SAPPULE EY'OBUSAASIZI
Mukama sasiira eggwanga lyaffe! 3PM
ESAALA EY'ESSAWA OMWENDA
Ayi Yezu wafa, naye ensulo y'obulamu n'efumbukuka okugasa emyoyo n'enyanja y'obusaasizi n'eggulirwawo ensi yonna. Ayi oluzzi lw'obolamu ekisa kya Katonda ekitakoma, wambaatira ensi yonna weemaliremu ddala, otubundugguleko ebirungi byo.
Ayi omusaayi n'amazzi ebyafumbukuka nga biva mu mutima gwa Yezu ng'ensulo omutuviira obusaasizi - Nkwesiga (×3)
SAPPULE EY'OBUSAASIZI
_KU MPEKE ESATU (3) EZA MIREMBE MARIA OSABA_
1. Kitaffe ali mu ggulu
2. Mirembe Maria
3. Nzikiriza Katonda
KU MPEKE YA KITAFFE ALI MU GGULU
Ayi Kitaffe attaggwaawo, nkuweereza omubiri n'omusaayi, omwoyo n'obwa Katonda bw'omwana wo omwagalwa ennyo mukama waffe Yezu Kristu, okuddaabiriza olw'ebibi byaffe era n'ebyensi yonna.
KU MPEKE EKUMI (10) EZA MIREMBE MARIA
Olw'okubeera okubonaabona okuyitirivu ennyo okwa Yezu.
Tukwatirwe ekisa wamu n'ensi yonna.
NG'OMALIRIZA
Ayi Katonda omutukirivu,
Ayi Nannyini buyinza omutukirivu,
Ayi ggwe ataggwaawo omutukirivu,
Tukwatirwe ekisa, otusasire wamu n'ensi yonna (×3)
Yezu nkwesiga.
Amiina
Comments
Post a Comment