ESSAALA EY'OKWESINGIRA YOZEFU OMUTUUKIRIVU.
Ayi Yozefu . Omutuukirivu , Katonda gwe yayawula mu bonna , n'akutuwa tukwagalenga , tukukowolenga awatali kukuweeza ; nzuuno nvunnamye mu maaso go Katonda Patri ne Mwana ne Mwoyo Mutuukirivu , ne Nnyaffe Bikira Maria nga bandaba : nkulonze Kitange omwagalwa ennyo ofuuke Kitange , ompolerezenga , onkuumenga , onkulemberenga mu byonna Kkiriza nno , Kitange , nange ommenyere mu baana bo ab'obwebange beweraliikirira ennyo mu ngeri enjawufu . Obukolwa bwange bwonna , bufuulenga bubwo , obusiimulengako olufufugge olubi olubwonoona , olyoke obuweerezenga B.Maria mugole wo , ye -abutuuse eri Omwana we Yezu .
Tonerabiranga mu kaseera ak'okufa kwange : omberanga kumpi , ng'ongobako sitaani kalittima antawaanya mu kabanga ako akazibu bw'otyo ontuuse n'eddembe mu lubiri lw'Omwana wo , gy'endyesiimira awamu naawe emirembe gyonna . " AyiYozefu entiisa y'amasitaani omuwolereza w'abazirika , tusabire .
Comments
Post a Comment