AMATENDO GA PADRE PIO OMUTUUKIRIVU ( Eri abo abamulinamu obwesige obwomunda )

Ayi Mukama tusaasire..... (x2) 
Ayi Kristu tusaasire.....
 Ayi Mukama tusaasire.....  
Ayi Kristu tuwulire.....

 Maria Omutuukirivu Fransisko Ow'Assisi Omutuukirivu.....Tusabire 
 Empagi y'Abakkiriza Omwefaanaanyiriza wa Kristu..... Tusabire 
Omusaaseredooti wa Katonda Asaanidde.... Tusabire 
 Padre Pio Omutuukirivu Ttendo lya Babbulaaza Abakapuchini....
 Omuyigiriza w'Amazima....
 Entiisa y'emyoyo emigwagwa....
 Mukubagiza w'abali mu bulumi....
 Muyambi w'abali mu bwetaavu.... Muwolereza Katonda ggwe yeeroboza.... Mukozi w'ebyewuunyo.....
 Olw'ebisaanyizo bya Padre Pio.... Tulokole Ayi Mukama
Olw'obutaweera ng'anoonya okuzza gy'oli aboonoonyi...... Tulokole Ayi Mukama Olw'okuyigiriza kwe n'okusomesa kwe.... Tulokole Ayi Mukama 
Olw'amaziga ge yakaabanga okusonyiyisa aboonoonyi... Tulokole Ayi Mukama Olw'obugumiikirizabwe n'eggonjebwa.... Tulokole Ayi Mukama 
Olw'enfa ye ey'ekitiibwa.... Tulokole Ayi Mukama 
Ku lunaku olw'Okulamulwa.... Tulokole Ayi Mukama 
Ffe aboonoonyi.... Tukusaba otuwulire Tuwe obugumiikiriza nga tubadde tuli mu kugezesebwa.... Tukusaba otuwulire Tuyambe mu byetaago byaffe.... Tukusaba otuwulire 
Wulira okwegayirira kwaffe n'ebyo bye tukusaba.... Tukusaba otuwulire 
Yasa mu ffe Omuliro gw'okwagala kw'Obwa Katonda.... Tusabire otuwulire Tuwe okukuumibwanga n'okuwolerezebwanga Padre Pio Omutuukirivu... Tukusaaba otuwulire Kaliga ka Katonda ggwe aggyawo ebibi byensi... Tusonyiwe Ayi Mukama
Kaliga ka Katonda ggwe aggyawo ebibi byensi.... Tuwulire Ayi Mukama  . Kaliga ka Katonda ggwe aggyawo ebibi by'ensi... Tusasire 
Ayi Padre Pio Omutukirivu tusabire Tulyoke tusaanire okufuna Kristu bye yatusuubiza.
 
TWEGAYIRIRE
Ayi Katonda Kitaffe , Omuweereza wo Padre Pio yasembeza Kristu eri Ekelezia n'eri ensi yaffe eya leero . Tuyambe , ng'emitima gyaffe tugisembezza n'ogw'Omununuzi waffe twagale okuba mu bulamu ngo'bw'abatuukirivu b'obudde bwaffe . Ebizibu eby'amaannyi ebiva ku by'embeera z'obumtu , n'ebyenfuna n'ebyobufuzi , kumpi n'ebyobuwangwa n'ebyobugunjufu bwa leero , okubonaabona okwa buli ngeri kw'ensangi zino , okubuusabuusa mu bantu kwabwe , okwegaananga kwabwe , okutawaanyizibwa kwabwe , okukabirirwa kwabwe , ebibeekubagizisa , n'ebibeeraliikiriza ... Tuyambe bino byonna tubyasangulizenga mu lulimi olwangu era olugagga ennyo olw'amawulire ag'essanyu .
Amiina 

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU