SSAPPULE Y'OMUSAAYI OGW'OMUWENDO ENNYO OGWA YEZU KRISTU

MOTHER MARY
 " Baana bange , Ssappule eno ey'Omusaayi ogw / Omuwendo Ennyo ogw'Omwana Wange ow'Obulenzi , ye kayungirizi we Bibiina byonna eby'Enkola Enkatoliki ebyekwanya ku Kubonyabonyezebwa kw'Omwana wange " [ Bikira Maria , 29 January 1997 ] .

SSAPPULE Y'OMUSAAYI OGW'OMUWENDO ENNYO OGWA YEZU KRISTU.

 Essaala Eziggulawo [ Tuyimirire ] Mu linnya lya Patri 6715 Oluyimba : Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo , nunula Ensi .
 Okukowoola Mwoyo Mutuukirivu 
 VI : Jangu emitima gy'Abakkiriza ogikumemu omuliro gwokwagala Kwo . RI : Sindika Mwoyo Wo byonna bitondebwe , VI : N'ensi yonna ogitunuze buggya . 
Twegayirire
 Ayi Katonda , Ggwe eyabangula emitima gy'Abakukkiriza nga obatumira Mwoyo Omutuukirivu Oyo , ebirungi bye tuteekwa okugoberera , era nokusanyuka ng'abadde atukubagizza ; tukwegayiridde ku bwa Kristu Mukama Waffe . Amiina . Nzikiriza Katonda [ Wano , Tunyweza Omusaalaba oguli ku Ssappule ]
[ Vunnama i.e Amaaso n'ennyindo bituukire ddala ku ttaka ] " Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyol Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu / Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu , / Ekiggwa kya Magezi ga Katonda , I Tabernakulo y'Okumanya kwa Katonda , era Akasana Akeememuira mu Ggulu ne ku nsi , Tubikkirire kati n'emirembe gyonna , / Amiina 
" Kitaffe ali mu Ggulu Mirembe Maria x3 Ekitiibwa kibe 
" Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo / Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu / Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu , Ekiggwa kya Magezi ga Katonda , / Tabernakulo y'Okumanya kwa Katonda , / era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi , / Tubikkirire kati n'emirembe gyonna , / Amiina . " 
EKYAMAGERO EKISOOKA 
Tulowooze ku kukomerera kw'Omusumaali mu Mukono ogwa Ddyo ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu [ Tusiriikirire mu kwebuulirira ] Olw Ekiwundu eky'Omuwendo Ennyo mu Mukono gwo ogwa ddyo era olw'Obulumi obw'Omusumaali ogwayuza Omukono gwo ogwa Ddyo , tusaba , Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogufukumuka nga guvaamu ; Lokola Abonoonyi abali mu nsi yonna , era kyusa emyoyo mingi gidde mu bujjuvu . Amiina . 
VI : Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , 
RI : Wonya Ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu ennyo ogwa Yezu . 
Kitaffe ali mu Ggulu ... Mirembe Maria [ Ku mpeke enjeru ]
 VI : Musaayi gw Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu : 
RI : Tulokole wamu n'ensi yonna ( x12 )
Ekitiibwa kibe ekya Patri [ Vunnama i.e. Amaaso n'ennyindo bituukire ddala ku ttaka ] 
" Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo / Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu / Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu , / Ekiggwa kya Magezi ga Katonda , / Tabemakulo y'Okumanya kwa Katonda , / era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi , / Tubikkirire kati n'emirembe gyonna / Amiina . "
 
Ekitiibwa kibe ekya Patri 
[ Vunnama i.e. Amaaso n'ennyindo bituukire ddala ku ttaka ] 
" Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo / Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu / Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu , / Ekiggwa kya Magezi ga Katonda , / Tabemakulo y'Okumanya kwa Katonda , / era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi , / Tubikkirire kati n'emirembe gyonna / Amiina . "
 
EKYAMAGERO EKYOKUBIRI
 Tulowooze ku kukomerera kw'Omusumaali mu Mukono ogwa Kkono ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu ,
 [ Tusiriikirire mu kwebuulirira ]
 Olw'Ekiwundu eky'Omuwendo ennyo mu Mukono gwo ogwa Kkono era n'olw'Obulumi ow'Omusumaali ogwayuza Omukono Gwo ogwa Kkono , tukusaba , Omusaayi ogw'Omuwendo ennyo ogufukumuka nga guvaamu gununule emyoyo egiri mu Purgatoori era gutaase abo bonna abali mu kaseera ak'okufa , bawangule obulumbaganyi bwemyoyo egiva mu Muliro Ogutazikira , Amiina . 
VI : Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , 
RI : Wonya Ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu ennyo ogwa Yezu . Kitaffe ali mu Ggulu ... Mirembe Maria .. [ Ku mpeke enjeru ] 

VI : Musaayi gw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu : RI : Tulokole wamu n'ensi yonna[ x12 ] 
Ekitiibwa kibe ekya Patri
 [ Vunnama i.e. Amaaso n'ennyindo bituukire ddala ku ttaka ]
Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo / Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu , / Ekiggwa kya Magezi ga Katonda , / Tabemakulo y'Okumanya kwa Katonda , / era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi , / Tubikkirire kati n'emirembe gyonna , / Amiina . " 

EKYAMAGERO EKYOKUSATU
 Tulowooze ku kukomerera kw'Omusumaali mu Kigere ekya Ddyo ekya Mukama Waffe Yezu Kristu . 
[ Tusiriikirire mu kwebuulirira ]
 Olw'Ekiwundu Eky'Omuwendo Ennyo mu Ekigere ekya Ddyo , era n'Olw'Obulumi obw'Omusumaali ogw'ayuza Ekigere Kye ekya Ddyo , tusaba , Omusaayi ogw'omuwendo Ennyo ogufukumuka nga guvaamu gubikke wonna Omusingi gwa Eklezia Katolika nga gugitaasa buli nteekateeka z'Obwakabaka bw'ekizikiza n'abuli bantu ababi , Amiina
 VI : Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , 
R / : Wonya Ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu ennyo ogwa Yezu . Kitaffe ali mu Ggulu ... Mirembe Maria ... [ Ku mpeke enjeru
 VI : Musaayi gw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu : 
R / : Tulokole wamu nensi yonna [ x121 Ekitiibwa kibe ekya Patri .
 [ Vunnama i.e. Amaaso n'ennyindo bituukire ddala kuttaka Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo / Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu , / Ekiggwa kya Magezi ga Katonda , Tabernakulo y'Okumanya kwa Katonda era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi , / Tubikkirire kati n ' emirembe gyonna / Amiina . "
EKYAMAGERO EKYOKUNA
 Tulowooze ku kukomerera kw'Omusumaali mu Ekigere ekya Kkono ekya Mukama Waffe Yezu Kristu . 
[ Tusiriikirire mu kwebuulirira ] Olw'Ekiwundu Eky'Omuwendo Ennyo mu Ekigere ekya Kkono era n'olw'Obulumi obw'Omusumaali ogw'ayuza Ekigere Kyo ekya Kkono , tusaba , omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogufukumuka nga guvaamu gututaase mu ngeri zaffe zonna mu kulwanyisa enteekateeka n'obulumbaganyi bw'emyoyo emibi wamu n'abo emyoyo egyo begikozesa . Amiina .
 VI : Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu ,
 RI : Wonya Ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu ennyo ogwa Yezu . 
Kitaffe ali mu Ggulu ... Mirembe Maria ... [ Ku mpeke enjeru ] 
VI : Musaayi gw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu :
 R / : Tulokole wamu n'ensi yonna x12
 Ekitiibwa kibe ekya Patri . [ Vunnama ie . Amaaso n'ennyindo bituukire ddala ku ttaka ) "
 Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu ! Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu , Ekiggwa kya Magezi ga Katonda , / Tabernakulo y'Okumanya kwa Katonda , / era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi Tubikkirire kati nemirembe gyonnal Amiina "

EKYAMAGERO EKYOKUTAANO
 Tulowooze ku kusoggebwa Effumu mu Lubiriizi Olutukuvu olwa Mukama Waffe Yezu Kristu ,
 [ Tusiriikirire mu kwebuulirira ]
 Olw'Ekiwundu Eky'Omuwendo Ennyo mu Lubirizi Lwo Olutukuvu , era n'olw'Obulumi bw'Ekitala ekyayuza olubirizi lwo Olutukuvu , tusaba , Omusaayi n'Amazzi Eby' Omuwende Ennyo ebifukumuka nga bivaayo biwonye abalwadde , bizuukize abafu , bituvvuunuse ebizibu byaffe bye tulimu mu kakyo kano , era bituyigirize nga bitulaga ekkubo ettuufu eridda eri Katonda Waffe mu kitiibwa eky'emirembe n'emirembe gyonna. Amiina
VI : Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , 
R / : Wonya Ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu ennyo ogwa Yezu. Kitaffe ali mu Ggulu .. Mirembe Maria .. [ Ku mpeke enjeru ] 

VI : Musaayi gw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu : 
R / : Tulokole wamu n'ensi yonna [ x 12 ] 
Ekitiibwa kibe ekya Patri [ Vunnama i.e. Amaaso n'ennyindo bituukire ddala ku ttaka ] Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo / Ogufukumuka nga guva mu mutwe Omutukuvu / Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu , / Ekiggwa kya Magezi ga Katonda , / Tabernakulo y'Okumanya kwa Katonda , / era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi , / Tubikkirire kati n'emirembe gyonna Amiina . ", 
Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu ; Wonya Ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu Ennyo ogwa Yezu . [ x3 ]

MIREMBE AYI KABAKA OMUKYALA 
Mirembe Ayi Kabaka Omukyala , Nnyaffe ow'ekisa , bulamu bwaffe , ssanyu lyaffe , ssuubi lyaffe , mirembe . Tukowoola gy'oli ffe abaana agobe aba Eva , Tukusindira nga tukaaba , nga tukuba ebiwoobe , mu kiwonvu kino eky'amaziga . Ayi nno Omuwolereza waffe , amaaso go ag'ekiisa gasimbe kuffe ,Ne Yezu , Omwana w'enda yo ow'Omukisa , omutulaganga , a tuvudde mu kidduko kino . Ayi Omusaasizi , ayi ow'ekisa , nga ayi Bikira Maria Omuteefu . R / Ayi Nnyina Katonda Omutuukirivu , otusabire . V / Tulyoke tusaanire okufuna Yezu Kristu bye yatusuubiza .
Twegayirire :
  Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , tukussaamu Ekitiibwa , tukusinza era tukugulumiza ku lw'Omulimo Gwo ogw'endagaano etaggwaawo ereeta eddembe ettuufu eri oluse Iw'abantu . Wonya ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu Ddala ogwa Yezu Kristu . Kubagiza Katonda Patri ku Nnamulondo Ye era naaza ojjewo ebibi by'ensi yonna . Bonna bakutye , Ayi Musaayi Ogw'Omuwendo Ennyo , tusaasire . Amiina
 Ayi Omutima Omutukuvu Ennyo ogwa Yezu : Tusaasire
 Ayi Omutima gwa Bikira Maria ogutaliiko kamogo . Tusabire
 Ayi Yozefu Omutuukirivu Omukuumi w'Ababeererevu : Tusabire 
Ayi Abatuukirivu Petero ne Paulo : Mutusabire .
 Ayi Yoanna Omutuukinivu ali awo wansi ku bigere by'Omusaalaba gwa Yezu : Tusabire 
Ayi Maria Magdalena Omutuukiirivu ali awo wansi ku bigere by OmusaalagwaYezu : Tusabire ..
 Ayi Mwenna Abatabaazi Ab'Essaala n'Abasabirizi ab'Omu Ggulu : Mutusabire
 Ayi Mwenna Abatuukirivu ba Katonda Abamaanyi : Mutusabire 
BannaGgulu Mwenna mmwe Eggye lya Biikira Maria : Mutusabire .


Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU