ESSAALA Y'OKWESINGIRA OMUSAAYI OGW'OMUWENDO ENNYO OGWA YEZU KRISTU
[ Mwattu gisomenga buli lunaku , nga ossaako nnyo omwoyo ku by'oyatula ]
Nga eno bwe ndowooza , Ayi Mulokozi Omusaasizi , ku buteeyinza bwange , ate ne ku Buyinza Bwo , Obusukkiridde , nneeyala mu mwoyo gwange wansi w'ebigere byo ne nkwebaza olwobubonero obungi ennyo mwozze oyita okundaga nga enneema zompa bwe ziri akeesedde : nze ekitonde Kyo entasiima . Ate naddala nze nkebaza , olw'okundokola n'omponya amaanyi ga Sitaani amabi , nga oyita mu Musaayi ogw'Omuwendo Enyo . Mu maaso ga Mmange Omwagalwa Ennyo Bikira Maria ,n'aga Malaika wange Omukuumi , n'ag'Omutuukirivu Omuwolereza wange ; era ne mu maaso ga BannaGgulu bonna , nneeweelayo ddala nzenna nga sikakiddwa , n'omutima omwerufu ennyo , Ayi Omwagalwa Wange Yezu , eri Omusaayi Gwo Ogw'Omuwendo Ennyo , mwewayita okununula ensi nga ogiggya mu kibi , mu kufa , ne mu Muliro Ogutazikira , Nkusuubiza , olw'obuyambi bw'enneema Zo era n'okusinziira ku maanyi gange gonna genninawo nga nze , okwogerera obulungi n'okwaniriza ennyo Obutume buno obw'Omusaayi Gwo ogw'Omuwendo Ennyo ; ogwo " Omuwendo " omunene " Ogwagula " okununulwa kwaffe , Nga kyennoonya mu kukola bino , kwe kulaba nga Omusaayi Gwo Ogw'Omuwendo Ennyo , gussibwamu ekitiibwa , era nga gugulumizibwa mu bantu bonna , era wonna . Mu ngeri eno , njagala okukuddaabiriza olw'okunyoomoola kwange mu bulamu kwennyoomooddemu Omusaayi Gwo ogw'Omwendo era ogw'Okwagala okungi , ko n'okukukubagiza olw'okukujolonga abantu kwe bazze bakujolongamu , nga bayisa amaaso mu muwendo ogwo omunene gwe wabasasulira olw'okubalokola , Hal Singa nno bino wammanga bisiimulwawo , Ayi Musaayi Omutukuvu ogw'Omuwendo ennyo ! Ekisooka , ebibi byange byonna byonna . Ekyokubiri , Obunnyogovu bwange bwonna ku bidda ku by'omwoyo , N'Ekyokusatu , buli kikolwa kyonna ekitakuweesa kitiibwa , kye nnali nkoze ! Labayo , Ayi Yezu Wange Omwagalwa , nkutonera Okwagala , Ekitiibwa , n'okusinza , byonna ebyo ebya Maama Wo Omutuukirivu Ennyo , era n'ebyo eby'Abayigirizwa Bo bonna abeesigwa , wamu n'Abatuukirivu Bo bonna , mu nsi yonna , era n'emirimbe gyonna , bye bazze bawa Omusaayi Gwo ogw'Omuwendo Ennyol Nkusaba okwerabira obutakkiriza bwange bwonna obwasooka , n'obunnyogovu bwange bworina mu kukuweereza , era ne nkusaba , mu bwetowaze , osonyiwe abantu abo bonna abakunyiiza . Nsammulira , Ayi Katonda Omulokozi , era sammulira abantu bo bonna mu nisi , Omusaayi Gwo ogwo ogw'Omuwendo Ennyo . Bwe tutyo , Ayi Kwagala Okukomereddwa ku Musaalaba , tusobole okukwagala obutasalawo , okuva kati , n'emitima gyaffe gyonna . Tusaanire bwe tutyo , okussa Ekitiibwa kyonna ekisoboka , mu " Muwendo " ogw'Omunene ogw'omusaayi , " Ogwagula era Ogukyagula na buli kati , " okulokoka kwaffe , Amiina . Tuddukidde eri obukuumi Bwo , Ayi Omutuukirivu Maria Nnyina Katonda . Togayanga kwegayirira kwaffe , naye tuwonye buli kabenje konna . Ayi Ggwe Biikira Omutuukirivu , Amiina .
Tusabire abo bonna abakola kyonna ekiri mu busobozi bwabwe , mu kutambuza Obutume bw'Omusaayi buno : mu Bigambo byabwe , mu Maanyi gaabwe , mu Ssaala zaabwe , ne mu Ssente zaabwe , Kitaffe ali mu Ggulu ... Mirembe Maria -Ekitiibwa kibe , Mu linnya lya Patri .........
Comments
Post a Comment