ESSAALA EY'OKWESINGIRA BIIKIRA MARIA OMUTUUKIRIVU NGA TUJAGUZA EMYAKA 100 BUKYA ALABIKIRA E FATIMA

Ayi Biikila Maria omutuukirivu Nnyina katonda ggwe eyakkiriza okulabikira e Fatima n' obuulira abaana abasatu Lusiya ,Francisko, ne Yasinta ekkubo katonda Lyayagala tutambuliremu okubonerera ebibi byaffe okuddabiriza katonda mumazima okwebonereza nokwegayirira ennyo tuutuno tuvunnamye mu maaso go nga tukwesengereza owulirize n'ekisa essaala yaffe abaana bo abakwesiga gye tukwanjulira ogituuse eri yezu omwana wo
Tukusingira ensi yaffe Uganda otutaase akabi konna ak'omwoyo n'omubiri akatwolekedde mu nsangi zino ayi kabaka ow'emirembe tusabire emirembe egya nnamaddala egiva eri katonda ziyiza ebikolwa eby'obukambwe n'ettemu ebisusse mu nsangi zino wabeerewo okwagalana n'okusonyiwagana Mukama waffe yezu kristu bye yatuyigiriza
Ayi Nnyina w' Eklezia , Eklezia wa katonda mufunyise okussa ekimu n'eddembe Abantu bonna abamwawukanyeeko olwempaka zaabwe oba olwokuwubwa bakomye wo. Abasinga obuwakanyi nobulimba bakyuse nabo abaddiridde bakoleezeemu buggya omuliro ogwokwagala katonda.Ziyiza obukafiiri obugenda bubuna wonna. Leero tuwonye buli Kabi konna akayinza okwonoona okukkiriza kwaffe
Ayi Nnyina wokwagala okutuufu tukusingira amaka gaffe gawe okubeera amakristu ddala era gataase obutabanguko bulijjo ganywerere mu kwagalana n'eddembe Tuzze buggya mu mutima emwegayirizi.naddala tujjumbire nnyo essaala yo engganzi eya ssappule Twagazise nnyo amasakramentu amatukuvu gonna. tulyoke tufune enneema ezinaatuyamba okuluubirira obutuukirivu awatali kukoowa.
Tukusingira era obulamu bwaffe esanyu lyaffe nennaku zaffe naddala endwadde ezibuliddwako eddagala ezitudoobya mu nsangi zino. Ayi Nnyaffe atwagala ennyo. Obuyambi bwaffe bwonna Tubulindiridde Kuva gy'oli ggwe atuwolereza bulijjo eri yezu kristu omwana wo.

                 Amiina

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU