AMATENDO G'OMUSAAYI GW'OMUWENDO ENNYO OGWA YEZU KRISTU
Ayi Mukama , tusaasire ( x 2 )
Ayi Kristu , tusaasire(x2)
Ayi Mukama , tusaasire(x2)
Ayi Kristu , tuwulire
Ayi Kristu , tuwe
Patri Ow'Omu Ggulu Katonda.... Tusaasire
Mwana Omununuzi w'ensi Katonda......
Mwoyo Mutuukirivu Katonda.....
Trinita Omutuukirivu Katonda Omu.....
VI : Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusaayi ogulokola ( x1 ):
RI : Tubikke wamu ne Ensiyonna
Ennyanja y'Omusaayi gwa Yezu Kristu : Tusumulule
Omusaayi gwa Yezu Kristu ogujudde Obutuukirivu n'ekisaasaazi : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , amaanyi gaffe n'obuvumu : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Endagaano ey'Emirembe gyonna : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusingi gw'Okukkiriza kw'Abakristu bonna : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Ekyokulwanyisa kya Katonda Ekikulu : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Okwagala kwa Katonda : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu Ntisa ya Masitaani : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , -Obuyambi bw'abali ku njegere : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Vviini Entukuvu : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Amaanyi g'Abakristu : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Nyini kutaasa kisenge Ekyetoolodde Obukatoliki : Tusumulule
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Okukkiriza kw'O mukristu Okutuufu : Tusumulule
MUSAAYI OGW'OMUWENDO ENNYO OGWA YEZU KRISTU OMUSAAYI OGUWONYA : TULOKOLE
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , ogutufuula Abasiige ba Katonda : Tulokole
Musasyi ogw'Omuwendo Ennyo , obuvumu bw'Abaana ba Katonda : Tutokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Omuduukirizi w'Abakristu mu Ntalo zonna : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Omusaayi Ogw'Okuzuukira : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Eky'okunywa kya Bamalaika Abomu Ggulu : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Kikubagizo eri Katonda : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Okutayirirwa Kw Abamawanga : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Eddembe ettuufu : Tubokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Kasanaa ake ememulira mu Ggulu ne ku nsi : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Musoke ku Ggulu : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Essuubi ly'Abato abatalina musango na gumu : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Kigambo Wa Kátonda mu Ggulu : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Enriyo , Ekyokuiwanyisa kya Katonda : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Omusingi ensi yonna kweyimiiridde : Tulokole
Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo , Obusaaşizi bwa Katonda Patri : Tulokole
VI : Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu ,
RI : Ensi ginaazeeko ebibi byonna .
VI ; Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu ,
RI : Ensi giggule amaaso erabe ebya Katonda ebikusike ebigirimu ,
VI : Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu ,
RI : Tuyigirize engeri entuufu ey ' okukubagizaamu Yezu .
Twegayirire :
Ayi , Omusaayi Ogw ' Omuwendo Ennyo ogw'Okulokoka kwaffe , Tukkiriza , Tusuubira era Twesiga Ggwe wekka_ Tukwesengereza , nunula abo bonna abali mu mikono gy'emyoyo emibi egiva mu Muliro Ogutazikira . Taasa kati kati abo bonna abali mu kaseera kaabwe akazibu ennyo ak'okufa . Balwanireko mu lutalo lw'ebikemo ebisembayo ebinene ennyo , ebiva mu myoyo emikemi emibi , bawanguze ate era Ggwe wennyini Ggwe oba obaaniriza , mu Kitiibwa Kyo eky'emirembe n'emirembe mu Ggulu . Ensi yonna gikwatirweekisa era otuzzeemu amaanyi mangi tweyongere bulijjo okusinza n'okukubagiza Omutima gwa Yezu Omutuukirivu . Tukusinza , Ayi Musaayi ogw'Omuwendo ogw'Obusaasizi . Amiina .
VI : Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu ; R / : Wonya Ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu Ennyo ogwa Yezu [ x3 ]
Oluyimba Lw'Okwesingira : Ekidd : Musaayi gwa Yezu , Musaayi gwa Yezu , Musaayi gwa Yezu , tubikke ( x3 ) Okusinza Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu ,
Okusinza Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu .
Tukusinza Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu ,
Tukusinza Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu .
Okusinza Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu , Okusinza Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu .
Comments
Post a Comment