Posts

Showing posts from June, 2024

ESSAALA EYO KUSABIRA EMYOYO EGYIRI MU PULIGATORI

Image
 _N:B; Tukozesa sappule eyabulijo, era awagenda ekikolwa somawo ( Ayi Kitaffe ataggwawo..... ) ate kumirembe Maria 10 somawo ( Ayi omukama bawe ekiwumulo ekyemirembe........ )_ Mulinya Lya Patra ne rya mwana ne rya mwoyo mutukirivu....Amiina....🙏🙏🙏 Netondera katonda patri omuyinza wabuli kantu...... (Ssawo emyoyo ejili MU purgatory mumitendera..........) Nzikiliza katonda........ Kitaffe Ali mugulu........ Mirembe Maria....... ..×3 Ayi kitaffe atagwawo,tukuweleza omusayi ogwo muwendo ennyo ogwo mwanawo Yezu kristu,awamu Ne bitambilo bye misa ezinasomwa leero munsi Yona kulwe myoyo ejili mu puligatori,abononyi abali munsi yonna,Ne mwe kelezia katolika, abomunyumba yaffe Ne mumaka gaffe           Amiina. 🙏🙏🙏 Ayi mukama bawe ekiwumulo ekye mirembe Ne kitangal...... ×10      Ayi kitaffe atagwawo.............

ESSAALA EY'OKUSABIRA ABASASERDOOTI

Image
Ayi katonda omuyinza wa buli kantu, ataggwaawo, tunuuliza ekisa amaaso ga Kristu wo, Omusaserdooti omukulu ow'emirembe gyonna. Olw'okwagala kw'omwagalamu, abasaserdooti bo bakwatirwe ekisa! Jjukira nti nabo bantu: banafu, bibya bya bbumba. Banyweezeemu omuliro gw'okwagala kwo gubugujje awatali kusalawo. Bakuumire awo ku lusegere, omulabe abuleko w'abayita okubawangula n'okubatuusa ku butakyasaanira kuyitibwa kwabwe okw'ekitiibwa. Ayi Yezu, nsabira abasaserdooti bo abeesigwa era abalumirwa ennyo emyoyo, abasaserdooti bo abaddiridde n'abatakyali beesigwa, abasaserdooti bo abali okumpi n'abakolera mu nsi ez'ewala, abasaserdooti bo abatawaanyizibwa ebikemo, abasaserdooti bo abawulira nti baabuliddwa, buli omu asigadde kululwe, abasaserdooti bo abato, abasaserdooti bo abakadde, abasaserdooti bo abalwadde, abasaserdooti bo bali mu kaseera ak'okufa. Nsabira emyoyo gy'abasaserdooti bo egiri mu purigatori. Mu ngeri ey'enjawulo nku...

NOVENA YA MALINNYA GA YEZU KRISTU MUGGULU

Image
  Mulinnya elya Patri ne ly'Omwana ne ly'Omwoyo Omutukirivu. Amiina  Kitaffe Ali mugulu  Mirembe Maria  Nzikiriza Katonda   OLUNAKU OLUSOOKA    Ayi Yezu omwagalwa,tukwebaza era tukutendereza olw'ekyamagero ky'okulinnya kwo mu ggulu. Tukusaba, Mukama omwagalwa, obeere naffe bulijjo!  Walabikira Abatume bo n'Abayigirizwa abalala nga wayisewo ennaku amakumi ana oluvannyuma lw'okuzuukira mu bafu.Wabalambika ku bintu bingi nga bwe wabategeka okukulembeera Ekeleziya wo mu myaka egyajja.Wababuulira amawulire ag'essanyu agakwata ku kujja kw'Omwoyo Omutukuvu  , ng’a obagamba nti Omwoyo Omutukuvu yandibajjira oluvannyuma lw’okulinnya kwo mu ggulu. Tukusaba otuyambe tusobole naffe okusigala nga tuli kumpi naawe bulijjo, era naddala tukusaba leero otuyambe n'abantu bonna okukula mu ssanyu Ettukuvu!  Tuyambe tusobole okuwaayo obulamu bwaffe mu bujjuvu gyoli buli lunaku.Tuwe ekisa tusobole okusigala mu mukwano gwo okutuusa okuffa.Era neki...