SSAPPULE Y'AMAZIGA GA NNYAFFE BIKIRA MARIA
Mu linnya lya Patri
Nzikiriza Katonda.
Kitaffe ali mu Ggulu.
Mirembe Maria
(yogera ebyetago byo)
Mu kifo kyekitiibwa (Ayi Yezu, tunula ku maziga ag'amusaayi ag'oyo eyakwagala ennyo okusinga abantu bonna era asinga okukwagala n'eyo mu ggulu)
Mu kifo kya Mirembe Maria (Ayi Yezu wulira okwegayirira kwange olw'okubeera amaziga ag'omusaayi aga maamawo oyo omwagalwa ennyo.....X10
Bikira Maria ow'ekisa.
Esaala Bikira Maria gy'atessamula,
AyiMaria Kabaka wange, mmange nze nneyanjula gy'oli nga sirina kye ndekayo ate nkusingira omusingo ogw'okwagala kwange, nkusingira leero amaaso gange, namatu gange, nakamwa kange, n'omwoyo gwange nange nkwekwasa nzenna omulamba Ayi Mmange omulungi bw olaba neerimbise ku ggwe, naawe nkuuma, nzibira ng'omuddu wo owuwo ku bubwo. Amiina.
Comments
Post a Comment