NOVENA YA SR AMEDEO
Ayi Mukama Katonda Waffe Ssebintu Omuzirakisa, Ensibuko y'Obutuukirivu nga tufukamidde mu maaso go era nga twekutte ku Nnyaffe Biikira Maria ataliiko bbala,tukusaba: Omuzaana wo Sr. Amedeo Byabali omukozese ebyewuunyo asobole okulangibwa mu lubu lw'Abeesiimi.
Ekisa nga kimugiriddwa naffe kituyambe okwezza obuggya mu kukwagala,mu kukwemaliza, Mu kukolerera Klezia wo n'ensi yaffe, ne mu ku kuweereza mu bantu bo nga tuli basanyufu.
Ekyo tukikusaba ku bwa Yezu Kristu Mukama waffe.Amiina
Nange,ayi Mukama,ntunuuliza ekisa mu bino bye nkusaba.....(ekyetaago kyo)
Kitaffe ali mu Ggulu....
Mirembe Maria...
Ekitiibwa kibe ekya Patri....
Ayi Maria ow'Ekisa
Comments
Post a Comment