AMATENDO G'OKUBONABONA KWA MUKAMA WAFFE
Ayi Mukama tusaasire ---- x2
Ayi Kristu tusaasire -x2
Ayi Mukama tusaasire-x2
Ayi Kristu tuwulire
Ayi Kristu tuwe
YEZU KRISTU. Eyanakuwala n'okaaba n'ojugumira wenna, n'otaagula ennaku empitirivu ennyo ng'otunuulira ebibiina by'abantu abalizikirira yadde ng ogenda okuyiwa Omusaayi gwo.......... Tusonyiwe Ayi Mukama
YEZU KRISTU. Eyayiwa omusaayi mu bulumi obuyitirivu Omulundi ogwasooka ng'otayirirwa......
YEZU KRISTU. Eyalumwa ennyo ng'omutume wo Yuda Iscariota akulyaamu olukwe N'olengera ebibiina by'abantu nga bajja Okukukwata.....,..
YEZU KRISTU. Eyatuuyana entuuyo z'omusaayi mu Getesmani ng'olaba ebigenda okukutuukako......,.
YEZU KRISTU. Eyakankana era n'ojugumira nga
Kitaawo ataggwaawo mu kitiibwa Ekiyitirivu akusalira omusango olw'ebibi by'abantu bye baakola okuva ku Adam okutuusa ensi lw'eriggwaawo.......
YEZU KRISTU. Oguserikale gwe gwakuba oluyi Olw'obwerere ng'oli mu maso g'omukulu wa basaseredooti......
YEZU KRISTU. Agaserikale agakambwe gwe gawalula ku mayinja amasongovu ne mu bisasiro ebivundu.......
YEZU KRISTU. Bakalibukwambwe gwe b'ayambula engoye ne bakufumitafumita ennyama n'etuuka n'okuva ku magumba agamu negalabika kungulu........
YEZU KRISTU Gwe bateeka omugwa mu bulago ne Bakuwanika ku muti n'olengejjera mu Bbanga.........
YEZU KRISTU. Eyakaaba amaziga ag'omusaayi
ng'omuguwa gwetadde omutwe gwo neguyitamu n'ogwa wansi.......
YEZU KRISTU Eyasibwa ku nkondo agaserikale ne G'akyekola nga gakufumita ebyuuma Era nga bwe gakukuba embooko eziriko Ebisuna eby'asammula ennyama yo mu Bbanga........
YEZU KRISTU. Gwe baakula amayinja era nebakwokya Amanda gomu kyooto.......
YEZU KRISTU. Gwe bazingira amaggwa g'ebyuuma
Nebagakukomerera ku mutwe.........
YEZU KRISTU. Gwe batuuza ku ntebe ey'emisumaali emisongovu ate ne bakuyiwa kamulali mu biwundu ebyakuliko.........
YEZU KRISTU. Gwe baabuukiranga mu kifuba ne ku Mutwe oluvannyuma ne baddira erimu Ku maggwa agaali ku mutwe ne Balifumita mu lulimi ne liyitamu......
YEZU KRISTU. Gwebayiwa mu kamwa ebyenyinyalwa byo mu tooyi ate ng eno bwe bakuwemula agagambo agabi......
YEZU KRISTU. Abaserikale gwe banyoomola
Nebakukwaasa olumuli mu ngalo
Nebakusinza n'evviivi limu nga Bwebakuvuma nti: "Mirembe Kabaka".........
YEZU KRISTU. Maria omutuukirivu gwe yavuunnama n'akusinza Mu maaso g'abantu abaali bakukyaaye............
YEZU KRISTU. Agaserikale g'akuttika omusaalaba omunene ennyo ate ne gagenda nga gakusamba era nga gakusindiikiriza.........
YEZU KRISTU. Eyagwa ebigwo ebingi olw'obuzito Bw'omusaalaba omunene ennyo ate nga gukumazeeko n'ennyama eyo ku ggumba eryo ku kibegabega........
YEZU KRISTU. Ey'akubibwa n'asalibwa n'enjazi feesi yo ennungi ennyo ne yonooneka......
YEZU KRISTU. Ey'ayambulwa engoye awo mu maaso g'abantu nga Nnyina Maria eyali akaaba era ng'ajugumira n'akuweereza akagoye k eyali asanguza amaziga n'eweesiba.....
YEZU KRISTU. Abaserikale gwe baakomerera N'obukambwe obuyitirivu nga bakutuddeko mu kifuba ate ne b'akunuula amagumba nga basika omukono gwo.......
YEZU KRISTU. Eyagwiira ku musaalaba nga ba Gusimbye, ebiwundu byo ne Bigaziwa, era ne binuubuka buto.................
YEZU KRISTU. Eyalengejjera ku musaalaba okumalira ddala essaawa ssatu mu bulumi obuyitirivu........
YEZU KRISTU. Eyalumwa ennyo ng'agenda okufa okuleka omwagalwa Nyoko Maria mulaba nnaku.........
YEZU KRISTU. Eyakankana mu bulumi obuyitirivu Ennyo bwe wategeera nti TAATA wo akuviiridemu ddala........
YEZU KRISTU. Eyalengejjera ku musaalaba
N'okubibwa amayinja, n'ovumiibwa
abantu bewakoleranga obulungi......
YEZU KRISTU. Eyawanjagira kitaawo ataggwaawo ng'onatera okufa omusaayi nga gul asonyiwe abantu........
YEZU KRISTU. Eyafiira ku musaalaba mu bulumi Obuyitirivu nga tosobola yadde Kussa oba okwekubiira..........
YEZU KRISTU. Eyafumitibwa effumu mu mutima gwe n'otiriika omusaayi n'amazzi.....
YEZU KRISTU. Ey'alerwa Nnyoko Maria mulaba Nnaku ng'ofuuse omulambo.......
YEZU KRISTU. Eyabonabona wamu ne Nnyoko Maria ng'afunira ddala butereevu ku bulumi bwe wawuliranga mu ngeri ey'ekyewuunyo........
Kaliga ka Katonda ggwe ajjawo ebibi byensi........Tusaasire
Kaliga ka Katonda ggwe ajjawo ebibi byensi........Tusaasire
Kaliga ka Katonda ggwe ajjawo ebibi byensi........Tuwe emirembe
TWEGAYIRIRE
Ayi Katonda atagwawo olwokubeera okubonabona kuno okwomwanawo Yezu Kristu Omwagalwa ennyo era n'okwa Maria Nyina mulaba nnaku, Tusaasire n'abomu Pulgatoori awamu n'ensi yonna.
AMIINA
Comments
Post a Comment