AMATENDO AG'OKKUDABIRIZA OSTIA ENTUKUVU



Ayi Mukama Tusaasire..........(x2)


Ayi Kristu Tusaasire ........(x2)

Ayi Mukama Tusaasire.......(x2)

 Ayi Kristu tuwulire..... Ayi Kristu tuwe

Patri Ow'Omuggulu Katonda..... tusaasire 

Mwana Omununuzi w'ensi Katonda...... tusaasire 

Mwoyo Mutuukirivu Katonda..... tusaasire 

 Trinita Omutuukirivu Katonda Omu......tusaasire

Ayi Ostia Entukuvu, eyaweebwayo ku lw' obulokofu bwaboonoonyi..... Tusaasire 

Ayi Ostia Entukuvu Ggwe ajoogebwa ffe ku Altari era ku Iwaffe........ Tusaasire 

Ayi Ostia Entukuvu, enyomebwa Abakristu abannyogovu........ Tusaasire

Ayi Ostia Entukuvu, akabonero ak'okuwakanyizibwa..........Tusaasire

Ayi Ostia Entukuvu eyaweebwayo eri Abayudaya n'abawakanyi.....

 Ayi Ostia Entukuvu, ejolongebwa abo abavuma Katonda.......

Ayi Ostia Entukuvu, Omugaati gwa Bamalayika
 oguweebwa ensolo......Tusaasire"

Ayi Ostia Entukuvu esulibwa mu bitoomi n'erinnyirirwa mu ttaka..... Tusaasire 

Ayi Ostia Entukuvu, ejolongebwa Abasaserdoti ababi.......Tusaasire

Ayi Ostia Entukuvu,eyerabirwa era n'erekebwa ttayo mu Makerezia go......Tusaasire 


Tukwatirwe ekisa............ Tusaasire

 Tusonyiwe Ayi Mukama........ Tusaasire

Tukwatirwe ekisa......Tuwulire Ayi Mukama

 Olw'obunyoomi obusuffu obukolebwa mu Sacramentu lino eryewunyisa........Tukkuddaabiriza ayi Mukama

Olwa Kommunio zonna ezitasaanidde.........Tukkuddaabiriza ayi Mukama

 Olw'okujolongwa ekisusse mu Sacramentu lino eritenderezebwa........Tukkuddaabiriza ayi Mukama

 Olw'okuweebulwa kw'ebifo ebitukuvu.......Tukkuddaabiriza ayi Mukama 

Olw'ebikompe ebitukuvu ebityoboolwa nga bibbibwa ne bitwalibwa olw'empaka......Tukkuddaabiriza ayi Mukama

Olw'Abakristu ababi abataasa kitiibwa mu Katonda.....Tukkuddaabiriza ayi Mukama

Olw'ebivumo eby'olutata eby'abantu abataagala Katonda ......Tukkuddaabiriza ayi Mukama

Olw'emputtu, obukakanyavu n'obunanfuusi bw'abatakkiriza.....Tukkuddaabiriza ayi Mukama

 Olw'abo aboonoona Ekeleziya ze bakoleramu sacriligo zabwe......Tukkuddaabiriza ayi Mukama

Ol'wemboozi ezitasaanye ezinyumizibwa mu Masinzizo go amatukuvu.......Tukkuddaabiriza ayi Mukama 

Kkiriza, ayi Mukama, okwongera Abakristu bonna ekitone eky'okussa ekitiibwa ekisaanidde mu ky'Amagero kino ekkula ddala.....Tukwegayiridde tuwulire. 

Kiriza ayi Mukama, okulaga abatakkiriza, amakulu amatuufu agali mu Sacramentu lino ery'Okwagala ..........Tukwegayiridde tuwulire

Kkiriza, ayi Mukama, okutuwa enneema ey'okukuddaabiriza nga tuyita mu kwagala okubugujja, tukwerabize empalana zabwe......Tukwegayiridde tuwulire 

 Kkiriza ayi Mukama ebivumo byebakuvuma wakiri bidde ku ffe.....Tukwegayiridde tuwulire

KKiriza, ayi Mukama, okuddaabiriza kwaffe kwaffe kwetukuwa mu bwetowaze....Tukwegayiridde tuwulire

 Kkiriza ayi Mukama, okusinza kwaffe n'okukussaamu ekitiibwa.........Tukwegayiridde tuwulire

Ostia ennungi.....Wulira essaala yaffe

Ostia entukuvu....Wulira essaala yaffe

Ostia etaliiko Bbala....Wulira essaala yaffe

Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi........Tusonyiwe ayi Mukama

Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi.......Tuwe ayi Mukama

Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi .....Tusaasire ayi Mukama

Twegayirire:
Ayi Mukama waffe Yezu Kristu, eyasalawo okusigala
naffe mu Sacramentu lyo ery'Ekyewuunyo, okutuusizza ddala ensi okuggwawo, osobole, bw'otyo, okuwa Katonda Kitawo ekitiibwa eky'olubeerera ng'ajjukira okubonaabona kwo, n'otuwa bw'otyo, Omugaati gw'obulamu obutaggwawo, tuwe enneema, n'omutima ogujjudde ennaku n'okunyolwa olw'ebivumo by'ofuna mu Sacramentu lino eryewuunyizibwa, ne sacriligo ennyingi ezikolebwa abantu abataagala Katonda, abawakanyi n'Abakatoliki abakyamu. Tuteekemu omuliro n'ebbugumu ery'okwetanira okukuddaabiriza olw'ebivumo by'ovumwa, naye n'obigumira olw'omukwano omungi gw'olina gyetuli, oleme kutufiiriza okubeerawo kwo ku Altari z'omunsi. Gwe awangaala n'olamula awamu ne Katonda Patri ne Mwoyo Mutuukirivu, ye Trinita Omutuukirivu, Katonda omu, emirembe n'emirembe. AMIINA.

Ekitiibwa kibe ekya Patri x3

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU