AMATENDO G'OKUBONABONA KWA MUKAMA WAFFE
Ayi Mukama tusaasire ---- x2 Ayi Kristu tusaasire -x2 Ayi Mukama tusaasire-x2 Ayi Kristu tuwulire Ayi Kristu tuwe YEZU KRISTU . Eyanakuwala n'okaaba n'ojugumira wenna, n'otaagula ennaku empitirivu ennyo ng'otunuulira ebibiina by'abantu abalizikirira yadde ng ogenda okuyiwa Omusaayi gwo..... ..... Tusonyiwe Ayi Mukama YEZU KRISTU . Eyayiwa omusaayi mu bulumi obuyitirivu Omulundi ogwasooka ng'otayirirwa...... YEZU KRISTU . Eyalumwa ennyo ng'omutume wo Yuda Iscariota akulyaamu olukwe N'olengera ebibiina by'abantu nga bajja Okukukwata.....,.. YEZU KRISTU . Eyatuuyana entuuyo z'omusaayi mu Getesmani ng'olaba ebigenda okukutuukako......,. YEZU KRISTU. Eyakankana era n'ojugumira nga Kitaawo ataggwaawo mu kitiibwa Ekiyitirivu akusalira omusango olw'ebibi by'abantu bye baakola okuva ku Adam okutuusa ensi lw'eriggwaawo....... YEZ...