AMATENDO GA NNYAFFE BIIKIRA MARIA
MIREMBE AYI KABAKA OMUKYALA Mirembe Ayi Kabaka Omukyala , Nnyaffe ow'ekisa , bulamu bwaffe , ssanyu lyaffe , ssuubi lyaffe , mirembe . Tukowoola gy'oli ffe abaana abagobe aba Eva , Tukusindira nga tukaaba , nga tukuba ebiwoobe , mu kiwonvu kino eky'amaziga . Ayi Omuwolereza waffe , amaaso go ag'ekiisa gasimbe kuffe ,Ne Yezu , Omwana w'enda yo ow'Omukisa , omutulaganga , nga tuvudde mu kidduko kino . Ayi Omusaasizi , ayi ow'ekisa , ayi Bikira Maria Omuteefu . R / Ayi Nnyina Katonda Omutuukirivu , otusabire . V / Tulyoke tusaanire okufuna Yezu Kristu bye yatusuubiza .
Twegyirire :
Ayi Katonda Nnyini Mwana omu omuzaale , eyatufunira empeera ey'obulamu obutaggwawo , nga twebuulirira ebikolwa bya Sappule ya Biikira Maria tuwe okugoberera kye bitegeeza n'okufuna kye bisuubiza . Ku bwa Yezu Kristu Mukama Waffe . Amiina .
AMATENDO GA NNYAFFE BIIKIRA MARIA
Ayi Mukama tusaasire, ×2
Ayi Kristu Tusaasire, ×2
Ayi Mukama Tusaasire, ×2
Ayi Kristu tuwulire
R. Ayi Kristu tuwe
Patri ow'omu ggulu Katonda........ R. Otusaasire
Mwana omununuzi w'ensi Katonda,
Mwoyo Mutuukirivu Katonda,
Trinita Omutuukirivu Katonda Omu,
Maria Omutuukirivu,....... R. Otusabire
Omuzadde Omutuukirivu owa Katonda,
Omubeererevu Omutuukirivu Mugole w'ababeererevu,
Nnyina Yezu Kristu,
Nnyina w'enneema ya Katonda,
Omuzadde omutukuvu ddala,
Omuzadde omwekuumi ddala,
Omuzadde eyaba olubuto n'atayonooneka,
Omuzadde asaanidde okwagalwa,
Omuzadde omulungi ennyo eyeewunyizibwa,
Omuzadde omubuulirizi omulungi,
Nnyina Omutonzi,
Nnyina Omulokozi,
Omubeererevu omwegendereza ennyo,
Omubeererevu omutiibwa,
Omubeererevu ataggwa matenda,
Omubeererevu omuyinza,
Omubeererevu omusaasizi,
Omubeererevu omwesigwa,
Ndabirwamu erabirwamu obutuukirivu,
Kitebe ky'amagezi,
Nsibuko y'essanyu lyaffe,
Nkuluze ey'ebirungi eby'omwoyo,
Nkuluze ey'ekitiibwa,
Nkuluze ennungi ennyo ey'obujjumbizi bw'eddiini,
Roza etetegeerekeka,
Munaala Gwa Daudi,
Munaala Gwe'essanga,
Nnyumba ya zawabu,
Ssanduuku y'endagaano,
Wankaaki w'eggulu,
Mmunyeenye ya ku makya,
Bulamu bw'abalwadde,
Kiddukiro ky'abonoonyi,
Mukubagiza w'abanaku,
Mubeezi w'abakristu,
Kabaka wa Bamalayika,
Kabaka wa Bajjajja,
Kabaka w'Abalanzi,
Kabaka w'Abatume,
Kabaka w'Abajulizi,
Kabaka w'Abannyiikivu,
Kabaka w'Ababeererevu,
Kabaka w'Abatuukirivu bonna,
Kabaka eyagwa munda nga toliimu kibi kisikire,
Kabaka eyatwalibwa mu ggulu,
Kabaka wa Rozaari entukuvu ddala,
Kabaka ow'emirembe,
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi, R. tusonyiwe ayi Mukama.
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi, R. tuwe ayi Mukama
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi, R. tusaasire.
V/Ayi nnyina Katonda Omutuukirivu tusabire,
R/Tulyoke tusaanire okufuna Yezu Kristu bye yatusuubiza.
TWEGAYIRIRE
Ayi Katonda, tukwegayirira ffe abaweereza bo, tuwe okubeera abalamu bulijjo mu mwoyo ne mu mubiri ate ku lw'okusabirwa Maria omubeererevu, Omutuukirivu, tuwonye ennaku ez'omu nsi muno, tufunyise mu ggulu essanyu eritaggwawo.
Tukikusaba nga tuyita mu Kristu oyo Mukama waffe.
Amiina.
Ayi Yozefu omutuukirivu tuddukira gyoli mu nnaku zaffe era nga tumaze okwegayirira omugole wo Omutuukirivu ddala atujune; tukuwanjagira naawe nga tukwesiga nnyo otuwolereze. Okubeera okwagala kwe wayagalamu Biikira Maria ataliiko bbala Nnyina Katonda, n'okubeera omutima ogw'obuzadde gwe walina ku mwana Yezu. Tukwegayiridde nnyo, tunuuliza ekisa ezzade Yezu Kristu lye yanunuza n'omusaayi ggwe era tujune mu byetaago byaffe n'obuyinza bwo n'obuyambi bwo.
Ayi Mukuumi w'ekika Kya KATONDA, omwegendereza ddala, kuuma ezzade lya Yezu Kristu eryalondebwamu. Ayi kitaffe atwagalira ddala, tugobeeko akabi konna akatuwabya n'akatwonoona. Tugirire ekisa, ayi Mukubirizi waffe ow'obuyinza; ng'oyima mu ggulu, tuzibire mu ntalo ze tulwana n'amasitaani. Era nga bwe waggya edda omwana Yezu mu kabi ak'okufa, na kaakano Eklezia wa Katonda omutukuvu mutaase mu mitego gy'omulabe ne mu kabi konna.
Tubikkeko akasubi ffenna bulijjo, tulabirenga ku bikolwa byo ebirungi naawe nga bw'otujuna, tuyise bulungi bulijjo mu bulamu bwaffe, tufe bulungi, tuweebwe okwesiima okw'emirembe n'emirembe mu ggulu, Amiina
Comments
Post a Comment