AMATENDO GA MWOYO MUTUUKIRIVU
Ayi Mukama tusaasire Ayi Mukama tusaasire
Ayi Kristu tusaasire Ayi Kristu tusaasire
Ayi Mukama tusaasire Ayi Mukama tusaasire
Ayi Kitaffe ow’omu Ggulu Katonda Tusaasire
Ayi Yezu Omununuzi w’ensi Katonda Tusaasire
Ayi Mwoyo Mutuukirivu Katonda Tusaasire
Ayi Trinita Omutuukirivu Katoonda Tusaasire
Ayi Mwoyo Mutuukirivu Omutonzi Tusaasire
Ayi Mwoyo w’amazima n’okutegera Tusaasire
Ayi Mwoyo w’obutukuvu n’obwenkanya Tusaasire
Ayi Mwoyo w’okumanya n’okubulirirwa Tusaasire
Ayi Mwoyo w’okwagala n’essanyu Tusaasire
Ayi Mwoyo w’emirembe n’obugumiikiriza Tusaasire
Ayi Mwoyo ow’ekisa n’obulungi Tusaasire
Ayi Mwoyo ow’obusaasizi n’obukakamu Tusaasire
Ayi Mwoyo w’obwesimbu n’obwetowaze Tusaasire
Ayi Mwoyo w’okwefuga n’okwagala Tusaasire
Ayi Mwoyo okwagala kwa Kitaffe n’eMwana Tusaasire
Ayi Mwoyo n’obulamu bw’emyoyo emitukuvu Tusaasire
Ayi Mwoyo omuliro ogwaka Tusaasire
Ayi Mwoyo amazzi agawonya enyonta y’emitima Tusaasire
Mubuli Kibi Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli bwononefu obw’omwoyo n’omubiri Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli mululu n’obuluvu Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli mululu gwensi Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli bukuusa Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli bwononefu n’obuseegu Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli bulimba Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli maddu g’omubiri Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli bulagajjavu mu byotufuuyirira Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli bulimba n’okuwaayiriza Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli kwegomba n’entalo Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli kya kwejalabya n’okwekuza Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli kuyomba okubi Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli mbeera yonna etakusanyusa Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli muzimu namanyi ga sitaani gonna Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli ddogo na kusiranyizibwa Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli Buwonge bwonna Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Mubuli ndagaano ne sitaani yonna Tusumulule Ayi Mwoyo Mutuukirivu
Ayi Katonda Kitaffe ajjudde okwagala Tusonyiwe buli bibi; ebyaffe
neby’abatuzala
Ayi kigambo wa Katonda Tukwatirwe ekisa otuddiremu
Ayi Mwoyo Mutuukirivu Tulungamye tutuuke mu Ggulu
Ayi Akaliga ka Katonda gwe ajjawo ebibi byensi, Tusindikire Omukubagiza
Ayi Akaliga ka Katonda gwe ajjawo ebibi byensi, Tujjuze ebitone bya Mwoyo
Mutuukirivu
Ayi Akaliga ka Katonda gwe ajjawo ebibi byensi, Tuyambe ebirabo bya MwoyoMutuukirivu byeyongere muffe.
Twegayirire
Ayi Katonda, olw’amanyi ga Mwoyo Mutuukirivu lambika emitima gy’abakkiriza,
tukwegayiridde nnyo, Mwoyo oyo yenyini eyakka ku Batume mu kisenge kya
waaggulu, mumatandika ge’Klesia atuyambe tujjule amanyi go era tutuuse ne mu
Ssanyu eritakoma mu Kristu Yezu. Tukikusaba mulinya lya Yezu Kristu Mukama
waffe aliwo awangala ng’alamula wamu ne Patri n’eMwoyo Mutuukirivu
emirembe n’emirembe. Amiina
Comments
Post a Comment