EBIKOLWA BYA SSAPULE

EBYAMAGERO EBY'ESSANYU(Monday & Saturday)

 i. Eky'amagero ekisooka: Malaika Gabrieli Omutuukirivu abuulira Maria nti alizaala Omwana wa Katonda; Ayi Maria otusabire empisa ennungi ey'obwetowaze (Lk 1:30-31).


 ii. Eky'amagero eky'okubiri: Biikira Maria akyalira Elizabeti Omutuukirivu mugandawe;Ayi Maria otusabire empisa ennungi ey'okwagalana (Lk 1:39-41). 


iii. Eky'amagero eky'okusatu: Biikira Maria azaala Yezu Kristu e Betelemu mu Kisibo ky'ente; Ayi Maria tusabire tube baavu mu mwoyo (Lk 2:6-7). 


iv. Eky'amagero eky'okuna: Biikira Maria atwala Yezu Kristu mu Eklezia okumusingira Katonda naye ye nnyini okwetukuza; Ayi Maria tusabire empisa ennungi ey'obutukuvu (Lk 2: 6-7).


 v. Eky'amgero eky'okutaano: Biikira Maria azuula Yezu Kristu mu Eklezia nga ayigiriza abakulu ab'eddiini Ayi Maria tusabire empisa ennungi ey'obuwulize (Lk 2:22-23).  


 EBY'AMAGERO EBY'EKITANGAALA(Thursday)

i. Eky'amagero ekisooka: Yezu Kristu abatizibwa mu mugga Yordani; Ayi Maria tusabire tuwulirenga Yezu Omwanawo nga Patri bwe yatulagira (Lk 6: 17-20). 


ii. Eky'amagero ekyokubiri: Yezu Kristu ayoleka ekitiibwakye n’ekisa ku mbaga ye Kana; Ayi Maria tusabire twolekenga ekitiibwa n’ekisa kya Katonda eri bannaffe (Jn 2:1-12). 


iii. Eky'amagero ekyokusatu: Yezu Kristu alangirira obwakabaka bwa Katonda, n'akowola ffenna okwenenya; Ayi Maria tusabire tudde eri Katonda (Lk 6:17-20).


 iv. Eky'amagero ekyokuna: Yezu Kristu afuuka obulala, n'ayoleka ekitiibwa ky'omubiri kye tulifuna mu kuzuukira; Ayi Maria tusabire tutuuke mu kitiibwa eky'okuzuukira (Mt 17: 26-28). 


v. Eky'amagero ekyokutaano: Yezu Kristu akola Esakramentu Ettukuvu ennyo erya Ukaristia; Ayi Maria tusabire tulissengamu nnyo ekitiibwa n'okulijjumbira (Mt 26:26-28). 



EBY'AMAGERO EBY'OKUBONABONA(Tuesday & Friday) 

       i. Ekyamagero ekisooka: Yezu Kristu yelarikirira ku lwaffe mu kifo kye Getesmani; Ayi Maria tusabire tukyawe ebibi byaffe (Mk 14: 36)..


ii. Ekyamagero ekyokubiri: Yezu Kristu asibwa ku mpagi n’akubwa nnyo; Ayi Maria tusabire twebonereze (Mk 15: 14-15).


 III.  Ekyamagero ekyokusatu: Yezu Kristu atikkirwa omuge gw’amaggwa ku mutwe; Ayi Maria tusabire tugumiikirize mu bulumi (Mk 15: 16-17).


iv. Ekyamagero ekyokuna: Yezu Kristu yetikka omusalabagwe; Ayi Maria tusabire tuleme kwemulugunya mu nnaku zaffe (Jn 19: 17-18). 


v.Ekyamagero ekyokutaano: Yezu Kristu akomererwa ku musaalaba n’afa; Ayi Maria tusabire tunywere mu bulungi okutuusa okufa (Jn 19: 3a).


EBY'AMAGERO EBY'OKUGULUMIZIBWA/EBY'EKITIIBWA(Wednesday & Sunday) 


 i. Eky'amagero ekisooka: Yezu Kristu azuukira mu bafu; Ayi Maria otunyweze mu ddiini (Mk 16:5-8). 


ii. Eky'amagero ekyokubiri: Yezu Kristu alinnya mu ggulu; Ayi Maria otwongere esuubi ery'okulokoka(Lk 24:50-53).


 iii. Eky'amagero ekyokusatu: Yezu Kristu asindika Mwoyo Mutuukirivu bu Batumebe; Ayi Maria otwagaze Mwoyo Mutuukirivu ne by'atuleetera (Ebik 1: 9-11).


 iv. Eky'amagero ekyokuna: B. Maria atwalibwaa mu ggulu; Ayi Maria tumusanyukire (Tradition).


 v. Eky'amagero ekyokutaano: B. Maria alya mu ggulu obukulu obutasingika; Ayi Maria otusabire okufa obulungi otutikkize engule ey'ekityibwa 


Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU