NOVENA YA YUDA TADDEO OMUTUUKIRIVU.


Essaala esomebwa mu nnaku mwenda okusaba Yuda Taddeo Omutuukirivu mu buyinike, ne bwe buba buyitirivu butya ne mu nnaku ne mubintu nga tebigenda bulungi.

Mu linnya lya Patri..........
1. Mukama wange Yezu Kristu bwe wali ng'okyali ku nsi kuno. Ggwe eyeegayirira Kitaawo ali mu ggulu emirundi mingi ate ne mu Getesimani n'okaaba amaziga wulira okwegayirira kwange mu Novena eno. (wano w'oyogerera ebyetaago byo oba okwebaza kwo.....)

Essaala zange njagala okuziyisa mu mikono gya Mmange Biikira Maria ne Yuda Taddeo Omutuukirivu, muganda wo anti nga be bayambi era abadduukirize mu buzibu bwonna obwa buli ngeri. Amiina
Kitaffe......
Mirembe Maria.......
Ekitiibwa........

2. Ayi Tuda Taddeo ow'ekisa omununuzi w'abanaku, gwe Katonda gwe yalonda nakukwasa ogw'okussa essira ku kukkiriza kwaffe ggwe eyabonaabona mu ngeri ennyingi n'oyiwa n'omusaayi gwo okusinga okwegaana mukama wo, tufunire enneema ey'enjawulo naffe tunywerere mu kukkiriza kwaffe, tube beetegefu okwatula n'essanyu nti Kristu tumwagala nga ggwe bwe wakola waakiri tulondewo okufa okusinga okwonoona. Amiina.
Kitaffe.......
Mirembe Maria.......
Ekitiibwa........

3. Ayi omutume omwesigwa owa Yezu, Yuda Taddeo ow'oluganda olumu n'omulokozi waffe kulika okuwaayo obulamu bwo okubeera erinnya lya Katonda. Ggwe eyagaana okwegaana Mukama wo tusabire naffe tunywere mu butukuvu tube beesigwa ku Katonda n'Eklezia we; tusabire tutuukirize bulungi emirimu gyaffe, Katonda agulumizibwe bw'atyo mu bikolwa byaffe ebirungi. Amiina.
Kitaffe........
Mirembe Maria........
Ekitiibwa...........

4. Ayi Yuda Taddeo omutuukirivu ku nsi wegombanga nnyo okusanyusa Katonda mu byonna tufunire naffe obwagazi obwo obwakayakana mu ggwe, tusobole naffe okukufaanana mu kwagala Katonda. Tusabire tusaanire okutuuka ku nkomerero y'obulamu bwaffe nga tuli bulungi. Amiina.
Kitaffe.......
Mirembe Maria........
Ekitiibwa........

AMATENDO GA YUDA TADDEO OMUTUUKIRIVU.
1. Yuda Taddeo Omutuukirivu muganda wa Yezu ne Biikira Maria, Otusabire.
2. Eyayagala ennyo okulaba Yezu ne Maria n'okubeera nabo ku nsi, Otusabire.
3. Eyaweebwa ekitiibwa oky'okulaba omutume, Otusabire.
4. Eyalaba Yezu omuwombeefu nga amunaaza ebigere, Otusabire.
5. Eyafuna Ukarestia entukuvu mu mikono gya Yezu, Otusabire.
6. Eyanakuwala olw'okufa kwa mukama we oluvanyuma n'osanyuka bwe walaba nga azuukidde n'obaawo nga alinnya mu Ggulu, Otusabire.
7. Eyajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu ku lunaku lwa Pentekooti, Otusabire.
8. Eyayigiriza Evanjiri mu nsi ya Persia, Otusabire.
9. Eyakyuusa abangi n'obamanyisa okukkiriza okw'amazima, Otusabire.
10. Eyakola ebyewuunyo ebingi olw'obuyinza obwakuweebwa Mwoyo Mutuukirivu, Otusabire.
11. Eyawa Kabaka eyali asinza lubaale obulamu obw'omwoyo n'omubiri, Otusabire.
12. Eyasirisa amasitaani n'asaasaanya n'ebikolwa byago, Otusabire.
13. Eyalanga nti walibaawo eddembe mu makkati g'omulangira eyali atidde n'omulabe we ow'amaanyi, Otusabire.
14. Yuda Taddeo eyaggya ku misota obuyinza ne gitabojja muntu n'obusagwa, Otusabire.
15. Atafaayo ku kutiisibwatiisibwa ababi n'ayigiriza Evanjiri ya Kristu, Otusabire.
16. Eyabonaabona nga mujulizi olw'okwagala mukama wo, Otusabire.

Ayi omutume omwesiimi tukukowoola nga tukwesiga x3.
Yuda Taddeo Omutuukirivu omuyambi w'abaterebuse nnyamba mu nnaku zange x3.

Olw'obuwolereza bwo, abaseserdooti n'abantu bonna ab'omu Eklezia babe bajjumbize olw'enzikiriza yaabwe mu Yezu Kristu, abakafiiri bonna n'abatakkiriza bafune okukkiriza okw'amazima okukkiriza, okusuubira n'okwagala kweyongere mu ffe. Tuleme kukkiriza ebirowoozo n'okuggwa mu mitego gya sitaani olw'ekisa kyo yamba era kuuma abo abakuwa ekitiibwa olw'ekisa kyo tukuume tuleme kugwa mu kibi ne mu luyiringito olubi olw'ekisa kyo tutaase mu buyinza bwa sitaani na byonna ebitusendasenda mu kaseera kaffe ak'okufa.

Tusabire tukyawe ebibi byaffe, tufune n'enneema ey'okubonerera okutuufu, tufune n'amasakramentu nga situnnaba kufa. Tusabire, tusobole okugonza Katonda omulamuzi, atusalire ekibonerezo ekisaamusaamu. Tusabire tusobole okuyingizibwa mu kibiina eky'abesiimi okwesiima mu maaso ga Katonda waffe emirembe gyonna.

Akaliga ka Katonda akagyawo ebibi by'ensi; Tusaasire ayi Mukama
Akaliga ka Katonda akagyawo ebibi by'ensi; Tuwulire ayi Mukama.
Akaliga ka Katonda akagyawo ebibi by'ensi; Otusaasire.

Ayi Yuda Taddeo Omutuukirivu otusabire tulyoke tusaanire Yezu Kristu bye yatusuubiza.

TWEGAYIRIRE;
Ayi Katonda ggwe atumanyisizza erinnya lyo olw'okubeera omutume Yuda Taddeo, tuwe okugulumiza ekitiibwa kye ekitaggwaawo nga tukola ebikolwa ebirungi ate mu kugulumiza ekitiibwa kye ekitaggwaawo tukole ebikolwa ebirungi ku bwa Yezu Kristu Mukama waffe. Amiina.

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU