ESSAALA ENNUNGI OKUSOMERANGA YOZEFU OMUTUUKIRIVU .
Omwana wa Yozefu tarizikirira emirembe gyonna . kutuuka Iwe ndifa , njakwesiganga Ggwe Yozefu . Omuntu tayinza butasanga Yezu bw'aba asanze Ggwe Yozefu . Nange nno okutuuka eri Yezu , nnayitanga gy'Oli Yozefu . Omukulembeze wange , omulezi wange , ye Ggwe Yozefu Bulikabanga , nabuli kafo wennaabeeranga , nja kusanyusanga Ggwe Yozefu . Obudde nga bwakakya , njakukowoolanga Ggwe Yozefu .
Byonna ebinsanyusa binabanga ku Ggwe Yozefu , Nga mpandiika naasokeranga ku linnya lyo eddungi Yozefu . Mu byonna byonna bye nnakolanga , nja kugobereranga ekitiibwa kyo Yozefu . Nga ndya oba nnywa , nnabikoleranga mu maaso go Yozefu . Nga nnebase , omutima gwange gunakubanga Iwa kwagala Ggwe Yozefu . Bwe nnafunanga ebinsanyusa , nja kutenderezanga Ggwe Yozefu . Bwe nnakaabanga , ennaku zange nja kuziweerezanga Ggwe Yozefu . Bwe nnagwanga awabi , nnaddukiranga gy'Oli , Yozefu . Engabo enentasanga mu bikemo sironda mulala , wazira Ggwe Yozefu . Okwagala okubi nga kumwaliriza , nnakowoolanga Ggwe Yozefu . Ssaagala mukubagiza mulala , wazira Ggwe Yozefu.
Ennaku nga zinkabya sitemenga mulanga mulala wazira guno : " Ayi Yozefu " . Olumbe nga luntwala , nsaba lungaanzike ku kifuba kyo Yozefu . Nga nzisa ekikkowe ekivannyuma , nsaba kibe kino : " Kitange Yozefu " . Ku ntaana yange njagala bawandiikeko bino : " Suubira mu Yozefu " . Mmwe bayise , abasoma ebigambo bino , munsabire eri Yozefu Ggwe wamma nga kirungi bulala okufiira mu mikono gyo , Yozefu . Nga ntuuse mu Ggulu gy'Oli , nsaba ntuule kumpi Kitange Yozefu . taawe Ba mukisa munene abakulaba kati mu Ggulu ayi Yozefu . Tonsubyanga kukulaba , Kitange Yozefu .
Comments
Post a Comment