OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU
Ayi Kabaka wa Rozaari entukuvu ddala , Ggwe ekiddukiro ky'ezzadde ly'abantu bonna , Ggwe omuwanguzi w'entalo zonna ezirumba Katonda , laba tuutuno twevuunise mu maaso go , twetowaza . Twesigidde ddala nga tooleme n'otufunira enneema kutukwatirwa nga kisa n'otuyamba mu bubenje obuliwo mu nsangi zino . Ggwe wamma situliko kalungi na kamu ke tusinziirako kwesunga ebyo , naye tusuubira okubifuna ku lw'ekisa ekitenkanika ekijjuzizza Omutima gwo ogw'omuzadde . Mu budde buno obw'entiisa ku bantu bonna , tuzze gy'oli era twesingidde eri OMUTIMA gwo Omutukuvu ddala ogutaliiko bbala , ne , tweweerayo ddala gy'oli okukwemaliza , wamu , n'Eklezia Katolika abonyaabonyezebwa wonna mu nsi , era ajoonyesebwa ng'ayigganyizibwa mu ngeri ennyingi ; wamu n'ensi zonna , kuba zirimu okukyawagana anti kye kibonerezo ky'ettima lyazo
Laba nno ebyensi n'ebyomwoyo byonna byagala okuzikiririra ddala ; laba n'ennaku ze tutubiddemu , n'obulemu bwe tulimu , laba ebitweraliikiriza nga bingi , laba n'abonoonyi abasukkizibwa mu muliro ogutazikira .
Ggwe nno , ayi Muzirakisa , abantu ab'omu mawanga gonna basabireyo baagalanenga , n'abonoonyi bafuniréyo enneema y'okweddamu mu mwoyo , n'emikisa egitusaanyiza eddembe n'egirinyweza mu myoyo gyaffe , ffenna lye twegomba .
Ayi Kabaka w'emirembe , tusabire , era wa ensi yaffe eddembe ettuufu , ery'amazima , abantu bonna basobole okwagalana mu Yezu Kristu ; Emyoyo gy'abantu gitereere , eŋŋoma ya Katonda eryoke esobole okugibunya gyonna .
N'abakaafiiri na bonna abakyali mu kisilkirize ky'olumbe , babikkeko akasubi , ekitangaala ky'amazima kibaakire , nabo beegatte naffe tukoowoolere wamu Omununuzi waffe nti : Ekitiibwa kibe eri Katonda mu ggulu , n'emirembe gibe mu nsi ku bantu ab'omyoyo omulungi .
Abantu abaawukanye ku Eklezia ow'amazima , bawe okukomawo mu kisibo kya Yezu Kristu naddala abakwagala ennyo mu ngeri enjawufu ffenna tubeere n'Omusumba omu .
Eklezia wa Katonda mufunyise okutereera aweebwe emirembe mu bantu ; mutaase abalabe Abakristu bawe okutakabanira obutukuvu beyisize ddala ng'abakristu mu mayisa gaabwe , ate bafune okulumirwa emyoyo gya bannaabwe . Abaweereza Katonda beeyongere okwala mu muwendo ne mu bulungi
Ate kubanga Eklezia n'ezzadde ly'abantu byonna byasingirwa Omutima gwa Yezu , gwe tussaamu essuubi lyaffe lyonna , gubeere ensibuko evaamu obulokofu bwaffe n'amaanyi gaffe agatuyamba okuwangula buli kabi konna , era bwe tutyo twesingira Omutima gwo ogutaliliko kamogo , ayi Ggwe Nyaffe afuga ensi zonna . Ggwe nno ate bw'otuwolereza , obwakabaka bw'otwagala bwa Katonda tebulema kubuna , n'amazadde g'abantu gonna ,ng'omaze okugatebenkeza emirembe , ganaakuyitanga WA MUKISA ne geegatta wamu naawe okuva mu nsonda zonna ezensi ne gayimba oluyimba lw'okwebaza Yezu olutagenda kuggwaawo nga lutegeeza amawanga bwe gamussaamu ekitiibwa , ate nga bwe gamweyanza , ne bwe gamwagala , kuba mu Ye yekka mwe gasobola okusanga amazima, n'obulamu , n'eddembe . Amiina
( Paapa Pio XII , 1942 )
Comments
Post a Comment