NOVENA YA MWOYO MUTUUKIRIVU
netwegayirira. Kirungi tusooke okwenenya ensobi zaffe ate n’okusiiba kikulu eri abo abakisobola.
Ayi Mwoyo Mutuukirivu Katonda wange, nga nfukamidde mu maaso ge
Ggulu, nkwesingira nzenna, omwoyo gwange n’omubiri gwange, ayi Mwoyo
wa Katonda omulamu.
Ekitiibwa n’obuyinza bidde gyoli, olw’obutuukirivu bwo, olw’obwenkanya
bwo, ate n’olw’okwagala kwo. Gwe maanyi era ekitangaala ky’omwoyo
gwange. Mugwe mwenjagala okubeeranga n’okutambuliranga. Ayi Mwoyo
wa Katonda, mukyisaakyo nkuuma era nyamba nsigale nga ndaba
ekitangaala kyo era nsigale nga mpuliriza eddoboziryo n’okukwatanga
byonfuyirira. Nkwekutte, ayi Mwoyo Mutuukirivu, era nkwewa nzenna,
mukisaakyo eky’oluberera, nkuuma era ntaasa omponye eddogo,
obulwadde, namanyi g’omubi gonna, nfune emirembe egya namaddala.
Nga nekutte kubigere bya Yezu ebya kubibwamu Enninga era nga
ntunuulidde ebiwundu bye ebitaano nga nesiga n’Omusaayi gwe
ogw’omuwendo ennyo n’Omutima gwe ogwasoggwa effumu,
olw’okutwagala, nkwesengereza Ayi Mwoyo Mutuukirivu, omuwonya
w’endwadde, nyamba…….(ekyetago). Nyamba nfune Omukisa, nekisa. AyiMwoyo wa Katonda Kitaffe n’Omwana, nyamba nsigale nga njogera nti;
“Yogera ayi Mukama, omudduwo awulira”. Amiina
Comments
Post a Comment