ESSAALA YA YOANNA MARIA MUZEEYI OMUTUKIRIVU.
Ayi Yoanna Maria Muzeeyi ggwe Omujulizi Omutukirivu ddala eyayagala ennyo Katonda mungeri etatendeka n'emmeeme yo yonna neweewerayo ddala n'ebibyo byonna okumuweereza mu Eklezia we ngogondera abo beyakuwa okukufuga ddala kyakufuula ekirabo eri Kristu ekimuwunyisa akawoowo.
Olw'okwagala kwo kuno okuyitirivu, n'omukama yakufuula mukulu mutukirivu, mwayisa ebirungi enkumu okubituusa eri abantu be, Bw'otyo n'obawonyanga eddwadde nnyinji nga wayamba eddagala ly'obutonde. Ate ng'ojjudde amagezi ag'ekitalo, wayogeranga ebigambo ebiwoonya emitima egimenyese, n'ebizzaamu amaanyi abaterebuse nebitabaganya abasowaganye, kuno kwewassa n'omulimu gw'okununula abaddu, okuyamba abasibe n'okusomesa abatamanyi, bw'otyo n'ojjuza emirembe, essanyu n'okwagala mu bantu ba Katonda.
Nkwegayiridde nnyo, ggwe omuwonya w'emyoyo n'emibiri era omuleesi w'emirembe eri abakkiriza, nnyamba onsabire mu byetago byange bino;_____
Nzikkiriza nga bijja kungasa era mbyoyamba okwagala Katonda n'abantu be, n'okuzimba omubiri gwa Kristu nga ye Eklezia.
Amiina.
Ayi abajulizi abatuukirivu abomu Uganda mwenna abassa ekimu ne Yoanna Maria Muzeeyi, okugoberera Yezu Kristu n'okunywerera mu ddiini ye nemumufiirira mutusabire.
TWEGAYIRIRE;
Ayi Katonda ggwe eyalonda Yoanna Maria Muzeeyi n'omujjuza amaanyi ag'ekitalo, mukuyisa nga Kristu omwana wo tuwe naffe tutwale eky'okulabirako kye, naddala okuyamba abalwadde awamu n'abo abali mu mbeera ezibalumya mu myoyo ne mu mubiri tusobole naffe okutikkirwa engule ey'okuyisa obulungi. Tukikusaba nga tuyita mu Yezu Kristu Mukama waffe.
AMIINA.
Comments
Post a Comment