ESSALA YA NOVENA ERI NNYAFFE ATAGGULULA EBIFUNDIKWA( MOTHER MARY UNDOER OF KNOTS)

 Maria Embeerera , Maama Omwagalwa , Maama atayabulira mwana ali mu bwetaavu , Maama ow'emikono egitaweera nga gikolerera abaana be kubanga Okwagala kwa Katonda kugiwujja era n'Ekisa kye Ekitakoma ebiri mu mutima gwo . Amaaso go ag'ekisa gasimbe ku nze olabe ebifundikwa ebyezinze ebiri mu bulamu bwange . Omanyi okuterebuka n'obulumi byebindeetera . Omanyi bwe binsannyalaza . Maria , Maama ggwe Omukama gwe yawa okutaggulula ebifundikwa mu bulamu bw'abaana be , nteeka obulamu bwange mu mikono gyo . Tewaabe n'omu , yadde Omubi anaggya obulamu bwange mu mikono gyo emisaasizi . Mu mikono gyo teri kifundikwa kitataggululwa . Maama ow'obuyinza , olw'enneema yo n'okumpolereza eri Omwana wo Yezu , Omulokozi wange , nkukwasa ekifundikwa kino ( yogera ekifundikwa / ekyetaago kyo ... ) . Nkuwanjagira okitaggulule kati era n'ebbanga lyonna olw'ekitiibwa kya Katonda . Ggwe ssuubi lyange . Wekka ggwe kikubagizo Katonda gweyampa , ekigo ekigumya obunafu bwange , okuwona kw'okubonaabona kwange , era n'okusumululwa ku byonna ebinzigya ku Kristu . Maama , wulira okwegayirira kwange . Nkuuma , nnambika era ontalize . Wekka Ggwe kiddukiro kyange . Nnyaffe omutagguluzi w'ebifundikwa . Nsabira !

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU