ESSAALA YA ANTONIO OMUTUKIRIVU OMUZUUZI W'EPADUA.

 
  Ayi Antonio omutukirivu omukozi w'ebyewuunyo,okwagala katonda okutalojjaka kwe walina n'okwagala ebitonde n'abatonde b'Omukama, 
  byakusobozesa okukola ebyewuunyo nga okyali ku nsi 
Ebyamagero byeziranga ggwe kwatula kigambo mu maaso ga katonda naddala nga osabira abali mu bwetaavu. Abalwadde wabaddizanga obulamu; wazuulanga ebibuze; abannyamidde mu mitima tiwabaggyako liiso era bw'otyo n'ozuukiza n'abafu. Mange nno nga nkwesengereza era nga nesiga nga bw'oli omuwolereza omuganzi mu maaso ga katonda nkusaba onzuulire kye nkusaba

  (Ekyetago...... ...,) 

Nsalira gonna mu buyinza obw'ebyewuunyo katonda bwe yekuwa onzuulire kye nkusaba ate nange ka nkusuubize okwebazanga katonda ennaku zonna ez'obulamu bwange.
                 
                  A M I I N A.

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU