ESSAALA YA MSGR REV FR. ALOSYIOUS NGOBYA

  Ayi Msgr Alosyious Ngobya, gwe eyakola ebyewuunyo ng'okyali ku nsi obulamu bwo n'obusingira Katonda era ne katonda nabusiima, nfukamidde mu maaso g'Omukama ngokusaba kwange nkuyisa gyoli onkolere ebyewuunyo bino nange. 
[Ebyewuunyo byogere]
Olwennema eyenjawulo gyolina, nzikiriza nokukwesiga nti toleme kunkwata ku mukono otuuse essala zange eri omutonzi.
Olwennema z'onkolera njakusasanya erinnya lyo mu bantu abalala bangi bategeere obulungi n'amatendo go.
Ebyo mbikusaba nga mpita mu Yezu Kristu Mukama waffe... Amiina.
1. Kitaffe ali mu ggulu ×5
2.Mirembe Maria ×5
3. Ekitiibwa kibe ekya Patri ×5
4.Bikiria Maria owekisa ×5
Pray this novena prayer with faith, your life will change.
Omukama abawe omukisa.


AMATENDO GA MSGR REV FR ALISYIO NGOBYA

Ayi msgr Ngobya mukwano gwa Yezu ne B Maria .........Tuwolereze

Ayi Msgr Ngobya eyaganza obugumikiriza nga Yezu kristu ne Bikira Maria...........Tuwolereze 

Ayi Msgr Ngobya eyaayagala ennyo abali munsonga betereze .......Tuwolereze

Ayi Msgr Ngobya Ekijukizo kya Yezu kristu mu Africa......Tuwoleereze  

Ayi Msgr Ngobya omwagazi we Sakramentu etukuvu ddala awamu ne kitambiro kya missa ......Tuwoleereze

Ayi Msgr Ngobya omuwabuzi mubuli kimu.......Tuwoleereze 

Ayi Msgr Ngobya gwe atasimba ngayo mukuweleza Katonda.......Tuwoleereze

OKWESINGILA NYAFFE BIKIRA MARIA
Ayi nyabo namasole owo mu Ggulu nzuno neyaze mu maso go siliko bwendi anti ndi mwononyi asanidde omuliro naye gwe eyatunulira omwana wo nga affilirira abononyi nange ntunuliza eliso ely'ekisa okilize bye nkwanjulira (ebyetago.....) Tukukwasa emyoyo gyaffe ogikume anti ewuwo jjetusubira enemazo ffee tuli banafu tuggwa mangu naye Nyaffe nga otuwaniridde tetujja kugwa sitani tujja kumuwangula ne bikemo tujja kubigoba nyabo esubi lyaffe ekiddukiro kyaffe tetulina kyetunatya nga otukwatiddeko tukukwasa emibiri ggyaffe ogilabirire nebyaffe byonna obirabiilire nga bwewalabibilira omwana Yezu nomuyisa mubuli kabi kona tuwonye okufa ekibwatukira nga tetwatudde linya lya Yezu tuwonye endwadde ezabulingeri. Amiina

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU