ESSAALA EY'EKIROOTO KYA BIIKIRA MARIA
Biikira Maria bwe yali yeebase ku lusozi Laakeri, Yezu n'ajja gy'ali n'amubuuza nti, "Maama weebase?" Biikira Maria n'amuddamu nti, "yee mbadde nneebase naye ggwe mwana wange n'onzuukusa." Awo n'amugamba nti, "mu kirooto nkulabye ng'oli mu nnimiro, nga bakwambuddemu engoye zo nga bakujja ewa Pilato ne bakutwala ewa Erodde. Eyo nno gye nkulabidde ng'amaaso go amatuukuvu gajjudde amalusu n'ebikolondolwa bye bakufujjidde. Olwo nno ne bakuteekako engule y'amaggwa ku mutwe ne balyoka bakusiba n'enjegere ez'ebyuma, omubiri gwo gwonna ne gufaafaagana, ne bakukomerera ku musaalaba, ate ne bakufumita n'effumu mu lubiirizi lwo ekikuviiriddemu omusaayi gwo omutuukuvu n'amazzi okuyiika. Bakujje ku musaalaba ng'omaze okufa, ng'omubiri gwo omutukuvu tegukyalimu kantu ne baguteeka mu mikono gyange." Awo Yezu kwe kumuddamu n'ekisa nti, "Maama wange ow'obusaasizi, oyo yenna anaabeeranga n'ekirooto kino oba essaala eno era n'agisomanga buli kaseera oba wadde okugiwuliriza nga bagisomanga, tajja kutuukibwako kibi kya lumbe. Era mu ngeri y'emu tagenda kufa kibwatukira wadde olumbe lwonna olutategeerekeka nga tannafuna mubiri n'omusaayi gwange. Era buli kyonna ky'anaansabanga oba okukisabanga ggwe Mmange, ajja kukifunanga. Oyo yenna anaasomanga oba okubeeranga n'essaala eno, ajja kufunanga Indulgensia ya nnaku kikumi (100). Era buli yenna anaasomanga essaala eno oba okugiwuliranga tagenda kufiira buli wantu wonna, sso ate era si kufiira mu buli lugendo. Era mu maka wonna essaala eno w'eriba esangiddwa, tegenda kutuukibwako muliro wadde amazzi okugyonoona. Era ssinga omukazi yenna aba atuusizza okuzaala ng'ali nayo, ajja kuzaala mu bwangu." AMIINA
ESSAALA;
Ayi Mukama ow'obuyinza ,nkukwaasa ebirooto byonna bye mpiseemu. Gwe wennyini omponye mu buli kabi konna akanviiramu omulabe annumbagana mu birooto nnyweza era onkumenga omponye agalooto agabi era buli ekinanzijjiranga Mukama okiwugulanga nekitanzisako bulabe bwonna.Nnyimusa Ayi Mukama munsi eyo'mwoyo nga onzijuza Mwoyo Mutuukirivu ampe amaanyi mpangule buli mulabe yenna annumba mu birooto. Mu maanyi g'omussalaba ne mulinnya lyo eddungi erya YEZU KRISTU nekutulako byonna ebyali bintuseeko era mmerengula amaanyi gonna ago mulabe agangoberera nga ayita mu birooto. AMIINA
Comments
Post a Comment