifo ky'agwo engule y'azzaabu, ekulaga bw'enkwagala ennyo ( Nga eno awaniridde ku mikono gye omuge gw'amaggwa Cecilia Omutukirivu nga atunula mpola mpola mu kasirise kwe kumaliriza nga yeegayirira bwati nti.....)
 
Nkwewa nze nzenna era nkusuubiza okwetikkanga omusaalaba gwange, era nga bwe nkugoberera ennaku zonna ez'obulamu bwange mu ssanyu ne mu kwagala ebisaanyizo byonna ebiva mukukkiriza kwange, mu kubonaabona n'okutawaanyizibwa abatanjagaliza birungi byonna, bikkirize obitwale nkusuubiza okwaniriza okubonaabona n'okutulugunyizibwa

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU