NOVENA YA MALINNYA GA YEZU KRISTU MUGGULU
Mulinnya elya Patri ne ly'Omwana ne ly'Omwoyo Omutukirivu. Amiina
Kitaffe Ali mugulu
Mirembe Maria
Nzikiriza Katonda
OLUNAKU OLUSOOKA
Ayi Yezu omwagalwa,tukwebaza era tukutendereza olw'ekyamagero ky'okulinnya kwo mu ggulu.
Tukusaba, Mukama omwagalwa, obeere naffe bulijjo!
Walabikira Abatume bo n'Abayigirizwa abalala nga wayisewo ennaku amakumi ana oluvannyuma lw'okuzuukira mu bafu.Wabalambika ku bintu bingi nga bwe wabategeka okukulembeera Ekeleziya wo mu myaka egyajja.Wababuulira amawulire ag'essanyu agakwata ku kujja kw'Omwoyo Omutukuvu
, ng’a obagamba nti Omwoyo Omutukuvu yandibajjira oluvannyuma lw’okulinnya kwo mu ggulu.
Tukusaba otuyambe tusobole naffe okusigala nga tuli kumpi naawe bulijjo, era naddala tukusaba leero otuyambe n'abantu bonna okukula mu ssanyu Ettukuvu!
Tuyambe tusobole okuwaayo obulamu bwaffe mu bujjuvu gyoli buli lunaku.Tuwe ekisa tusobole okusigala mu mukwano gwo okutuusa okuffa.Era nekisingira ddala mu Novena eno nkusaba( yogera okusabakwo wano) .
Ayi Mukama,wulira essaala zaffe!.Amiina
OLUNAKU OLW’OKUBIRI
Ayi Yezu omwagalwa,tukwebaza era tukutendereza olw'ekyamagero ky'okulinnya kwo mu ggulu.
Tukusaba,Mukama omwagalwa, obeere naffe bulijjo!
Wagamba Abatume bo nti ojja kusindika Omwoyo Omutukuvu abeere nabo nga omaze okulinnya eri Kitaawo mu ggulu.Ekirowoozo nti ojja kubavaako mangu kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Abatume bo,naye wabasaba babeere n'Okukkiriza mu bigambo byo .
Tukusaba otuyambe tusobole naffe okusigala nga tuli ku lusegere lwo bulijjo, era naddala tubasaba leero okutuyambe n’abantu bonna okukula mu mpisa ennungi ey’Okukkiriza!
Tuyambe tusobole okukula mu mpisa ennungi zonna ezeetaagisa eri Obutukuvu buli lunaku mu bulamu bwaffe.
Tuwe ekisa tukole byonna ebyetaagisa okubeera abaweereza bo abasaanira,ne bwe kiba kibi.Era nekisingira ddala mu Novena eno nkusaba (Yogera okusaba kwo wano)
Ayi Mukama, wulira essaala zaffe!.Amiina
OLUNAKU OLW’OKUSATU
Ayi Yezu omwagalwa, tukwebaza era tukutendereza olw’ekyamagero ky’okulinnya kwo mu ggulu.
Tukusaba Mukama omwagalwa, obeerenga naffe bulijjo!
Nga wayise ennaku amakumi ana oluvannyuma lw’okuzuukira kwo bwe walabikira Abatume bo, wabagamba nti ojja kubeeranga nabo bulijjo.
Nga bwe wabateekateeka okulinnya kwo mu ggulu, wabalagira era n’obayamba okutegeera nti basobola okusuubira okumala emirembe gyonna mu ggulu nga bali naawe.
Tukusaba otuyambe naffe tusobole okusigala nga tuli kumpi naawe bulijjo, era naddala tukusaba leero otuyambe n’abantu bonna okukula mu mpisa ennungi ey’okusubira!
Tuyambe tusobole okukula mu kwagala kwo buli kiseera ekyo bulamu bwaffe bwonna.
Tuwe ekisa tusobole okubeera nga buli kiseera tulina essuubi ely’okumala naawe emirembe gyonna mu ggulu.
Era nekisingira ddala mu Novena eno nkusaba (yogera okusaba kwo wano) .
