ESSAALA EY'OKUSABIRA ABASASERDOOTI
Ayi katonda omuyinza wa buli kantu, ataggwaawo, tunuuliza ekisa amaaso ga Kristu wo, Omusaserdooti omukulu ow'emirembe gyonna. Olw'okwagala kw'omwagalamu, abasaserdooti bo bakwatirwe ekisa! Jjukira nti nabo bantu: banafu, bibya bya bbumba. Banyweezeemu omuliro gw'okwagala kwo gubugujje awatali kusalawo. Bakuumire awo ku lusegere, omulabe abuleko w'abayita okubawangula n'okubatuusa ku butakyasaanira kuyitibwa kwabwe okw'ekitiibwa.
Ayi Yezu, nsabira abasaserdooti bo abeesigwa era abalumirwa ennyo emyoyo, abasaserdooti bo abaddiridde n'abatakyali beesigwa, abasaserdooti bo abali okumpi n'abakolera mu nsi ez'ewala, abasaserdooti bo abatawaanyizibwa ebikemo, abasaserdooti bo abawulira nti baabuliddwa, buli omu asigadde kululwe, abasaserdooti bo abato, abasaserdooti bo abakadde, abasaserdooti bo abalwadde, abasaserdooti bo bali mu kaseera ak'okufa. Nsabira emyoyo gy'abasaserdooti bo egiri mu purigatori.
Mu ngeri ey'enjawulo nkukwasa abasaserodoti ab'omuwendo enyo gye ndi: omusaserdooti eyambatiza, eyasonyiwa ebibi byange, abasaserdooti abanjigiriza, abanggumya, abambuulirira- leero abasaserdooti bonna be nninako ebbanja ery'okubeebaza.
Ayi Yezu, abo bonna bakuumire awo okumpi n'omutima gwo, bawe emikisa mingi mu bulamu buno, ne mu mirembe egitaggwawo. Amiina
Comments
Post a Comment