NOVENA EY'ENJAWULO ERI OMUTIMA OMUTUKUVU OGWA YEZU
1. Ayi Yezu wage, wagamba nti " Mazima mbagamba nti, "Musabe muliweebwa, Munoonye mulizuula, Mukonkone ku luggi muliggulirwawo", Nzuuno nkokona, nnoonya, era nsaba enneema.........
Kitaffe... Mirembe Maria... Ekitiibwa...
Omutima Omutukuvu ogwa Yezu obwesige bwange bwonna mbutadde mu Ggwe.
2. Ayi Yezu wange, wagamba nti " Mazima mbagambira ddala nti Buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, Alikibawa ". Nzuuno nsaba mu linnya lyo, Patri ampe enneema.........
Kitaffe... Mirembe Maria... Ekitiibwa...
Omutima gwa Yezu Omutukuvu ddala nkwesiga n'omutima gwange gwonna.
3. Ayi Yezu wange, wagamba nti " Mazima ddala mbagamba nti, eggulu n'ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo". Nzuuno nga neesigira ddala ebigambo byo ebitawubwa, nkusaba kakaano enneema eyo.........
Kitaffe... Mirembe Maria... Ekitiibwa...
Omutima gwa Yezu Omutukuvu ddala nkwesiga n'omutima gwange gwonna.
Ayi Omutima Omutukuvu ogwa Yezu, Atalina kitasoboka mu maaso go, naddala eky'okutuusa obusasizi ku banyoleddwa, tukwatirwe ekisa ffe abonoonyi abataliiko bwetuli era otuwe n'enneema gye tukusaba nga tuyita mu Mutima gwa Nnyaffe Maria Anyoleddwa era Ataliiko bbala. Omuzadde wo era Nnyaffe Atatendeka.
( ```Soma Mirembe Ayi Kabaka Omukyaala era ogatteko Okukowoola nti Yozefu Omutuukirivu Kitaawe wa Yezu Omukuumi, tusabire - kiddingane enfunda ssatu``` )
Wetegereze: ( Novena eno yasomebwanga PADRE PIO buli lunaku)
AMATENDO G'OMUTIMA GWA YEZU KRISTU
Ayi mukama, tusaasire
Ayi kristu, tusaasire
Ayi mukama, tusaasire
Ayi kristu, tuwulire
Ayi kristu, tuwe.
TUSAASIRE
Patri ow'omuggulu katonda,
Mwana omununuzi wensi katonda,
Mwoyo mituukirivu katonda,
Trinita omutuukirivu katonda omu,
Omutima gwa Yezu, omwano wa patri ataliiko kusooka,
Omutima gwa Yezu, ogwabumbibwa mwoyo mutuukirivu mu nda ya Nnyina waagwo omubeererevu,
Omutima gwa Yezu, ogwatabibwa mu mbeera emu ne kigambo wa katonda,
Omutima gwa Yezu, ogw'ekitiibwa ekitakoma,
Omutima gwa Yezu, Eklezia ya katonda entukuvu,
Omutima gwa Yezu, ekisulo kya Nnyini Ggulu,
TUSAASIRE
OMutima gwa Yezu, ennyumba ya katonda omulyango gw'eggulu.
Omutima gwa Yezu, ekkoomi eribugujja ery'okwagala.
Omutima gwa Yezu, etterekeko ly'obutuukirivu n'e'ry'okwagala.
Omutima gwa Yezu, ogujjudde ekisa n'okwagala.
Omutima gwa Yezu, ennyanga ejjudde empisa ennungi zonna.
Omutima gwa Yezu, kabaka entabiro ye yemitima gyonna.
Omutima gwa Yezu, omuli amakula gonna ag'amagezi n'ag'okumanya.
Omutima gwa Yezu, omuli obwakatonda obulambirira bwonna,
TUSAASIRE
Omutima gwa Yezu, patri mweyeesiimira ddala.
Omutima gwa Yezu, ffenna gwe twagabanako omusera gwagwo.
Omutima gwa Yezu, ogwegombwa ensozi ezitaggwaawo.
Omutima gwa Yezu, omugumikiriza ogw'ekisa ekingi
Omutima gwa Yezu, ogugabulira bonna abakoowoola gy'oli.
Omutima gwa Yezu, ensulo y'obulamu n'obutuukirivu.
Omutima gwa Yezu, ogugonza katonda okumusonyiyisa ebibi byaffe.
Omutima gwa Yezu, ogwanogera ddala ebivumo.
Omutima gwa Yezu, ogwabeteebwa okubeera ebibi byaffe.
Omutima gwa Yezu, omuwulize ogwakkiriza n'okufa.
Omutima gwa Yezu, ogwasoggwa effumu,
Omutima gwa Yezu, ensulo ey'okukubagizibwa kwonna.
Omutima gwa Yezu, obulamu bwaffe n'okuzuukira kwaffe.
Omutima gwa Yezu, ogutuleetera emirembe n'ekisonyiwo.
Omutima gwa Yezu, ogwatambirwa abonoonyi.
Omutima gwa Yezu, ogulokola abagwesiga.
Omutima gwa Yezu, essubi ly'abafa nga bakwagala.
Omutima gwa Yezu, essanyu ly'abatuukirivu bonna.
Kaliga ka katonda akaggyawo ebibi by'ensi.
Tusonyiwe ayi mukama.
Kaliga ka katonda akaggyawo ebibi by'ensi.
Tuwe ayi omukama.
Kaliga ka katonda akaggyawo ebibi by'ensi.
Tusaasire.
Yezu omuteefu omwetowaze mu mwoyo.
Emitima gyaffe gifuule ng'ogugwo.
TWEGAYIRIRE:
Ayi katonda omuyinzi wa byonna ateggwaawo, ssa amaaso ku mutima gw'omwana wo omwagalwa ddala, era laba bw'akutenda ne bw'akusasula okubeera abonoonyi, ate ng'omaze okugonzebwa bw'otyo, abo abakusaba okubasaasira, basonyiwe okubeera omwana wo oyo, alina obulamu n'obwakabaka obumu ne mwoyo mutuukirivu emirembe gyonna
Amiina
Ayi Nabakyala omulungi owekisa nyina Katonda ataliiko bbala tukulonze olwaleero kuuma enju yaffe nga gwe ogitwaala nyaffe owekisa giwonye kawumpuli(plague corona virus etc) omuliro eraddu nekibuyaga. Gitaase ebijawukanya n'Eklezia, giwonye okuwakanya ebyeddini nokulumbibwa
Gitaase okwayibwa ababbi n'abalabe abalala abekyejo. Nyaffe omulungi kuuma abasulamu tukuume ngatufuluma tukuume ngatuyingira tutaase tuleme okufa ekibwatukira tuwonye buli kabi nabuli kabenje tusabire eri Katonda tunywerere mukumuwereza tufe ngatuli baganzi be Amiina
Comments
Post a Comment