Ayi Mukama wulira essaala zaffe!.Amiina
OLUNAKU OLW'OKUNA
Ayi Yezu omwagalwa, tukwebaza era tukutendereza olw’ekyamagero ky’okulinnya kwo mu ggulu.
Tukusaba Mukama omwagalwa, obeerenga naffe bulijjo!
Bwewalinnya mu ggulu okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Kitawo, kiteekwa okuba nga kyali kizibu eri Abatume bo okutegeera lwaki walina okubaleka.
Wabasaba bakwesiga era beweyo obulamu bwabwe eri okwagala Kwo.
Awo N’obatumira Omwoyo Omutukuvu okubalung’amya.
Tukusaba otuyambe naffe tusobole okusigala nga tuli kumpi naawe bulijjo, era naddala tukusaba leero otuyambe n’abantu bonna tusobole okukula mu kwewaayo eri okwagala Kwo!
Tuyambe tubeere abaweereza bo abaggwanira mu mbeera zonna ez'obulamu bwaffe.
Tuwe ekisa naffe tusobole okutuukiriza ebyo ggwe by’oyagala buli lunaku, ne bwe tuba tuyise mu mbeera enzibu etya .
Era nekisingira ddala mu Novena eno nkusaba (Yogera okusaba kwo wano)
Ayi Mukama, wulira Essaala zaffe!.Amiina
OLUNAKU OLW'OKUTAANO
Ayi Yezu omwagalwa, tukwebaza era tukutendereza olw’eky'amagero ky’okulinnya kwo mu ggulu.
Tukusaba Mukama omwagalwa, obeerenga naffe bulijjo!
Wamala ennaku amakumi ana oluvannyuma lw’okuzuukira kwo ng’olabikira Abatume bo n’okubalungamye ku nsonga nnyingi.
Abatume bo bateekwa okuba nga baali banakuwavu bwe Walina okubaleka omulundi omulala oluvannyuma lw’ennaku ezo amakumi ana.
Naye baafuna omukisa okukula mu mukwano n’okwenyikiza muggwe nga bakuli kulusegere nga tonnalinnya kudda mu ggulu ewa kitaawo.
Tukusaba otuyambe naffe tusobole okusigala nga tuli kumpi naawe bulijjo, era naddala tukusaba leero otuyambe n’abantu bonna tusobole okukula mu mukwano ogw’amaanyi naawe nga tuli ku lusegere.
Tuyambe tusobole okufuula enkolagana yaffe naawe nga ky'ekintu ekisookera ddala mu bulamu bwaffe.
Tuwe ekisa naffe tusobole okwewaayo gy’oli mu bujjuvu mu buli kakisa konna ketufuna akobulamu bwaffe.
Era nekisingira ddala mu Novena eno nkusaba (Yogera okusaba kwo wano)
Ayi Mukama, wulira Essaala zaffe!.Amiina.
OLUNAKU OLW'OMUKAAGA
Ayi Yezu omwagalwa, tukwebaza era tukutendereza olw’ekyamagero ky’okulinnya kwo mu ggulu.
Tukusaba Mukama omwagalwa, obeerenga naffe bulijjo!
Wazuukira n’obuwanguzi okuva mu bafu oluvannyuma lw’okutufiirira ku musaalaba.
Watuyamba okutegeera nti ffenna olunaku lumu tujja kusituka era tusalirwa omusango.
Nga bw’olinnya mu ggulu, Watulaga nti tulina ennaku zaffe ezoluvanyuma ezo kusalirwa omusango mu bilowoozo byaffe bulijjo n'okukuma essuubi ery’essanyu ery’okumala naawe emirembe n’emirembe.
Tukusaba otuyambe naffe tusobole okusigala nga tuli kumpi naawe bulijjo, era naddala tukusaba leero otuyambe n’abantu bonna tusobole okukula mu kumanya ne kaseera akoluvanyuma !
Tuyambe tusobole okubeera abalamu bulijjo nga tumanyi okuyitibwa kwaffe okubeera abaweereza bo .
Tuwe Ekisa naffe tusobole okwegatta naawe mu buli kaseera.
Era nekisingira ddala mu Novena eno nkusaba (Yogera okusaba kwo wano)
Ayi Mukama, wulira Essaala zaffe!.Amiina
OLUNAKU OLW'OMUSANVU
Ayi Yezu omwagalwa, tukwebaza era tukutendereza olw’eky'amagero ky’okulinnya kwo mu ggulu.
Tukusaba Mukama omwagalwa, obeerenga naffe bulijjo!
Oluvannyuma lw’okuzuukira mu bafu, Wagamba Abatume bo nti olina okubaleka osobole okudda yo eri Kitaawo.
Bateekwa okuba nga baali banakuwavu olw’essuubi ly’okugenda Kwo, naye Wabagamba nti Ojja kusindika Omwoyo Omutukuvu era ojja kubeera nabo bulijjo.
Tukusaba otuyambe naffe tusobole okusigala nga tuli kumpi naawe bulijjo, era naddala tukusaba leero oyambe abo bonna abanyoreddwa olw’okuviirwako abantu baabwe basobole okufuna okikubagizo n’essuubi!
Tuyambe tusobole okusigala nga tuli kumpi naawe ne bwe tuba nga twolekedde akaseera akazibu mu bulamu bwaffe.
Tuwe Ekisa naffe tusobole okuwaayo byonna ebitweraliikiriza n’okweraliikirira kwaffe gy’oli bulijjo!
Era nekisingira ddala mu Novena eno nkusaba ( Yogera okusaba kwo wano)
Ayi Mukama, wulira Essaala zaffe. Amiina
OLUNAKU OLW'OMUNAANA
Ayi Yezu omwagalwa,
tukwebaza era tukutendereza olw’ekyamagero ky’okulinnya kwo mu ggulu.
Tukusaba Mukama omwagalwa, obeerenga naffe bulijjo!
Wamala ennaku amakumi ana oluvannyuma lw’okuzuukira kwo nga olabikira Abatume bo n’abayigirizwa abalala.
Wabalagira ebintu bingi era n’obawa omukisa ogwo okukula mu mukwano naawe.
Wabayamba okutegeera engeri gye baalina okugenda nga bakulembera Ekeleziya wo okuyita mu myaka egyilijja n’engeri gye baalina okuleetamu emyoyo emirala gy’oli.
Tukusaba otuyambe naffe tusobole okusigala nga tuli kumpi naawe bulijjo, era naddala tukusaba leero oyambe abo bonna abatamanyi ssanyu ly’ebasubwa nga sibagoberezi bo!
Tuyambe naffe tusobole bulijjo okukola kyonna kye tusobola okukuweereza mu ngeri esaanira n'obulamu bwaffe bonna.
Tuwe Ekisa naffe tusobole okuwaayo obulamu bwaffe bwonna gy’oli.
Era nekisingira ddala mu Novena eno nkusaba ( Yogera okusaba kwo wano)
Ayi Mukama, wulira Essaala zaffe. Amiina
OLUNAKU OLW'OMWENDA
Ayi Yezu omwagalwa, tukwebaza era tukutendereza olw’eky'amagero ky’okulinnya kwo mu ggulu.
Tukusaba Mukama omwagalwa, obeerenga naffe bulijjo!
Oluvannyuma lw’okuzuukira kwo mu bafu, Wamala ennaku amakumi ana ng’olabikira Abatume bo n’okubayigiriza engeri gye baalina okukulemberamu Ekeleziya wo.
Oluvannyuma lw’okulinnya kwo mu ggulu, Watuma Omwoyo Omutukuvu okuyamba Abatume bo engeri gye balinamu okukulembera Ekeleziya wo n’okuleeta emyoyo gy’oli.
Tukusaba otuyambe naffe tusobole okusigala nga tuli kumpi naawe bulijjo, era naddala tukusaba leero oyambe Ekeleziya wo ebeere ya maanyi era Entukuvu!
Tuyambe naffe tusobole okukuweereza n’Ekeleziya wo n'obwagazi buli kaseera ak'obulamu bwaffe bwonna.
Tuwe Ekisa bulijjo naffe tusobole okutukiriza byonna by’otulagira okukola buli kiseera, ne bwe tuba tusanze kizibu kitya.
Era nekisingira ddala mu Novena eno nkusaba ( Yogera okusaba kwo wano)
Ayi Mukama, wulira Essaala zaffe. Amiina
Mukama wulira essaala zaffe!
AMATENDO GA MALINNYA GA YEZU KRISTU MUGGULU
Ayi Mukama tusasire........×2
Ay Kristu tusaasire.......... ×2
Ayi Mukama tusaasire.... ×2
Ayi Mukama tuwe .......... Ayi Mukama tuwulire
Ayi Kitaffe ow'omuggulu Katonda......, Tusaasire
Ayi Mwana Omununuzi w'Ensi Katonda........ Tusaasire
Ayi Omwoyo Omutukuvu Katonda........ Tusaasire
Ayi Trinita Omutuukirivu, Katonda omu..... Tusaasire
Ayi Mukama, eyalinnya muggulu ku mukono ogwa ddyo ogwa Kitawo...... Tusaasire
Ayi Mukama, eyalinnya muggulu ennaku amakumi ana oluvannyuma lw’okuzuukira kwo......... Tusaasire
Ayi Mukama, eyalinnya muggulu mu kibiina ekinene ekya bamalayika........ Tusaasire
Ayi Mukama, eyalinnya muggulu mu kibiina ekinene ekya Nnyina Omutukirivu........ Tusaasire
Ayi Mukama, eyalinnya muggulu mu kibiina ekinene eky’Abatume bo......... Tusaasire
Ayi Mukama, eyalinnya muggulu mu maaso gaffe, era naffe gye tulina okugoberera........ Tusaasire
Ayi Mukama, eyalinnya muggulu n’okuleekaana okwa manyi n’eddoboozi ly’ekkondeere.......... Tusaasire
Ayi Mukama, eyalinnya muggulu n’oluyimba okwamaanyi.......... Tusaasire
Ayi Mukama,ani alijja bwatyo nga ggwe bwetukulabye ng'olinnya muggulu......... Tusaasire
Ayi Mukama,atuyita mu kulowooza ku bintu eby'omu ggulu......... Tusaasire
Ayi Mukama,eyatuma Abatume bo okutuuka ku nkomerero z’ensi.......... Tusaasire
Ayi Mukama,eyazuukizibwa mu kire......... Tusaasire
Ayi Mukama,ggwe alokola omukkiriza n'abatizibwa........, Tusaasire
Ayi Mukama,avumirira atakkiriza........, Tusaasire
Ayi Mukama,ggwe agulumiza abaana bo..........., Tusaasire
Ayi Mukama,ggwe akuuma abaana bo........, Tusaasire
Ayi Mukama,agaba n’okusaasira obulamu obutaggwaawo.........., Tusaasire
Ayi Mukama,alinnya waggulu w’Eggulu ly’Eggulu ku luuyi olw’ebuvanjuba.........., Tusaasire
Beera Musaasizi,......... Tusonyiwe,Ayi Mukama
Beera musaasizi,..... ...Tuwulire, Ayi Mukama
Kaliga Katonda,ggwe aggyawo ebibi byensi.........Tusonyiwe, Ayi Mukama
Kaliga Katonda, ggwe aggyawo ebibi byensi........Tuwulire Ayi Mukama
Kaliga Katonda, ggwe aggyawo ebibi byensi.......Tusaasire
TWEGAYIRIRE
Ayi Mukama waffe Yezu Kristu, eyagamba nti,mugende mu nsi yonna muyigirize Evangiri eri buli kitonde,kiriza okwegayirira kwaffe, okulwanirira emyoyo olutalo nga tetulina kutya,bulijjo nga tulwanirira amazima g’Amawulire Amalungi, olunaku lumu naffe tukugoberere
ggwe okutuuka mu kifo eky’okulinnya kwo, emitala w’ebire.Tukuume okwolesebwa kuno mu maaso gaffe kusobole okuwewula emiggugu gyaffe n'ekizikiza ky’obulamu buno obuliwo nga buguluminkiribwa.
Tufuule,Ayi Mukama, okussa ekitiibwa n’okukuuma emibiri gyaffe emitukuvu nga mulongofu,nga twebulirira ku kulinya kwo muggulu okugulumizibwa eri Kitaffe, emirembe n'emirembe. Amiina.
Comments
Post a Comment