Essaala ey'okusaba Yozefu Omutuukirivu , emirimo gyaffe agiwe omukisa gwe .
Ayi Yozefu Omutuukirivu , Ggwe alabirwako abakozi b'emirimo , Omukama gwe yakwasa amaka g'eNazareti okugalabirira mu byonna ; nzuuno nkukwasa emirimo gy'amaka gano gewantekamu okugalabirira . Kitange omwagalwa , gatunuulize ekisa kyo ekingi , era togajuzanga kantu . Tuwe obuteeraliikirira bya nsi nga bitubuze ; ate nga tubifunye , tuwe obutabimalirako mitima gyaffe , n'okutwerabiza Omukama eyabituwa Abakulu tuwe okwagalana okwagalana obulungi n'okugumiikirizagananga , abato bakulize mu kukutya n'okukwesiganga , era obawulizanga bulungi byonna ebibabuulirirwa .
Obulwadde nga butulumbye oba ennaku endala zonna ,. tuwe obutaterebuka , naye twesige nga Katonda Kitaffe , nga Ggwe bwe wakola ! Ffenna ab'omu maka gano , tukusaba omukisa ogw'okusisinkana naawe mu bulamu buli obujja ; gye tulikutendera awamu ne Nnyaffe B. Maria mu gole wo , nga twesiimira mu lubiri Iwa Katonda Kitaffe emirembe gyonna . Amiina " Yozefu Omukuumi w'amaka amatukuvu tusabire "
Comments
Post a Comment